TOP

Bawadde obubaka bwa Idd

Added 17th August 2012

BAMASEEKA bawadde obubaka obw'enjawulo eri Abasiraamu ne babaagaliza Idd ennungi

ABASIRAAMU bali mu keetalo ka kwetegekera lunaku lwa Idd, abanene mu Busiraamu omuli bamaseeka bawadde obubaka obw’enjawulo eri Abasiraamu bonna mu ggwanga ne babaagaliza ne Idd ennungi.

Sheikh Yahaya Lukwago ssentebe w’amasomero g’Obusiraamu mu ggwanga agamba nti, twebaza Allah atusobozesezza okusiiba omwezi guno ate ne tunakuwalirako abo ababadde emperekeze z’abasiibi nga Ramadhan eweddeko nga bagenda kudda mu mmize gyabwe gye babadde baavaako.

Mu mazima tebalina kalungi ke bafunye mu mwezi guno. Eri abo bonna abasiibye mu butuufu bw’okusiiba, tusaba Allah abaweemu empeera mu bujjuvu ate atuwangaaze okutuusa ku Ramadhan endala.

Supreme Mufti Sheikh Zubairi Sowedi Kayongo:

Allah atusobozesezza okusiiba omwezi guno omutukuvu. Mmusaba atuweemu empeera atusonyiwe ebyo byonna bye twakulembeza okukola mu kumanya ne mu butamanya.

Njagala  ntwale omukisa guno okukubiriza abasiraamu bonna Allah b’asobozesezza okumalako omwezi guno obulungi, nti basaana bagende mu maaso n’okukola obulungi nga bakimanyidde ddala nti Katonda w’ali ebbanga lyonna so si mu mwezi guno gwokka.

Sheikh Sulaiman Guggwa akulira Madina Terminal:

Tutendereza Allah olw’okutusobozesa okumalako ekisiibo.  Wabula njagala okukubiriza buli musiibi yenna okufaayo okuttoola Zakati - Fitr esobole okuweebwa abo abalina okugifuna mu budde. Ekisiibo ky’omusiibi kibeera mu bbanga nga kiringa kitengejja ku mazzi ebbanga ly’amala nga tannawaayo Zakati - fitr.

Sheikh Rajab Kakooza Dayirekita wa Sharia ku kitebe e Kampalamukadde:

Twebaza Allah olw’okumalako omwezi guno era ne tumusaba atuweemu empeera. Kiba kikwasa ennaku eri omusiibi alumiddwa enjala n’ennyonta kyokka nga tagenda kufunamu ku nkomerero. Kale oyo yenna amanyi nti asiibye ku lwa Allah asaana aviire ddala ku bikolwa ebikyamu by’abadde avuddeko mu kisiibo.

Ku lunaku lwa Idd tugende tusaale, tudde eka tulye tunywe ate tuleme kugenda mu bifo ebigenda okwonoona ekisiibo kyaffe. Waliwo bangi ababadde baava ku kujooga Allah mu mwezi guno, naye nga mu kiseera kino beteekateeka kudda mu bikolwa ebikyamu.

Musaana mukimanye nti mubadde mutukuziddwa nga mulinga abaana abato n’olwekyo mugendere awo nga mukola ebyo Allah by’ayagala.

Sheikh Kasule Ndirangwa Disitulikiti Khadi wa Kampala:

Kino ekiseera kya ssanyu eri buli Musiraamu naye ate kya nnaku nnyo eri buli mumanyi singa oba okubye akafaanannyi ku kiki ekigenda okuddirira nga Ramadhan ewedde. Kya nnaku nti mu kiseera kino waliwo abeesunga olw’omwezi okuggwaako.

Oyo yenna ategeera obulungi obugulimu, yandibadde agamba nti singa gwaliwo omwaka mulamba. Kigenda kuba kibi nnyo eri buli Musiraamu abadde aliko ebikyamu bye yavaako okuba nga kati ategeka kubiddamu. Bbaala zibadde tezikyalimu bantu olw’ekisiibo naye kati ogenda kulaba nga zizzeemu okujjuza.

Emizigiti gibadde gijjuza ne gibooga naye kati gigenda kusigala mikalu nga kiringa ekitegeeza nti Katonda abaawo mu mwezi guno gwokka. Nkubiriza buli Musiraamu asigale ng’agoberera Obusiraamu bye bulagira ebbanga lyonna okusobola okwewala ebibonyoobonyo bya Allah.

Yinginiya Siraje Kavuma SsaAbAwandiisi  wa UMSC e Kampalamukadde:

Kyannaku nnyo okuba nti omwezi gugenze naye nga waliwo bangi abatasonyiye ate nga n’abalala tebasonyiyiddwa. Buli Musiraamu asaana akimanye nti Allah yatuteerawo omwezi guno tugweyambise nga twenenya olw’enenya olwa asobole okutusonyiwa ebyonoono bye twakulembeza.

N’olwekyo kino kitegeeza nti kirungi omusiibi okwenenya obutaddamu kwonoona okutuusa ate ku Ramadhan y’omwaka ogujja.

Sheikh Muhammadi Kamoga akulira Abatabuliiki b’e Nakasero.

Olunaku lwa Idd Allah yatugamba tulye tunywe era tusanyuke naye buli Musiraamu alina okukimanya nti yatugamba kw’ebyo byokka ebya Halaali (ebikkirizibwa mu Busiraamu).

Kijja kuba kibi omuntu asiibye ennaku 30 okuddira ekisiibo kyo okukimalirako mu kwonoona. Mwewale okugenda mu bbaala ne mu bivvulu.

Bawadde obubaka bwa Idd

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bbebi gwe baasudde mu ddwaaliro

Omusajja acankalanyizza edd...

OMUSAJJA acankalanyizza eddwaliro bw'atutte bbebi n'amusuulira abasawo nga abalumiriza obutakozesa bukugu ekyaviirako...

UNRA bataddewo amaato okuso...

ABATUUZE mu ggombolola y'e Galiraaya mu disitulikiti y'e Kayunga ababadde batakyasobola kutambula olw’oluguudo...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera n’abamu ku basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa.

Kaabuyonjo y'akatale k'e Na...

EYALOGA omugagga Haruna Ssentongo tannassa mbugo! Anti bamututte mu kkooti nga bbanka ya Orient emubanja obuwumbi...

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...