TOP

Nnaalongo ku gwe omutima gwange kwe gwasibira- Ssalongo

Added 5th June 2017

LYABADDE ssanyu jjereere ng’omukozi w’olupapula lwa Bukedde Prossy Nanziri agattibwa mu bufumbo Obutukuvu ne bba Solomon Aaron Muyita omwogezi w'ekitongole Ekiramuzi.

 Abagole Ssalongo Solomon Muyita ne Nnalongo Prossy Nanziri Muyita

Abagole Ssalongo Solomon Muyita ne Nnalongo Prossy Nanziri Muyita

Bya DEO GANNYANA

LYABADDE ssanyu jjereere ng’omukozi w’olupapula lwa Bukedde Nnaalongo Prossy Nanziri agattibwa mu bufumbo Obutukuvu ne bba Solomon Aaron Muyita omwogezi w'ekitongole Ekiramuzi.

Ku ssaawa 6:00 zennyini abagole baayingiddewo nga beevuga mu mmotoka embikkule era essaawa y’okugatta bwe yatuuse omuko era mukulu wa Nanziri, Rev. Fr. Oscar Ssuuna yamututte ewa kabona okumugatta.

Abagole Solomon Muyita n’owuwe Prossy Nanziri ne Ssaabalamuzi Bart Katurebe oluvannyuma lw’okubagatta mu Kkanisa ya All Saints e Nakasero.

 

Okugatta kwabadde mu Kkanisa ya All Saints Church e Nakasero era nga baagattiddwa Rev. Canon Geoffrey Byarugaba eyabakubirizza okuwa obufumbo bwabwe ekitiibwa.

Akulira abalamuzi mu Uganda Yolokamu Bamwine ne mukyala we nga babuuza ku bagole ku mbaga.

 

Ekkanisa yabadde ekubyeko abakozi okuva mu kitongole ekiramuzi abaabadde bakulembeddwaamu Ssaabalamuzi Bart Katureebe, Eyaliko Ssaabawolereza wa Gavumenti Fred Ruhindi, omulamuzi Catherine Bamugemereire n’abalala bangi.

Omuko Rev. Fr Oscar Ssuuna ng’akwasa mwannyina Prossy eri Omusumba okubagatta mu bufumbo Obutukuvu.

 

Ate ng’oludda olulala luliko abakozi ba Bukedde abaabadde bakulembeddwaamu akulira empapula z’amawulire ez’ennimi ennansi, Godfrey Kulubya, atuukirwako amawulire ga Bukedde Richard Kayiira Ssaalongo, ow’ebyemizannyo, Kato Kawuma n’abalala.

Abagole Ssaalongo Solomon Muyita ne Nnaalongo, Prossy Nanziri wamu n’abaana baabwe ku mbaga.

 

Oluvannyuma abagole baasembezza abagenyi baabwe mu bimuli bya Moonland Gardens e Nsambya.

Ssaalongo Solomon ne Nnaalongo we nga beeraga amapenzi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...