TOP

Amasomero 50 agalina abayizi abasinga empisa mu Wakiso

Added 23rd November 2014

BUKEDDE Ku Ssande akyagenda mu maaso n’okunoonya amasomero agalina abayizi abasinga empisa wano mu Uganda.

Bya SARAH ZAWEDDE

BUKEDDE Ku Ssande akyagenda mu maaso n’okunoonya amasomero agalina abayizi abasinga empisa wano mu Uganda.

Leero olutabaalo tulututte mu disitulikiti y’e Wakiso era mmwe abasomi baffe nga muyita ku muko gwaffe ogwa Bukedde ogusangibwa ku Facebook mmwe mwerondedde amasomero gano.

Ezimu ku nsonga ze muwadde nga mulonda mulimu; ennyambala y’abayizi, eddiini, okutambula nga bakubye ekikalu buli kadde, obutataayaaya mu makubo, n’ensonga endala.

ABAANA bangi olusoma olwokusatu basigala balutenda olw’okutwalibwa mu bifo eby’enjawulo ne balambula.
Mulonze bwe muti:
1. Buddo SSS
2. St. Mary’s Kitende
3. St. Mary’s College kisubi
4. Bilal Islamic - Kakiri
5. St. Augustine College Wakiso(SACO)
6. Kireka High School
7. Masuliita SSS
8. Aidan College
9. Trinity College Nabbingo
10. Buloba High school
11. St. Lawrence Schools and Colleges
12. Gayaza High School
13. King's Colege Buddo
14. Wakiso Muslims
15. St Juliana SS
16. St Lucia - Namagoma
17. Hawa SS - Naluvule
18. Clive College Kireka
19. Kitebi SS
20. St. Henry’s College - Gangu
21. Uganda Martrys Namugongo
22. Sumayya Girls - Nsangi
23. St. Peter’s Naalya
24. Our Lady Of Good Counsel Gayaza
25. Ntebe SS
26. Kalinaabiri SS
27. Nkoowe High
28. Bright Future SS Bwebajja
29. St. Kizito High school namugongo
30. Kitende SS
31. On Wards and Upwards SSS Buloba
32. Lowell Girls Gchool
33. Kyaddondo SS Matugga
34. Merryland High School Entebbe
35. Marisons High School Bunnam¬waya
36. Nsangi SS
37. God's Way High School Maganjo.
38. Mugwanya Summit College Ky¬engera
39. Zana Mixed
40. St. Joseph of Nazareth high school Kavule Katende
41. Naalya SS Namugongo
42. St . Noah SS Nkumba
43. St. Maria Gorrett Katende
44. St. Paul SS Lweza
45. Mugongo SS Kyengera
46. Kitara SS - nTEBE
47. Kinaawa High School
48. Standard SSS
49. Community High School
50. St. Henry's College Ggangu.

AMASOMERO AMALALA:

Haji Musa Kalunda owenji¬giriza ku Billal Islamic Kakiri, Ewaffe tutendeka Bamaseeka, noolw'ekyo tetukkiriza bayizi batalina mpisa kuba aba tajja kusobola kukwasisa banne mpisa nga ye tazirina. Ekirala tukulembeza nnyo ebigambo bisatu ku buli nsonga yonna nga n'empisa mw'ozitwalidde.

Ebigambo nti,'Allah agamba kino Nabbi Muhammad (SAW) agamba kino oba nti eddiini egamba kino. Kuno tugattako okubuuliriranga abayizi baffe buli luvannyuma lwa sswala.

Kitegeeza nti mu lunaku tubaamu n'okubuulirira emirundi etaano ng'abayizi bennyini be ba¬vaayo ne boogera ku nsonga ze baba balabye mu bannaabwe oba awalala ezitasanyusa ne baba¬buulira n'engeri y'okuzeewalamu.

ABAYIZI TUBABUULIRIRA – BUDDO SS

Mw. Ssennabulya Livingstone wa byanjigi¬riza Buddo SS:

Tulina amateeka agatufuga agaliko n'ebibonerezo byago. Ekikulu kugagoberera nga bw'ogalemwa kiba kitegeeza nti tosaan¬idde kubeera omu ku ffe.

Omuyizi bw'azza omusango tumulabula okusinziira ku mu¬sango gw’azzizza. Bw’alemwa okukyusa nga tuyita omuzadde we n'amutwala. Obuzibu buva ku mateeka gavumenti ge yassaawo ag'obutakuba bayizi. Okuggyako ng’omwana asaasira bazadde be, buli ky'akola aba teyeefiirayo kuba taba na ky’afiirwa.

Abayizi balina akakiiko ke twakakasa ke bakozesa okugunjula bannaabwe era ffe batuwaako emisango eminene egiba gibalemeredde. Mu wiiki tulinamu olunaku kwe tubuulirira abayizi mu buli kibiina. Okubuulirira bwe kuba kwa balenzi oba bawala bokka, olwo nga tubaawula.

tukulembezza Allah kiki ky'agamba.

Omuyizi bwe tumusangamu omuze gwonna, tumubuulirira, bw'atulema nga tuyita muzadde we amutwale amubuulirireko. Kyokka bw'amuzza nga tan¬nakyusa, oyo nga tumwegobako kuba oyinza okwagala okutaasa omuyembe ogumu ne gukwonoo¬nera n'emirala.

Omusingi gw'okutya Allah kikulu ddala. Omuyizi tumuggya mu S.1 ng'amanya nti bw'akola ekintu ekikyamu kyonna abeera tanyiiza musomesa wabula Al¬lah we. N'ekisembayo, okukola omukwano n'abayizi kituwan¬guzza.

Kino kiyamba omuyizi okutan¬dika okukwesiga n'okukweyabiza olwo ne bw'aba n'ensonga yonna agikubuulirako n'omuwabula nga bukyali. Omuyizi nga mukwano gwo kizibu okumubuulirira n'atatwala by'omugambye kuba aba atya okutta enkolagana
yammwe.

Muky. Kisarale Victoria Sse¬runkuuma, mukulu wa ssomero lya Gayaza High School:

Abayizi baffe okuviira ddala nga yaakajja ku ssomero tumuteekamu ennono zaffe nga Gayaza High. Mu buli kye tukola tukulembeza ekigambo, ‘ow’e Gayaza’ era buli mukozi ku ssomero ekigambo kino tekituva ku lulimi.

Okugeza bw’osangibwa ng’otambula olya, akukukutte asoka kukugamba nti ‘Ggwe ow’e Gayaza ggwe okoze kino! Ow’e Gayaza akola bw’ati...’

Kino tukitambulirako buli lunaku era n’abazadde batuy¬ambako okukitambuliza mu baana baabwe. Kino kikugira omwana okweyisa obubi anti aba atya okusuula ekitiibwa kye kye twamukulizaamu n’okweswaza.

Ekirala, nga bwe tunyweredde ennyo mu Katonda, buli Ssande tufuna ababuulizi nga n’abazadde mw’obatwalidde ne babuulirira abayizi naddala aba S.5 ne S.6. Buli ku nkomerero ya ttaamu tufuna emiramwa egy’enjawulo egy’okubuulirako buli ng’okusoma kutandise.

Betty Mwesigwa, amyuka omu¬kulu w’essomero lya Trinity Col¬lege Nabbingo: Ewaffe okukuba omuyizi kwe twasooka okug¬galawo. Abayizi twabateerawo essomo eriyitibwa ‘Moral training’ eribuulirira abavubuka.

Tubabuulirira ku kusoomooze¬bwa kwe bagenda okusisinkana n’engeri gye balina okukulwany¬isaamu.
Tubabuulirira n’amateeka wamu n’empisa z’essomero lyaffe.

Era tubasomesa ebintu eby’enjawulo ebiri wabweru w’essomero ne tubayigiriza okweyimirizaawo bokka, ekibayamba obutamala geegomba
Mw. Male Elijah, St Lawrence Schools and Colleges: Mu masomero gaffe tubuulirira abayizi ennono zaffe mu wiiki esooka nga baakajja ku ssomero.

Ebitabo abayizi bye bakozesa okuwan¬diikamu bye basoma, bateekeddwa okubigula ku ssomero. Mu bitabo bino twawandiikamu amateeka agafuga amasomero gaffe gonna era omuyizi talina we yeekwasiza kuba aba yaakabikkula ekitabo asooka kulaba mateeka.
Tulina ebiseera ebigere eby'okubuulirira abaana, tuyita ebi¬tongole eby'enjawulo n'abazadde ne babuulirira ku bayizi baffe. Tukozesa abakulembeze b’eddiini omuli bamas¬eeka, balevirandi ne bafaaza. Kye tweggyako kwe kukkiriza abayizi abayingira mu masomero mu makkati g'olusoma.

Abasinga ku bano baba bagobeddwa mu masomero malala nga baagala bubudamu. Okwewala okuyingiza empisa enkyamu mu ssomero, omuyizi bw'atyo tetumuwa kifo.

Bw'aba azze ku ntandikwa ya ttaamu era tumusaba kaadi ye eya lipooti ne tumanya ekimuggye mu ssomero gy'abadde.
Tufuba okuteeka abazadde baffe mu kubuulirira abayizi. Bwe beenyigiramu, omuzadde amanya ekituufu omwana n'atamulimba kumukozesa nsobi.

Buli lunaku tufunayo eddakiika 20 okuva ku ssaawa 1.00 nga za kubuu¬lirira bayizi baffe.

Obudde buno tubuyita 'family time' nga buli musomesa atuula n'abayizi b'atwala mu kibiina kye n'ababuulirira.

Kibayamba okuggyayo ensonga n'ebizibu byabwe mu kiseera ekyo era ne tubinogera eddagala.
Mukama waffe Polofesa Lawrence Mukiibi naye ajja ku buli paleedi mu nnaku ez'enjawulo ku buli ssomero n'omulamwa ogubuulirira abayizi baffe. Kino kibayamba nnyo kuba ebigambo bye babitwala nga eby'obuwanguzi gye bali.

TUBAFUGIRA KU BUKRISTAAYO - BUDDO SS

Erisam Kanyerezi akulira eby'enjigiriza mu Kings College Buddo Omwana omuto mbuzi erundwa wa ka-mwa, olina okumubuulirira buli kadde. Ffe tulina enkola za mitendera nga 20.

Ezimu ku zo mulimu kye twakola, eky'okutimba mu buli kibiina ne mu mpya z'essomero ekirooto kyaffe (vision) egamba nti 'okuba entabiro y'abantu abekkiririzaamu nga beewa ekitiibwa ate nga bagunjufu nga beebunguludde empisa ez'Ekikrisitaayo'.

Tukakasa nti buli muyizi ekirooto kino akissa mu nkola era kwe tutambulira. Kuno tugattako n'enkola etuluhhamya. Asobya mu bino kitegeeza nti naffe tetuba beetegefu kubeera naye era tuyita muzadde we n'amutwala okumubuulirira.

Bw'agaana okukyusa nga tumweggyako kuba tetusobola kumala budde ku muntu omu oyo ng'abasigadde balungi. Ekirala, tosobola kuzimba mpisa mu bayizi nga tolina biseera bigere ku buli kikolebwa.
Buli kintu kiba n'obudde bwakyo era n'empisa ezikoleb¬wawo.

Bw'oba oyagala okuzimba omusingi omugumu mu baana, olina kusookera ku basomesa n'abakozi bonna ku ssomero okuva ku alongoosa okutuuka ku mukulu w'essomero nga bonna tobasosola.

Bano bwe baba abasanyufu, bajja kukola ekyo ekisanyusa era be bajja okukuyambako mu kuteeka empisa mu bayizi bo. Abasomesa bo bwe batakwatagana, n'abayizi babula

 

Amasomero 50 agalina abayizi abasinga empisa mu Wakiso

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...