TOP

Muddeemu okusomesa abayizi emizannyo ginnansangwa

Added 22nd November 2019

Giigino emizannyo ginnansangwa egisomesa abaana okuyiiya, obukozi n'okukolera awamu

 Abaana nga babaka amayinja

Abaana nga babaka amayinja

Bya Vivien Nakitende

Akulira ekibiina ky'Olulimi Oluganda mu ggwanga, Fred Kisirikko akubirizza amasomero okuddamu okusomesa abayizi okuzannya emizannyo ginnansangwa kuba giyigiriza bingi.

Okwogera bino, Kisirikko abadde Nsaggu ku kisaawe mu ggombolola y'e Ssisa, amasomero ag'enjawulo okuva mu ggombolola eno bwe gaayolesezza ebitone eby'enjawulo mu kuzannya emizannyo ginnasangwa.

 bayizi nga babuuka omugwa Abayizi nga babuuka omuguwa

 

Kisirikko agambye nti, emizannyo gino gyategekeddwa ekibiina ky'Olulimi Oluganda n'Obwakabaka bwa Buganda, nga tugenderedde okuttukiza emizannyo ginnansangwa mu masomero ga pulayimale kuba tukizudde giyigiriza bingi omuli; obuyiiya bw'abaana, okukolera awamu, okulowooza amangu, okusalawo, okubala, ebintu ebikyabula mu baana b'ennaku zino.

Tukizudde nti, ssinga tuddayo okuyigiriza abaana baffe okuzannya emizannyo gyaffe ginnansangwa kijja kuganyula okubibayigiriza.

Emizannyo gino girimu obubaka bungi obuyambako okugunjula abaana ne bavaamu ab'omugaso mu maaso. Abaana bye bayiga mu mizannyo gino:

Siipolingi: Guyigiriza abaana okusalawo ate ne balwanirira oludda lwe babeera basazeewo okutuuka ku nkomerero wadde baba bawanguddwa. Anti bwe bakubuuza nti, omuceere n'ennyama olyawo ki, bw'olondawo ennyama olwanirira ludda lwa nnyama, ne musika omuguwa okulwanirira oluuyi lwammwe, ate guyigiriza n'okukolera awamu.

 Fred Kisiriko, ssentebe w'ekibiina ky'olulimi Oluganda mu ggwanga

Kibugga tonkutulaakutula: Abaana bafukamira wansi ne basimba emikono ne bazinisa ekiwato n'emigongo, kino kiyambako okukola dduyiro w'emigongo n'emikono.

Okubaka amayinja: Kibayigiriza okukola emirimu egisukka mu gumu omulundi ogumu, anti okasuka ejjinja waggulu ate ng'olina okulonda agali wansi, ate nga ne lye wakasuse waggulu olina okulibaka ekibayigiriza okuba abeegendereza, okubala, obuyiiya n'okukola obwangu.

 bayizi nga bakubaganya ebirowoozo ku nsonga ezenjawulo Abayizi nga bakubaganya ebirowoozo ku nsonga ez'enjawulo

 

Kappa agoba emmese: Guyigiriza abaana nti, okufuna ky'oyagala olina okukituuyanira oba okukikolerera, kubanga kkapa bw'eba eyagala emmese erina okulwana n'okugigoba okugifuna ate n'emmese okwetaasa erina kukanya mbiro okwetaasa.

Okubuuka omuguwa: Guleetawo enkolagana ey'awamu ate ne guyigiriza n'amazima anti bw'owuuba obubi okusuula munno bakuggyamu n'odda ebbali. Emizannyo gino giyigiriza obuyiiya kubanga ebintu ebisinga okukozesebwa mu mizannyo gino ginnansangwa bintu abaana bye beekolera n'engalo zaabwe okuva mu bintu ebya bulijjo ebibeetoolodde.

Bya Vivien Nakitende Akulira ekibiina ky'Olulimi Oluganda mu ggwanga, Fred Kisirikko akubirizza amasomero okuddamu okusomesa abayizi okuzannya emizannyo ginnansangwa kuba giyigiriza bingi. Okwogera bino, Kisirikko abadde Nsaggu ku kisaawe mu ggombolola y'e Ssisa, amasomero ag'enjawulo okuva mu ggombolola eno bwe gaayolesezza ebitone eby'enjawulo mu kuzannya emizannyo ginnasangwa. Kisirikko agambye nti, emizannyo gino gyategekeddwa ekibiina ky'Olulimi Oluganda n'Obwakabaka bwa Buganda, nga tugenderedde okuttukiza emizannyo ginnansangwa mu masomero ga pulayimale kuba tukizudde giyigiriza bingi omuli; obuyiiya bw'abaana, okukolera awamu, okulowooza amangu, okusalawo, okubala, ebintu ebikyabula mu baana b'ennaku zino. Tukizudde nti, ssinga tuddayo okuyigiriza abaana baffe okuzannya emizannyo gyaffe ginnansangwa kijja kuganyula okubibayigiriza. Emizannyo gino girimu obubaka bungi obuyambako okugunjula abaana ne bavaamu ab'omugaso mu maaso. Abaana bye bayiga mu mizannyo gino: Siipolingi: Guyigiriza abaana okusalawo ate ne balwanirira oludda lwe babeera basazeewo okutuuka ku nkomerero wadde baba bawanguddwa. Anti bwe bakubuuza nti, omuceere n'ennyama olyawo ki, bw'olondawo ennyama olwanirira ludda lwa nnyama, ne musika omuguwa okulwanirira oluuyi lwammwe, ate guyigiriza n'okukolera awamu. Kibugga tonkutulaakutula: Abaana bafukamira wansi ne basimba emikono ne bazinisa ekiwato n'emigongo, kino kiyambako okukola dduyiro w'emigongo n'emikono. Okubaka amayinja: Kibayigiriza okukola emirimu egisukka mu gumu omulundi ogumu, anti okasuka ejjinja waggulu ate ng'olina okulonda agali wansi, ate nga ne lye wakasuse waggulu olina okulibaka ekibayigiriza okuba abeegendereza, okubala, obuyiiya n'okukola obwangu. Kappa agoba emmese: Guyigiriza abaana nti, okufuna ky'oyagala olina okukituuyanira oba okukikolerera, kubanga kkapa bw'eba eyagala emmese erina okulwana n'okugigoba okugifuna ate n'emmese okwetaasa erina kukanya mbiro okwetaasa. Okubuuka omuguwa: Guleetawo enkolagana ey'awamu ate ne guyigiriza n'amazima anti bw'owuuba obubi okusuula munno bakuggyamu n'odda ebbali. Emizannyo gino giyigiriza obuyiiya kubanga ebintu ebisinga okukozesebwa mu mizannyo gino ginnansangwa bintu abaana bye beekolera n'engalo zaabwe okuva mu bintu ebya bulijjo ebibeetoolodde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aboobuyinza nga bakunya omukazi.

Abatunda eddagala nga tebal...

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority kikoze eki kwekweto mu Buvanjuba...

Minisita Betty Amongi

Abasuubuzi be Nakasero bawa...

ABASUUBUZI ababadde baddukanya akatale k'e Nakasero bavudde mu mbeera ne bawa minisita wa Kampala n'ekitongole...

Nsereko Mutumba

Hajji Mutumba alabudde abak...

ABADDE omwogezi w'ekitebe ky'Obusiraamu e Kampalamukadde ekya Uganda Muslim Supreme Council Hajji Nsereko Mutumba...

Abatuuze nga bali mu kkooti e Nabweru.

Abakolera ku ttaka lya Gavu...

OMULAMUZI ow'eddaala erisooka ku kkooti y'e Nabweru, Ssanyu Nalwanga Mukasa akkirizza abantu 17, abaakwatibwa ku...

Most Venerable Bhante Buddharakkhita (Kaboggoza mu byambalo ebiwanvu) ng’ ayimiridde n’abatuuze wamu n’abakulembeze .

Bannabayabufuzi mutuyambe t...

ABATUUZE b'e Ntebe mu butundu by'e Nakiwogo, Lugonjo balaajanidde Pulezidenti Museveni n'abazirakisa okubayamba...