TOP
  • Home
  • Embaga
  • Batongozza omwoleso gwa 'Bride and Groom

Batongozza omwoleso gwa 'Bride and Groom

Added 2nd June 2018

ENTEEKATEEKA z’omwoleso gw’ebyemikolo n’embaga (Bride and Groom Expo) ziri mu ggiya.

 Susan Nsibirwa (owookusatu okuva ku kkono) akulira okutumbula ebya Vision Group ng’ali n’abamu ku bagenda okuwagira omwoleso gwa Bride and Groom Expo 2018 ku Lwokusatu. Baabadde batongoza enteekateeka y’omwoleso guno.

Susan Nsibirwa (owookusatu okuva ku kkono) akulira okutumbula ebya Vision Group ng’ali n’abamu ku bagenda okuwagira omwoleso gwa Bride and Groom Expo 2018 ku Lwokusatu. Baabadde batongoza enteekateeka y’omwoleso guno.

Gwakubaawo nga June 22- 24 e Lugogo mu kibangirizi kya bannamakolero (UMA) mu ‘Multipurpose hall’ era abategesi aba Vision Group efulumya ne Bukedde ku Lwokusatu baasisinkanye ab’ebitongole n’amakampuni abawagidde omwoleso gw’omwaka guno okubayitiramu enteekateeka we zituuse.

Joweria Nabuuma avunaanyizibwa ku kutegeka ebivvulu bya Vision Group, mu nsisinkano eno eyabadde ku kitebe kya Vision Group yategeezezza nti abantu tebasaanye kusubwa mwoleso gwa mwaka guno kubanga gutegekeddwa nga gwanjawulo okujaguza emyaka 10 bukya mwoleso gwa Bride and Groom Expo gutandikibwawo.

“Omwoleso guno guzze gweyongera amaanyi buli mwaka ate ku mulundi guno kigenda kuba kisuffu eri ffe abategesi n’abagenda okwolesa.

Tubakuutira okuleeta ebintu ebiri ku mulembe ebisobola okusikiriza abaguzi nga babawa ekyo kye beetaaga.” Nabuuma yayongeddeko nti, “Buli kimu kye weetaaga okumanya oba okugula ekikwatagana n’emikolo n’embaga gyekiri.

Tukuleetedde abakugu mu byemisono okuli; Anita Beryl, K Rap, Glitz by Nalu n’abalala.” Mu birala ebitegekeddwa mu mwoleso guno gy’emisomo gy’abaagalana era kojja Kevin Nyanja ne Ssenga Hamida Namatovu gyebali nnyo.

Namatovu agamba yeesunze okusisinkana abanoonya ababeezi n’abalina abaagalwa okubawa obukodyo bw’okuzza laavu yaabwe obuggya.

Buli aneetaba mu mwoleso waakuwangula Ng’oggyeeko okugula n’okunyumirwa ebigenda okwolesebwa, Nabuuma agamba nti buli muntu alina omukisa okufuuka omuwanguzi mu mwoleso guno.

Ng’oggyeeko okugula tikiti 10,000/- ekuyingiza mu mwoleso, waliwo obukonge obussiddwaawo ku 2,000/-buli kamu.

Wonna w’onookagula osooka kuwangula kirabo ekya kagwirawo ate oluvannyuma akakonge ko kajja kussibwa mu kalulu akagenda okukwatibwa olwo abawanguzi bafune ebirabo ebyenjawulo omuli n’ebintu ebikozesebwa mu maka nga ttivvi ez’omulembe ne firiigi.

Tosubwa amasanyu Mu mwoleso guno oguwagiddwa aba Pepsi, Kenya Tourism Board, Bridal World, Darling, Afdal Bistro ne Silk Events, mulimu enteekateeka eyenjawuuo ekoleddwa okusanyusa abantu era tosubwa abayimbi okuli; David Lutalo, Rema, Cindy, Michael Owuma n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kwiini ne bba Philip (kati omugenzi)

Philip, bba wa Kwiini wa Bu...

OMULANGIRA Philip, bba wa Kwiini wa Bungereza afudde!

Kanso y'e Mbale etangaazizz...

Kkanso y’e Mbale evuddeyo n’etangaanza ku nsako ya bakansala emaze emyaka 2 nga tebaweebwa. Bakansala 36 be baludde...

Sitoowa za JMS zikutte omul...

Ebizimbe bya Madhvani okuli sitoowa z'ekitongole kya Joint Medical Stores zikutte omuliro mu kibangirizi ky'amakolero...

Ebya Ssegirinya obutava mu ...

OBUTAKWATAGANA bwa balooya ba Muhammad Ssegirinya obwamulemesezza okuva mu kkomera e Kitalya abamu babutapuse ng'akakodyo...

Abasiraamu e Mityana bafuny...

Abakulembeze b’Obusiraamu mu disitulikiti y’e Mityana bali mu ssanyu oluvannyuma lw’okukwasibwa mmotoka Kapyata...