Agamba nti;
Allah atutegeeza nti Kulaani yakka okulabula abo abagamba nti alina omwana era bye boogera tebabirinaako kumanya wadde bakitaabwe, era nti kivve n’obulimba obw’enkukunala.
(Surat Kahf, 18: 4-5).
Sheikh Ssentamu agamba nti, “Kulaani tetongozanga nkola etali ya Busiraamu era Omusiraamu yenna alina okuba omulambulukufu mu nneeyisa ye.
Â
Olw’okuba Obusi-raamu tebukkiririza mu lunaku luno, tewali kintu kitegeke-ddwa nga kigenderera okujaguza mazaalibwa ga Issa ekisaanidde okwetabwamu Abasiraamu.
Omubaka Muhammad (S.A.W) yatugamba nti buli lwe bagamba nti Allah yazaala anyiiga (Allah) ne Arushi (entebbe ye) n’ekankana okulaga obunyiivu bwe.
Allah agamba nti, “Baamala okukaafuwala abo abagamba nti Allah ye Issa mutabani wa Maliyamu.
Naye yagamba Isa nti; Abange mmwe abaana ba Isirayiri, musinze Allah omulezi wange era omulezi wammwe, era amugattako ekintu ekirala tajja kumuwa Jjana n’omuliro bwe buddo bweâ€.
Wekkaanye bino:
lOmusiraamu tolina kugaba birabo
lToyozaayoza muntu yenna okutuuka ku lunaku luno kuba oba ng’akakasizza ekyo ekigambibwa.
lTolina kukyusa ku ndabika wadde enneeyisa yo.
lEndya y’awaka ku lunaku luno tolina kugikyusa ng’ogenderera kusanyusa ba mumaka go.
lOmukozi toyongeza ku by’otunda oba okwongezaayo obudde bw’onnyukirako olwa Ssekukkulu, bw’okikola guba musango eri Allah.
lSinga owooluganda akuyita osobola okumwegattako olw’okuyunga oluganda sso si kukuza lunaku luno.
lWeewale okugwa mu haraam oluusi ekiyinza n’okukuggya mu busiraamu.
BYA SIRAJE SERUNJOGI
Kulaani by’eyogera ku Ssekukkulu