TOP

Rebecca Jjingo yakaabye ng'ayanjula bba Joel

Added 24th April 2013

ABATUUZE ku kyalo Ssumba-Bukaluba- Buddo banaalwawo nga bajjukira okwanjula kwa muwala waabwe, omuyimbi Rebecca Jjingo.



 Bya JOSEPHAT SSEGUYA

ABATUUZE ku kyalo Ssumba-Bukaluba- Buddo banaalwawo nga bajjukira okwanjula kwa muwala waabwe, omuyimbi Rebecca Jjingo.

Jjingo yayanjudde Joel Isabirye mu maka ga Ssaalongo Samson Jjingo ku Lwokuna.

Isabirye ne Ssenga ow'ensonga

Isabirye ng'ava mu Limousine eyamutuusizza ku buko

Omuko Isabirye yalaze amaanyi bwe yabuukidde mu kanyonyi kannamunkanga akaamusudde ku kisaawe ky’essomero eririnaanyeewo.

Wano we yasanze mmotoka ekika kya Limousine eyamuseeyeeyezza okutuuka mu maka gye baamwanjudde.

Farid Mpagi, owa Bukedde ng'asitudde ebibbo

Irene Namatovu y'omu ku baasanyusizza abagenyi

Omukolo gwetabiddwaako bassereebu ba wano okuli abayimbi, bannakatemba, ssaako abakozi ba leediyo ne ttivvi ez’enjawulo.

Rebecca Jjingo yakoze effujjo ku mukolo erya buli kika bakira nga bw’azina n’ayawuza ate nga bassereebu omuli Sam Ssimbwa ne munne Sophie Nantongo bwe basammuliza abaabaddewo ebibajjo bya laavu.

Titie ng’asangula amaziga, ate ku ddyo nga bakaabira mu kidaala.

Wakati mu mukolo Jjingo bwe yabadde ayita mu kidaala ky’abako okubabuuzaako, gye yagwiiridde ki Titie Tabel, muka Katongole, ne beegwa mu kifuba okumala akabanga nga buli omu bw’akaaba. 

Taata wa Jjingo.

LABA LAAVU: Omulangira Ssimbwa nga yeesigamye ku kabiite we Sophie.

Jjingo ne Titie baali bakola bombi ku leediyo emu, wabula Titie bwe yavaako abamu ne babitebya nti Jjingo ye yamulimirira era n’adda mu kifo kye n’atwala ne pulogulaamu Titie gye yali aweereza.

Boogere (ku kkono), muka Kitooke Rhaudah (owookubiri ku kkono), Sarah Nakaayi, Betty Mpologoma n’abagenyi abalala abaawerekedde Isabirye.

Jjingo ng’awuubira abantu.

Rebecca Jjingo yakaabye ng’ayanjula bba Joel

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....