
Emikolo gy’okukyala gyabadde mu maka g’omwami Dominic Kato n’omukyala Faridah Nakimera ng’ono ye ssenga wa Nabagesera.
Omuko Ssebadduka yasimbudde mu maka ga kitaawe, Charles Mugalu ne nnyina Betty Mugalu e Kasubi-Lubya ng’awerekerwako oluseregende lw’emmotoka ezaasobye mu 20.
Ye omuko yatambulidde mu mmotoka ey’ekika kya Benz embikkule ng’awerekerwako pikipiki za poliisi nga ziringa eziyisa ebivvulu.
Abatuuze b’e Kasangobe ewaabadde omukolo baasigadde batenda omuko Ssebadduka olw’ebintu ebitali bya bulijjo ebyabadde mu kukyala kuno kuba ebirabo bye baatonedde ssenga w’omukyala byabadde biyitirivu ng’oyinza okukuyita okwanjula.
Omuyimbi Carol Nantongo ye yasanyusizza abagenyi ku mukolo era omuko bwe yabadde asiibula baakubye ebiriroliro mu bbanga ebyasombodde abatuuze okujja okwerabirako okusinga okunyumizibwa.
Nabagesera bwe yalabye ebirabo nga bisusse obungi, yasoose kutyamu n’ategeeza nti bandiba nga babakoze kakodyo ka butadda kwanjula kyokka oluvannyuma omwogezi w’oludda lwa Ssebadduka yategeezezza nga bwe bagenda okudda mu bbanga ttono bakole okwanjula.