TOP

Ebibuuzo byammwe

Added 4th November 2010

Ddamu oyogere ne mukyala wo omujjukize nti okunoba olw’omwami okuwasa omukyala omulala mu Busiraamu tekiriiyo. Okunoba bwe kutyo akukola y’aba amenye amateeka ga Allah. Bw’agaana okudda  yogerako ne bakadde be oba omuntu omulala yenna amulinako obuvunaanyizibwa.
Ebyo bwe bigaana omukyal

Ddamu oyogere ne mukyala wo omujjukize nti okunoba olw’omwami okuwasa omukyala omulala mu Busiraamu tekiriiyo. Okunoba bwe kutyo akukola y’aba amenye amateeka ga Allah. Bw’agaana okudda  yogerako ne bakadde be oba omuntu omulala yenna amulinako obuvunaanyizibwa.
Ebyo bwe bigaana omukyala oyo mute kuba ajja kuba ng’alabika si mulungi gy’oli olw’ensonga nti talina nsonga gy’agamba ewulirwa mu Busiraamu eyamunobya.

Akalulu katuuse ffe abasiraamu tugenda kusaba ki abo abeesimbyewo bye baba batukolera mu kisanja kino ekiddako? Kuba naffe tulina omugabo mu nsi yattu eno Uganda. 

Bannabyabufuzi mubatwale eri abakulembeze b’eddiini y’obusiraamu mu kitundu kyammwe balage ebyetaagisa okukulaakulanya mu basiraamu b’omu kitundu kyammwe. Naye mu bye bakulaakulanya omuzigiti tegubaamu kuba gwo gwa  Basiraamu bokka. (Okuggyako ng’ayagala okugukulaakulanya musiraamu).

Abakyala bwe tuba tufuna wuzu tukkirizibwa okuyisa amazzi ku kitambaala oba okasummulako?
Omukazi oba omusajja bw’aba afuna wuzu nga yasibye ekitambaala ku mutwe akkirizibwa okusiimuula amazzi ku buviiri obw’omu maaso katono  agasigadde n’agasiimuula ku kitambaala ky’aba asibye.

Ekigendererwa kumwanguyiriza  aleme kusumulula kitambaala kye. Omusajja bw’aba tasibye kitambaala ku mutwe wabula ng’ayamabadde enkoofiira yo alina okugiggyako n’asiimuula mu mutwe gwe.

Bwe nsaala esswala eya Raka 4 ne nsomerako essuula emu ku zonna kikkirizibwa?
 Yee, kikkirizibwa tewali buzibu.

Nnina omwana Musiraamu nga nanoba naye ng’ate nze ndi mukatuliki. Nsobola okumubatiza bw’aliba azzeeyo n’asobola okudda mu ddiini y’Obusiraamu?
Nedda, omwana tomubatiza. Nga bw’okikakasa  nti gye wamuzaala  basiraamu  sala magezi ga kumuyigiriza ddiini ye ey’obusiraamu era mwanjuleyo ew’omuwalimu w’ekitundu mukole enteekateeka y’okumuyigiriza Obusiraamu.

oyinza n’okutegeeza seeka mu kitundu kyammwe oba yogerako n’abasomesa omwana gy’asomera ojja kuyambibwa.

Amannya galina amakulu?
Erinnya Swaibu litegeeza ki? Musoke mu Kalittunsi.

Swaibu litegeeza kuggyayo kintu n’okyatula.

Oluusi kitegeeza okutoniya eggwanga.
Yazid: Litegeeza kukulaakulana  oba okukula oba   
okwongera.

Tariq: Linnya lya munyeenye eyaka ennyo.

Nnakawere addamu ddi okusaala?
Nnakawere amala bbanga ki okuddamu okusaala?
Tewali bbanga ly’asalirwa wabula kisinziira ku mbeera gy’alimu. Bw’amala wiiki emu omusaayi gw’okuzaala ne gulekeraawo okujja anaaba Janaba n’atandika okusaala. Bw’amala wiiki bbiri oba ssatu era bwatyo bw’akola.

Wabula bw’amala ennaku 40 ng’omusaayi tegunnalekeraawo ekyo kiba kirwadde guba tegukyatwalibwa nga musaayi gwa kizadde era awo omukyala aba alina kunaaba ng’agenda okusaala.

Allah y’asinga okumanya.

Biddiddwaamu Sheikh Abdul Karimu Ssentamu.

Alina ekibuuzo ku Busiraamu kiweereze abamanyi bakuddemu. Wandiika ku ssimu yo ekigambo ‘mumanyi’ ozzeeko ekibuuzo oweereze ku 8338.

Ebibuuzo byammwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lukwago (ku ddyo) mu lukiiko.

Lipooti ku ddwaaliro lya KC...

MU lukiiko Loodi Mmeeya Erias Lukwago mwe yayombedde olwa Gavumenti okusala ssente zegenda okuwa KCCA, yayanjudde...

Abawagizi ba NUP nga batongoza ekipande kya Bobi ekipya.

Lwaki Bobi akyusizza akakoo...

OMUBAKA Kyagulanyi Sentamu ‘Bobi Wine’, akyusizza ekifaananyi kye ekitongole ekigenda okukozesebwa ku kakonge mu...

Ettaka osobola okulikubirako bbulooka ng'ono omuvubuka.

By'olina okukolera ku ttaka...

Ettaka kye kimu ku by'obugagga ebirabwako omuntu by'abeera nabyo abantu abatali bamunda ne bategeera obukozi bwe...

Paasita Ssennyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga yeeyamye ...

OMUSUMBA Jackson Ssenyonga owa Christian life church e Bwaise yeeyamye okulabirira abaana ba Pasita Yiga abanaakeberebwa...

Ekisse Paasita Yiga Mbizzaa...

PASITA Augustine Yiga Abizzaayo afiiridde ku myaka 43. Ono abadde nga nnawolovu atafiira ku bbala limu.