TOP

Manya omwanawo ky'ayagala omukuze mu mbeera ennambulukufu

Added 15th March 2019

Obutamanya mwana ky'ayagala kivaako okukula nga mumenyi w'amateeka

 Omwana ng'akola omulimu gwe awaka, kino kisoboka ng'omuzadde amuwa obudde.

Omwana ng'akola omulimu gwe awaka, kino kisoboka ng'omuzadde amuwa obudde.

Bya Stella Naigino

Ennaku zino abazadde bakola ne beerabira n'obuvunaanyizibwa bw'abaana baabwe be balekera abakozi ekikosa omwana.

Wabula abakugu bagamba nti ky'ekiseera abazadde batandike okuwa abaana baabwe obudde olwo basobole okubafunamu.

Lydia Nyesigomwe, omukugu mu by'abaana agamba nti abazadde ennaku zino bettanidde okubeera ku mikutu gya yintaneeti egibatwalidde ebiseera olwo ne baleka abaana nga bali n'abakozi abatabazimba.

Kino kivaako abaana okukola ebyo ebibasanyusa, ng'omuzadde bwatafaayo omwana amwonoonekako era ng'okumukyusa okukola ekimugwanidde ng'omwana kikaluba.

Ekirala, omuzadde buli lw'amala obudde n'omwana we amanya ky'ayagala ne kyatayagala, n'amanya embeera ze ezimwawula ku baana abalala n'engeri y'okumukwatamu.

Lynette Apondi, naye akola mu baana agamba nti tekikola makulu muntu yenna kuzaala nga tajja tufuna budde kulabirira oyo gw'azadde.

Akubiriza abazadde okukola ennyo naye ate buli kimu bakiwe obudde. Abaana babeere n'obudde bwabwe n'emirimu gyabwe emirala bagiwe obudde.

Omuzadde yenna alina okufuna ekiseera azannyeko n'abaana era abatwaleko ne mu bifo eby'enjawulo okubasanyusa.

Ekibaleeta nabo okukola ebyo ebisaanidde n'okuwuliriza by'obagambane bakula nga balambulukufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....