TOP

Ebibuuzo byammwe

Added 3rd June 2010

Osooka kusaala sswala ya Magaribi bw’omala n’osaala  Ishai . Wabula mu Busiraamu tetuliwa sswala etuyiseeko. Okuggyako tusobola okuyunga esswala ezo ezikkirizibwa okuyungibwa.

Baatuwa omukazi ng’ali lubuto era ne tumuwoowa. Kikkirizibwa? Ssonko  Twaha, Kangulumira.
Omukyala

Osooka kusaala sswala ya Magaribi bw’omala n’osaala  Ishai . Wabula mu Busiraamu tetuliwa sswala etuyiseeko. Okuggyako tusobola okuyunga esswala ezo ezikkirizibwa okuyungibwa.

Baatuwa omukazi ng’ali lubuto era ne tumuwoowa. Kikkirizibwa? Ssonko  Twaha, Kangulumira.
Omukyala owoolubuto tawoowebwa. Nabbi yakitugaana ne bw’aba gwe baamuwoowa naye ye nnannyini lubuto era  obufumbo obwo tebutuuka.

Asalam Alaikum. Okusiiga ku sitokisi kikkirizibwa? Hajji Yasin Kibirige, Kiboga.
Kikkirizibwa bw’oba wazambadde olina wuzu, ne bwe zibaamu ebituli osiigako.

Dduwa ki gye tusoma bwe tuloota  ebintu ebyefaanaanyiriza ng’ebya Shaitwani? 0784338333
“Audhu bikalimaati llahi ttaammaati min ghadhabihi wa eqaabihi, wamin hamzaat sshayaatwin, wa an yahdhuruun”.
Soma ekitabo kya Husn Muslim oyongere okunnyonnyolwa.

0kuwa zzaka, kinneetaagisa kuba nga nnina kapito wa ssente mmeka? Ssente ezo nsobola okuzizimbamu enju ya bakadde bange ne nuyirila nti ze za zzaka? Ekirala, buli kakadde nkaggyako mmeka? 0kugeza natandisa obukadde 5 mba mpa ssente mekka? Mustafa Sulaiman, Kisekka Market. 0774659076
Zzaka tozimbiramu mukaddewo nnyumba wadde okuziwa abaana bo oba mukyala wo olw’ensonga nti abo kikukakatako okubalabirira.
Omuwendo gw’otandikirako tujja kugukutegeeza ku Lwokutaano olujja.
           
Attahiyyaatu ekutulirwamu wa olyoke odde okusaala laaka ebbiri? Jamira Nakubulwa, Namungoona.
Mu Attahiyyaatu, okusabira omubaka Muhammad (S.A.W) kya tteeka. N’olwekyo, koma ku kusabira Omubaka Muhammad olyoke oyimuke oleete eraaka ezisigaddeyo.
Weetegereze:
Tokoma ku Ash-Had ng’abasinga bwe batera okukola kuba ekyo si kituufu.
Amakulu ga Attahiyatu ge galuwa?
Ebiramuso ebirungi, n’okusaba okulungi n’ebirungi byonna bya Allah, emirembe gibe ku Nabbi  n’okusaasira kwa Allah n’emikisa gye. Emirembe gibeere ku ffe ne ku baddu ba Allah abalongoofu. Nkakasa nti tewali kisinzibwa mu butuufu okuggyako Allah era nkakasa nti Muhammad (S.A.W)  muddu wa Allah era mubaka we.

Omusiraamu atandikira ku kitabo ki okusoma?
Tewali kitabo kyeyawudde wabula olina okumanya by’oteekwa okusoma olubereberye gamba ng’okwawula Allah ku bintu ebirala n’okumanya nti talina kimufaanana mu ngeri yonna; okumanya okwetukuza mu Busiraamu,  okusaala okutuufu n’ebirala. Kirungi ojjumbire okusoma ebitabo by’Obusiraamu n’okwebuuza. Funa omuwalimu akusomese.
ALLAH y’asinga okumanya.

Biddiddwaamu Sheikh AbdulKarim Sentamu.

Ebibuuzo byammwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...