TOP

Owa DP asitudde abanene ng’awasa

Added 25th September 2009

Baagattiddwa mu Lutikko e Lubaga era omukolo gw’okugatta gwakulembeddwa Kalidinaali Emmanuel Wamala, eyawadde abafumbo bano okutwala ebiragaano bye bakubye ng’ekikulu kubanga obufumbo kirabo ekiva eri Katonda.

Kalidinaali yayambiddwaako bafaaza okuva mu bigo eby’enjawulo.

 Omu

Baagattiddwa mu Lutikko e Lubaga era omukolo gw’okugatta gwakulembeddwa Kalidinaali Emmanuel Wamala, eyawadde abafumbo bano okutwala ebiragaano bye bakubye ng’ekikulu kubanga obufumbo kirabo ekiva eri Katonda.

Kalidinaali yayambiddwaako bafaaza okuva mu bigo eby’enjawulo.

 Omukolo gwetabiddwaako abanene abawerako omwabadde Sipiika wa Palamenti Edward Kiwanuka Ssekandi,  eyali Katikkiro wa Buganda Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere, ababaka ba palamenti, ebikonge okuva mu DP ne bannabyabifuzi abalala.

Baasembeza abagenyi baabwe mu bimuli by’ekigo kya St. Kaloori ku luguudo lw’e Ggaba.

 Keeki abagole gye baagabudde yakoleddwa mu kizimbe kya Palamenti.

 

 Omusuubuzi w’ewa Kisekka akubye embaga

MUKASA Balamu omusuubuzi wa sipeeya ku Nabugabo Road mu Kampala akubye mwana munne Annet Namirembe naye omusuubuzi wa sipeeya mu katale k’ewa Kisekka embaga makeke.

Baagattiddwa mu lutikko e Namirembe gye buvuddeko, ebifaananyi baabibakubidde ku Serena Hotel n’oluvannyuma gye baaliiridde eky’emisana. 

Abagenyi baabagabulidde ku Speke Resort Munyonyo Geofrey Lutaaya y’omu ku baasanyusizza abagenyi.

 

Nannyini Lukyamuzi Glass Mart e Nakasero ayanjuddwa


NANNYINI dduuka lya Lukyamuzi Glass Mart e Nakasero, Jamadah Lukyamuzi alaze kaasi ng’ayanjulwa mukazi we Jamidah Namutebi mu maka ga bakadde be e Makindye mu Klezia Zooni.

Omukolo guno ogwabadde ogw’ekitiibwa gwabaddewo gye buvuddeko. Omuko yawerekeddwaako ebikonge omwabadde Hajji Bulayimu Muwanga Kibirige ( BMK),  Hajji Bumba, omubaka Kyanjo, Hajati Nuulu Mpungu, Hajji Swaleh Muwanga, sipiika wa KCC n’abalala.

Baatutte kalonda omwabadde ensawo za sukaali 7 ez’omuceere 5, firigi ,kkuuka ebibbo 120 n’ebirabo ebirala omuli engoye z’abakadde ezaasobye mu 100.

Omuyimbi Maureen Nantume y’omu ku baasanyusizza abagenyi.

Owa DP asitudde abanene ng’awasa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nabunya ne bba Sheikh Muzaata (mu katono).

Muka Muzaata ataddewo obukw...

MUKA Sheikh Nuhu Muzaata ataddewo obukwakkulizo okuddayo mu ddya. Kuluthum Nabunya yanoba kati emyazi esatu. Muzaata...

Abantu nga babuuza ku Amuriat.

Amuriat abuuzizza ku balonz...

PATRICK Oboi  Amuriat (POA) eyeesimbyewo ku bwa pulezidenti owa FDC   ayolekera Kabale naye asoose  ku ssundiro...

Ambassador Mugoya (ku ddyo) minisita Okello oryem, Dr. Ahmed Ssengendo ne  BIruma Sebulime.

Dr. Ahmed Ssengendo alonded...

Olukungaana olw'ekibiina ekitwala amawanga g'Abasiraamu mu nsi yonna (OIC) olw'omulundi ogwa 47 lutudde mu kibuga...

Kasasa ng'ali mu ddwaaliro e Masaka.

Kasasa ebbanja lw'eddwaalir...

Omuyimbi Disan Kasasa adduse ku kitanda ayimbire Mukasa awone ebbanja ly'eddwaaliro. Omuyimbi ono era omuzannyi...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka e Sironko gye yasisinkanidde abakulembeze ba NRM okuva e Sironko ne Bulambuli ku ssomero lya Masaba SSS.

Museveni asuubizza okuyamba...

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okussa mu bajeti y'eggwanga ssente ez'okudduukirira abasuubuzi ne bannannyini bizinensi...