TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Asiba enviiri z'ekiwaani waakukolimirwa Allah

Asiba enviiri z'ekiwaani waakukolimirwa Allah

Added 8th November 2013

OBUSIRAAMU bukkiriza abakyala okwewundaokulabika obulungi naddala eri babbaabwe. Wabula waliwo ebintu ebimu ebitakkirizibwa ng’oyo yenna abikola aba ayolekedde obutafuna mpeera.Bya RASHIDAH NAKYAZZE

OBUSIRAAMU bukkiriza abakyala okwewundaokulabika obulungi naddala eri babbaabwe. Wabula waliwo ebintu ebimu ebitakkirizibwa ng’oyo yenna abikola aba ayolekedde obutafuna mpeera.

Omukyala alina okwebikkirira yenna okuva ku nviiri okutuuka ku bigere.

Ekimu ku ebyo ebigaanibwa kwe kwongereza enviiri enkolere ku mutwe.

Nabbi Muhammad (S.A.W) agamba nti, ‘Allah yakolimira oyo yenna ayunga enviiri n’oyo gwe baziyungako.’

Sheikh Muhammad Ismael Mayambala Imaam w’omuzigiti gwa Bilal e Bwaise agamba nti,.enviiri zonna ezisibwa zikkirizibwa kasita zibeera nga si nnyungeko ate nga mbikkeko.

Ayongerako nti, wuzi zikkiribwa kubanga zo teziringa nviiri naye enviiri nga wiivu, wiigi, ebigwa n’endala ze bagatta ku nviiri tezikkirizibwa kuba omuntu abeera yeefaanaanyiriza ky’atali.

Ddaayi oba okuteeka langi mu nviiri nakyo tekikkirizibwa kuba abuza obutonde bw’enviiri naye ‘tinti’ oba langi evaamu byo bikkirizibwa.

Nabbi Muhammad (S.A.W) yagamba nti, omukyala yenna asiba enviiri bw’anaafa nga teyeenenyezza, waakugenda mu muliro era tajja kuwulira wadde ku kawoowo k’Ejjana (Surat Qasas, 28:77).

Sheikh Mayambala akubiriza abakyala bonna okukola ebisanyusa Allah basobole okukolerera e Jjana.

Asiba enviiri z’ekiwaani waakukolimirwa Allah

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...