
Bya Sofia Nalule
OMUSIRAAMU eyatandise okusiiba obadde okimanyi nti bw’otoyambala bulungi enjala yandikulumira obwereere?
Sheikh Faiswal Hussein Matovu, Imaam w’omuzigiti gwa Zamzam Islamic primary school agamba nti Obusiraamu bulina abantu babiri Omusiraamu n’omukkiriza. Omukkiriza y’oyo agoberera ebikolwa bya Nabbi Muhammad (S.A.W) n’okwagala Katonda ng’okola ng’amateeka ga Kulaani bwe galagira.
Sheikh Matovu agamba, omusiibi kozesa ennyambala eteesittaza muntu yenna. Yambala mu ngeri ekuweesa ekitiibwa mu banno ne mu makubo gye muyita. Nabbi Muhammad (S.A.W) agamba nti, weewale okusemberera ebikolwa eby’obwenzi nga ‘Sulati al-Hizab’ bw’eragira abakyala bonna okwebikkirira ne mu biseera ebitali bya kisiibo.
Singa oteeka essira ku mpisa zino empeera zo zeeyongera, tobalibwa ng’omuntu abadde asiiba obusiibi nga yeerumya enjala.Mu ngeri y’emu Sheikh agamba nti, weewale okwambala empale etaagulibwa na sharia.
Omusiraamu ateekeddwa okwambala empale eyo yokka eyagulibwa ne sharia. Sheikh Matovu ayongerako nti, ggwe omusiibi weewale okwambala empale eziraga ekkundi, era toyolesa bwereere bwo mu bantu.
Nabbi Muhammad (S.A.W) ayongera n’ategeeza nti, omukyala ateekeddwa okukweka ebitundu bye eby’omubiri byonna okuggyako amaaso n’ebibatu.
Ggwe omukyala weewale okwambala ne weebikka wenna naye ng’oyolesa ebitundu byo eby’omunda. Yambala ennyambala y’emu n’eyo gy’okozesa mu sswala.
Ate obwereere bw’omusajja butandikira ku kkundi okutuuka ku maviivi. Omusajja ayolesa obwereere bwe singa asiba ‘bbaalansi’ n’okwambala empale ez’ebinu byonoona ensinza yo mu kifo ky’okufuna empeera n’obeera ng’osiibidde bwereere.
Ayongerako nti omusajja ateekeddwa okwambala olugoye olubikka ebibegabega bye. Ate enkofiira kabonero ka musajja Omusiraamu era oyo agyambala afuna empeera wadde nga si tteeka okugyambala.
‘Asiba bbaalansi mu kisiibo tofuna mpeera’