TOP
  • Home
  • Embaga
  • Omusumba akuutidde abafumbo abagattiddwa: 'Mwewale eng'ombo ya 'nfumba lwa baana'

Omusumba akuutidde abafumbo abagattiddwa: 'Mwewale eng'ombo ya 'nfumba lwa baana'

Added 5th September 2020

OMUSUMBA w'essaza lya Kasana Luweero alabudde abaagalana abaasazizzaamu emikolo gy'okugattibwa mu bufumbo obutukuvu mu biseera bino olw'ekirwadde kya Covid19 nti baakwejjusa olw'okuyimiriza emikolo gino.




Omusumba Paul Ssemwogerere bino abyogeredde  ku mukolo gw'okugatta abagole Patrick Ssevvume Ddamulira ne Venerah Nakiwala ogubadde ku Kigo ky'e Nattyole ku Lwokutaano nga gwetabiddwako abasosodooti mikwano gy'abagole okuva mu bigo eby'enjawulo.
Omusumba agambye nti abagole bafunye omukisa obutasasaanya buwanana bwa ssente olw'okuba nti abantu batono ddala abeetabye ku mukolo era nga baawonye n'okugeyebwa abantu abangi ababeera ku mikolo nga beenoonyeza ebyabwe.
Asabye abafumbo  okutuukiriza obuvuunaanyizibwa bwabwe obw'enjawulo omuli okwagala amaka nga Kristu bw'ayagala Kelezia, n'agamba nti balina  okuba eky'okulabirako mu maka beewale engombo ya 'nfumba  lw'abaana'.
Abakuutidde n'okusonyiwagana, ensonga zaabwe bazizze mu Kleziya okuzigonjoola ssinga babeera bafunyemu obuttakkaaya.
Mu ngeri y'emu era omusumba  ajjukiza abazadde  obuvuunaanyizibwa bwabwe obw'okugunjulanga  abaana n'okubassa mu masomero gavumenti bw'eneeba egagguddewo.
Ku ky'okuggula amasinzizo agambye nti bakwasiza wamu n'ekibiina ekibagatta ekya Inter religious council okuteeseganya ne gavumenti kyokka ng'ekibuuzo ekyebuuzibwa kwe kuba oba ng'abantu banaagoberera amateeka agassibwawo.
Asabye abantu bonna okugoberera ebiragiro bya gavumenti omuli okwewa amabanga n'okwambala nga masiki buli kadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh ng'annyonnyola okutalaka mu Busiraamu.

▶️ TAASA AMAKAGO: OKUTALA...

TAASA AMAKAGO: OKUTALAKA MU BUSIRAAMU KYE KI?

Lumbuye Nsubuga mmeeya wa Makindye Ssaabagabo (ku kkono), minisita Magyezi ne  Mbabazi RDC wa Wakiso nga balaga sitampu z’ebyalo ezaatongozeddwa.

▶️ Gavumenti etongozza si...

GAVUMENTI entongozza sitampu z'ebyalo, minisita wa Gavumenti ezeebitundu Raphael Magyezi n'alabula abakulembeze...

Owa LDU, Emmanuel Ogema (ku kkono), David Owiri (amuddiridde), Vincent Olenge ne Jakis Okot (ku ddyo) abaakwatiddwa.

▶️ Owa LDU bamukwatidde mu...

OMUJAASI wa LDU bamukwatidde mu kibinja ky'abakukusa amasanga n'ebitundu by'ensolo z'omu nsiko eby'omuwendo. ...

Papira (ku kkono), Acieng, Kobugabe ne Isaac Mukasa, akulira engule za Fortebet Real Star Monthly Awards. Mu katono ye Komakech.

Owa Hippos ajja kusinga Ony...

FLORENCE Acieng, nnyina wa ggoolokipa wa Hippos (ttiimu y'eggwanga ey'abali wansi w'emyaka 20), agambye nti mutabani...

Minisita Kitutu

Gavumenti yaakuwa abantu 30...

GAVUMENTI eyanjudde enteekateeka okuddamu okugabira amaka 300,000 mu byalo amasannyalaze okutandika ku Mmande ya...