TOP

Ebibuuzo ku kisiibo

Added 1st September 2011


2  Olunaku enjuba lw’eriva Ebugwanjuba awo okwenenya kw’abantu bonna mu nsi abalibaawo  kuliba tekukyakkirizibwa era kano ke kamu ku bubonero obunene obulimanyisa abantu nti olunaku lw’enkomerero lubulako katono lutuuke.

Nnasiramuka lwa musajja naye ne twawukana era ne yeega


2  Olunaku enjuba lw’eriva Ebugwanjuba awo okwenenya kw’abantu bonna mu nsi abalibaawo  kuliba tekukyakkirizibwa era kano ke kamu ku bubonero obunene obulimanyisa abantu nti olunaku lw’enkomerero lubulako katono lutuuke.

Nnasiramuka lwa musajja naye ne twawukana era ne yeegaana n’omwana. Nzikirizibwa  okusiiba oba mbireke?
Okusiramuka olw’omusajja kyali kibi wabula longoosa obeere Musiraamu lwakuba ly`ekkubo lyokka ettuufu. Bw’oba ng’okyali Musiraamu, oteekwa okusiiba naye bw’oba wabuvaamu, munnange  wakola bubi nnyo kubanga enkola y`Obusiraamu eri nti buli omu alina kuba Musiraamu aganyulwe n`okuwona obusungu bwa Allah ng’atuuse mu maaso ge.

Ndi muwala wa myaka 25, siri muwoowe nzikirizibwa okusiiba? (ewaabwe w’omusajja bammanyi , naye yankwana siri Musiraamu wabula  asuubira okumpoowa essaawa yonna).
Ekisooka oli Musiraamu ? Wasiramuka ? Bw’oba wasiramuka , oteekwa okusiiba wabula  ew’omusajja olina kuvaayo kubanga temuli bawoowe. Ewaabwe w`omusajja okukumanya tekikwatagana na kusiiba. Ekikulu ggwe kwe kuba Omusiraamu oluvannyuma osiibe.

Sinnayiga kusaala, ekisiibo kyange kituukiridde?  Sulaiman, Luweero
Saala ne banno ng’ogoberera bye bakola nga bwe weefubako oyige okusaala mu butuufu bwakwo. Buuza omuwalimu oba Sheikh ali mu kitundu gy’obeera akusomese.  Gula ekitabo kye bayita  ‘Entanda y’omusaaze’ ku 3,000/-. Omuntu asiiba nga tasaala Allah takkiriza kusiiba kwe.

Omuntu bw'aba tasadde Talawuya  kiyinza okutta ekisiibo kye? Kikkirizibwa  omuntu okusiiba nga talidde ddaaku?
Obutasaala Talawuya  tekitta kisiibo oba ofiiriddwa nnyo olw’okuyitwako akaseera akalungi ennyo omujjudde empeera ennyingi ate nga tolina bukakafu nti ekisiibo ekinaddako kinaakusangawo. Yee! Kikkirizibwa okusiiba nga tolidde ddaaku kuba omwezi gwa Ramadhan  tteeka okugusiiba  kyokka ofiirwa empeera obutalya ddaaku .


Ebibuuzo ku kisiibo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.