TOP

Abasomesa muyambe okukuza ebitone by'abaana

Added 18th October 2018

Alpha Agaba muyizi afunye mu kitone ky'okusiiga ng'ayambibwako abasomesa be ku Nkokonjeru Primary School.

 Agaba ng'alaga ekimu ku bisiige by'akola ku ssomero

Agaba ng'alaga ekimu ku bisiige by'akola ku ssomero

Bya Stella Naigino

Ennaku zino, amasomero gafa nnyo ku kuyisa abaana abangi naye ng’ebitone byabwe tebifiiriddwaako ekifiiriza abaana emikisa gyabwe egy’omu maaso oba olyawo gye bandifunyeemu.

Omukugu mu by’okusomesa, Fagil Mandy agamba nti omwana bw’agenda ku ssomero abeera agenze kuyiga ebintu by’omu mutwe n’ebyemikono, obwongo, n’ebirala nga bino byonna birina okubeera n’ekiseera abasomesa mwe babisomeseza.

Wabula ennaku zino abasomesa bafaayo nnyo okusomesa eby’omu mutwe ebirala ne batabifaako, naye omwana bw’amanya ebirala ekitone kye kizuulibwa era bw’ayambibwako, akikozesa bingi obulamu ne butambula.

Agaba ng'annyonnyola omuku bazadde ekifaananyi kye yasiiga

 

Alpha Agaba, muyizi wa Nkokonjeru Primary School ng’asoma kibina kyamusanvu, yayambibwa abasomesa be okuzuula ekitone kye era nga kati atandise okukifunamu.

Ayagala nnyo okukuba ebifaananyi n’okubisiiga era yayingira mu mpaka z’amasomero ez’okusiiga ebifaananyi  n’awangula. Ebimu ku birabo bye yafuna kwaliko okwewangulira ebisale by’essomero okumala omwaka mulamba nga kyamuweebwa aba Habitat for Humanity. Kino kyasanyusa nnyo abasomesa be n’omuyizi mwennyini.

Alex Masaba, omu ku basomesa ba Agaba agamba nti Agaba asoma bulungi era n’ekitone kye takisuulirira.

Fagil Mandy, akubiriza abazadde n’abasomesa okukolera awamu okukuza ebitone by’abaana kubanga biyinza okubayamba mu biseera byabwe eby’omu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bugembe ng'abuulira enjiri mu kusabira omugenzi Yiga.

Jjengo tolwana ntalo za kit...

Omusumba w'Ekkanisa ya Worship House e Nansana akubirizza Omusumba w’Ekkanisa ya Revival Christian Church Kawaala,...

Abakuumaddembe nga bakunguzza omuvubuka.

Abaabadde bakola effujjo mu...

Abavubuka abaagenze mu kuziika omugenzi Pasita Yiga Abizzaayo e Kawaala ku Lwomukaaga kyokka ne badda okunoonyeza...

Abatuuze nga basobeddwa mu lusuku lwa munnaabwe olwasaayiddwa.

Abantu ab'ettima basaayidde...

ABANTU ab'ettima abatannaba kutegeerekeka bakakkanye ku lusuku lw'omutuuze Jane Namakula 45, ow'e Kyassenya oluwezaako...

Katikkiro Mayiga awabudde a...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...