TOP

Abawala si nte ze batunda mu lufula

Added 13th July 2019

Musomese abaana abawala mu kifo ky’okubatunda ng'ente nga tebanneetuuka.

 Ntenga ng'ayogera n'abaamawulire

Ntenga ng'ayogera n'abaamawulire

Bya Stella Naigino

Agnes Kabonesa, muwala abeera Kamokya nga yafumbizibwa ku myaka 12. Omusajja yamukubanga ne balwana era n'afunanga n'ebisago wabula ng'abazadde bamugamba alina okusigala mu ddya.

Nga wayise ekiseera, Akol yafuna olubuto naye olw'okuba yali muto atamanyi bikwata ku kuzaala yatuuka okuzaala nga mukoowu n'omwana nga mufu. Kino kyamuluma era n'atamwa obufumbo.

Waliwo abakyala abaali bakubiriza abaana abawala okwekolera era gwe mukisa gwe yakozesa okweggya  mu nnaku.

 abonesa ngannyonnyola bye yayitamu Agnes Kabonesa ng'annyonnyola bye yayitamu

 

Yagenda n'ayiga okukola ebintu eby'enjawulo ku bwereere ate n'afuna n'omuzirakisa eyamuzza ku ssomero nga kati asoma kubudaabuda bantu ku yunivasite e Makerere era abaudaabuda abaana abavuddemu masomero n'abafumbizibwa.

Munne Carol Kutegeka, ow'e Nansana, naye yaduka awaka lwa bazadde kumukaka kufumbirwa nga muto. Ono olw'okubulwa w'abeera yatandika okukola obwayaaya okutuusa lwe yafuna abazirakisa ne bamuzza ku ssomero.

Abakugu bagamba nti, abazadde ky'ekiseera balekere awo okutunuulira omwana omuwala ng'ekyobugagga kye basobola okutunda bafunemu ssente.

 arol utesa nga naye ayogera ku byamutuukako Carol Kutegeka nga naye ayogera ku byamutuukako

 

Moses Ntenga, ono akolagana n'abaana abawala n'abazza mu masomero agamba nti omwana omuwala, "ky'ekiseera tufeeyo okulaba nti abaana abawala basigala mu masomero era tulwanyise abo ababafumbiza. Omwana ne bw'aba azaddeko, asobola okudda mu ssomero n'asoma bulungi nga talina buzibu.

Abazadde mutunuulire ebintu abaana ab'ekika ekyo bye baagala nga mw'ebyo muyinza okuzuulamu ebitone byabwe era ne bakuguka mu ebyo.

Ntenga yabadde ku woofiisi ye esangibwa e Ntinda, we baabadde bakubiriza abantu okulumirirwa omwana omuwala nga bamukuumira mu ssomero.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....