TOP
  • Home
  • Aga wiiki
  • Okukyala kw'omuyimbi Ykee Benda kwafuuse kwanjula

Okukyala kw'omuyimbi Ykee Benda kwafuuse kwanjula

Added 8th May 2017

“NZE faama ono ye nnimiro yange naye kati mweyitira Malayika….” bwatyo omuyimbi Ykee Benda eyakuyimbira ‘Farmer’ ne Sheebah Karungi kati alina ‘Eva’ olukutte abavubuka omubabiro bwe yatandise ng’awaana omwagalwa we Omumbejja Julie Batenga.

 Ykee ng’amema ne malayika we.

Ykee ng’amema ne malayika we.

Wiiki ewedde Ykee Benda ng’amannya ge amatuufu ye Wycliff Tugume yatandise ku kisuubizo kye eri Batenga eky’okumuwasa mu bufumbo Obutukuvu bwe yakyadde mu maka ga ssenga we, Lillian Nasolo e Nabutti- Mukono ng’ono ye mukyala w’omubaka Jonson Muyanja Ssenyonga omukulu.

Ebimu ku bintu ebyaleeteddwa.

Wadde omukolo gwabadde gwa kukyala, naye ng’oyinza okulowooza kwanjula olw’engeri gye gwatambuziddwaamu n’obungi bw’abantu abaagwetabyeko okusingira ddala abooludda lw’omuwala era bano batudde mu weema.

Abamu ku bako abaawerekeddeko Ykee Benda.

Batenga yakyusizza emirundi ebiri ate bwe baatuuse okubuuza abako, bassenga, abawala b’awaka ssaako n’abalenzi bazze nga bazinira ku bidongo nga n’ezimu ku nnyimba obwedda DJ zaakuba zaabadde za Ykee Benda olwo enduulu n’esaanikira ekidaala nga bwe basuusuuta omuko abamu obwedda gwe bayita ssereebu.

Ssenga ng’agabula omuko ne besitimaani.

Ykee Benda ebintu naye yatutte ebiwerako. Batenga muwala wa Harriet Birabwa ne David Walugembe ate Ykee Benda mutabani wa Ruth Mbabazi ne Alex Mpakanyi ab’e Kireka.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...