TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Empeera eri mu kusiiba ennaku 10 eza Dhuri Hijja

Empeera eri mu kusiiba ennaku 10 eza Dhuri Hijja

Added 11th November 2010

Shiekh Haruna Kaaya, ow’e Kawempe agamba nti omuntu aba asiibye ennaku zino   yenkanaankana n’oyo aba akoze Hijja olw’ensonga nti aba agenze ku Hijja asonyiyibwa amazambi ge gonna singa aba tagenda kugaddamu era ne kw’oyo aba asiibye ennaku 10 asonyiyibwa amazambi gonna g’aba akoze emabe

Shiekh Haruna Kaaya, ow’e Kawempe agamba nti omuntu aba asiibye ennaku zino   yenkanaankana n’oyo aba akoze Hijja olw’ensonga nti aba agenze ku Hijja asonyiyibwa amazambi ge gonna singa aba tagenda kugaddamu era ne kw’oyo aba asiibye ennaku 10 asonyiyibwa amazambi gonna g’aba akoze emabega okumala omwaka.

Okusinziira ku Hadith ya Nabbi (S.A.W ) egamba nti, ‘‘tewali muntu yenna ayinza kukola mulimu guyinza kutuuka kw’oyo asiibye ennaku 10 wadde agenze ku Jihad okuleka ng’agenze n’emmaali ye yonna ate n’afiirayo’’. Era bwe kityo omuntu yenna eyeetaba mu kusiiba ennaku zino ky’asaba kyonna Allah amwanukula era empeera z’afuna tezenkanika.

Ennaku zino ziri mu mwezi gwa mizizo kuba omwezi guno ogw’okukoleramu Hijja omuntu yenna mwe yeewalira okukola amazambi okusobola okutuukiriza Hijja ye. Akoze Hijja yeewala okuyomba, okulwana, okwegatta n’omukyala n’ebirala. Ate oyo aba asiiba ng’anaasala ekisolo, alina okuba nga tasalako njala ze oba enviiri wadde akooya konna ak’oku mubiri okutuusa ng’amaze okusala ensolo.

Buli lunaku ku nnaku 10 zino kuliko ebyafaayo byalwo nga bye bino.

lOlusooka Allah lwe yayanukulirako edduwa ya Adam okumusonyiwa ezzambi lye yakola ne Eva.
lOlwokubiri Allah lwe yayanukula edduwa ya Nabbi Yunus okuva mu kyennyanja.

lOlwokusatu Allah yayanukula Nuhu olw’amataba g’amazzi agaali gabatwala.
lOlwokuna Nabbi Issa lwe yazaalibwako.

lOlwokutaano Allah yaggulirawo Nabbi Muhammed (S.A.W) ekibuga Mecca okwawukana ku birala.
l Olwomukaaga Allah yayogera ne nabbi Musa ku lusozi Sinai.

lOlwomusanvu emiryango gy’omuliro giggalwawo egy’ejjana ne giggulwawo.

lOlwomunaana Nabbi Ibrahim lwe yatandika okuloota asaddaake.
lOlwomwenda Allah yagamba nabbi Yahaya atuukirize okweyama kwe yakola.

lOlunaku olwekkumi lwe lunaku lwa Arafa nga luno tulusiiba ku makya okutuuka ng’esswala ya Iddi ewedde.
Ku lunaku luno omuntu yenna ky’aba asabye kimuweebwa era lw’asonyiyibwa amazambi ge.

BYA SOPHIE NAKALEMA

Empeera eri mu kusiiba ennaku 10 eza Dhuri Hijja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...