TOP

Kalimbwe n'obusa mbikolamu Bio - Gas

Added 16th March 2021

AKUFUMBIRA ey’omutwe, omufumbira ya bigere ne mwenkanya evvumbe, ne kkansala James Kiragga 33 owa Kira waadi 2 ku lukiiko lwa Divizoni y’e Kira, ate nga mutuuze w'e Mulawa, bwe yakoowa okwemulugunya kw'abasawo b’ebyobulamu olw’ekivundu ekyali kisusse ku byalo by'akiikirira nga kiva ku balundira awafunda, n’asalawo okukola Bio-gas mu kalimbwe w’enkoko n’obusa bw’ente ebyali bivaako obuzibu.

Kiragga ng'atabula obusa.

Kiragga ng'atabula obusa.

Bya Madinah Nalwanga

AKUFUMBIRA ey'omutwe,  omufumbira ya bigere ne mwenkanya evvumbe, ne kkansala James Kiragga 33  owa Kira waadi 2 ku lukiiko lwa Divizoni y'e Kira, ate nga mutuuze w'e Mulawa, bwe yakoowa okwemulugunya kw'abasawo b'ebyobulamu  olw'ekivundu ekyali  kisusse ku byalo by'akiikirira  nga kiva ku balundira awafunda, n'asalawo okukola Bio-gas mu kalimbwe w'enkoko  n'obusa  bw'ente ebyali bivaako obuzibu.

Kiragga ng'alaga enkoko mwayoola kalimbwe.

Abatuuze ku kitundu  bawaaba mu kakiiko k'ekyalo,  abasawo ne baagala okuggala abantu abaalina enkoko nga tebalina we bateeka kalimbwe n'abobusa bw'ente kubanga kanso tekkiriza balundira mu kibuga nga tebalina we bassa busa  na kalimbwe.

Kiragga ng'alaga ebitamu mwe bakolera Bio - Gas.

Abatuuze abo be baali baagala okuggala  bansisinkana  nga baagala okubayamba, okutuusa lwe nayita mukwano gwange omu okuva ku disitulikiti e Wakiso eyatuwabula tuzimbe Bio-gas tubyewonye.

Olw'okuba  we balundira waali watono nga tewagyawo nkola ya biogas, ne nsalawo mbiteeke awaka ewa Kitange Disan Jagwe e Mulawa .

EBITALINA KUBULA MU NKOLA YA BIO -GAS                                                                                                                            1.Ekisenge we batabulira obusa oba kalimbwe.

2. Essunsuliro (Digester). Obusa oba kalimbwe bw'atuuka mu kifo kino  obusa budda wansi, gaasi n'atandika okudda waggulu. Wano ebintu ebimu nga envunyu, n'ensowera , bifa olw'ekiziyiro, ate ne mujja mubeeramu omukka  ogubeeramu obuwuka obw'omugaso ku bio-gas.

3.Akasenge Gaasi mwagaziyira (expansion chamber). Bino biringa bitamu bya gaasi ebigaba amaanyi era bye bikuwa ebipimo oba obungi bwa gaasi gw'olina .

Bwobitunuulira, bibeera bituta oba tukuyite okutokota, nga tekuli nvunyu wadde ekivundu era bibeera n'ebbugumu lingi.

4. Ekinnya omugenda ebifeetete  oba ekitamu ekigendamu ebifeetete bino ebivuddemu biogas nga bino biba bigimusa.

5.Payipu ne sitoovu     

                                                                                                                          

OKUZIMBA BIOGAS NE SSENTE EZEETAAGISA

Bio gaasi alinamu emitendera kwatambulira ze bayita ‘Cubic' era oyo yenna ayagala okumuzimba  amugeraageranyiza mu nkola ya ‘cubic' era ssente zonna azibalira wamu nga takumenyeddemenyeddemu okutuusa ku masiga agafumba ne mmita yaakwo,  okuggyako obusa bw'agula buli kisawo, kalimbwe  gw'afunira obwereere,  oba amazzi  g'asika okuva mu mugga. 

1. 6 CUBIC      Etwala obukadde 4

2. 9 cubic      etwala obukadde 6.5

3. 13 cubic    etwala obukadde 8

4. 20  cubic    etwala obukadde  12

                                     

OKUSOOMOOZEBWA

Kiragga agamba nti alina obuzibu bw'okufuna by'apakiramu gaasi , okutambuza ebintu nga obusa, nga buno agula bugule ku balunzi.  Okutabula obusa oba kalimbwe, akozesa mukono nga n'empakira etuukaganye n ‘omutindo tagirina ate ng'amulina mu bungi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...