TOP
  • Home
  • Ssenga
  • ‘Waliwo abagagga abaagala okutwala ettaka’

‘Waliwo abagagga abaagala okutwala ettaka’

Added 23rd June 2011

Wabula abakulira akatale bagamba nti waliwo abagagga b’omu Kampala abakozesa akabinja k’abasuubuzi mu katale kano balemese okuzimba akatale ka Owino.

“Entegeka z’okuzimba akatale tezikyayimirira, kuba omuntu bw’amala okugula obwannannyini nga ffe bwe twaguze liizi y’akatale k

Wabula abakulira akatale bagamba nti waliwo abagagga b’omu Kampala abakozesa akabinja k’abasuubuzi mu katale kano balemese okuzimba akatale ka Owino.

“Entegeka z’okuzimba akatale tezikyayimirira, kuba omuntu bw’amala okugula obwannannyini nga ffe bwe twaguze liizi y’akatale kano ku KCCA, obuvunaanyizibwa ffe tubulina okuzimbawo,” Ssentebe w’abasuubuzi Mw. Nkajja Kayongo bwe yagambye.

Abasuubuzi abeegattira mu kibiina kya St Balikuddembe Stalls & Lock –Up Shop Owners Association (SSLOA)  baafunye liizi y’akatale kano ya myaka etaano, oluvannyuma eyinza okuzzibwa obuggya n’efuuka ya myaka 99.

Lwaki ebibiina ebiwakanya Kayongo bingi?
Kayongo yagambye nti buli muntu alina eddembe okutandikawo akabiina ke naye tekalina kulemesa nkulaakulana y’abasuubuzi 10,000 abalina emidaala gyabwe  egy’obwannannyini mu katale kano.

SSLOA ky’ani?
Akatale ka Owino kalimu obubiina obusukka mu 200. Ekya SSLOA kyava mu basuubuzi 10,000 bannannyini midaala abaatuula mu 2006 ne basalawo okwekolamu ebitongole 110.
Buli kitongole ku kibiina kya SSLOA kikiikirirwa abantu bataano. “Twakkiriziganya tugule liizi era ne Kivumbi, omu ku balina obubiina buno obututawaanya yalimu mu lukiiko olwo.

Buwumbi buna oba 10?
Twasalawo buli muntu ayagala omudaala ku bantu 10,000 asasule 1,000,000/- tufune obuwumbi 10.
Twali tukimanyi nti liizi ya KCCA ya buwumbi nga butaano, ezisigaddewo tuguleko ettaka ly’okusengulirako abasuubuzi nga bwe tuzimba akatale.
Kino twakituukiriza, ssente ezisigalawo zikole ku  nteekateeka y’okuzimba akatale omuli okukuba pulaani n’ebirala,” Kayongo bw’annyonnyola.

Ani yabuzaabuza Pulezidenti?
Kayongo agamba nti Kivumbi ne banne be bakoze omupango babuzeebuze Pulezidenti.
“Kino takitandise kati, bwe yali akyali mu KCC gye yava ne banne 11, bajojobya nnyo abasuubuzi baffe nga babakwatanga buli olukedde.
Ebisango bye baabassangako nti bakolera mu luguudo,” bw’ajjukiza.
Kayongo annyonnyola:
Bwe twali tuva mu biwempe okuzimba amabaati n’okuva mu bibaati okuzimba akatale kano ke tugenda okumenya, Kivumbi azze atutawaanya.
Nga tuzimba akatale kano ke tugenda okumenya, Kivumbi yakumanga mu basuubuzi omuliro nti tubabba kubanga bbanka y’ensi yonna yali yatuwa ssente okukazimba ekitaali kituufu.
Kivumbi yali asaba mu KCC liizi y’akatale kano eya Plot 24 ekunukkiriza mu yiika ttaano ng’ate akatale konna kalina yiika mwenda!

Ebiwandiiko bye babadde basaasaanya mu bantu ebiraga nti abasuubuzi bonna abaasonda ssente za liizi bazinoneyo biva wa Kivumbi.

Ekirungi nti abasuubuzi ba Owino kati balabye omusana, w’osomera bino nga 9,200 bamaze okusasula  akakadde akamu ze twasala.

Kivumbi amaze emyaka 13 nga tasasula ssente za kifo w’akolera. Akozesa aba KCC b’amanyi kuba eyo gye yali akolera.

Etteeka lya KCCA ligamba nti omuntu bw’amala emyaka esatu egy’omuddiring’anwa nga tasasula ssente za kifo w’akolera aba takyalina bwannannyini ku kifo kino. ”

Enkaayana ku midaala
Kivumbi agamba nti Kayongo yeekomya emidaala egisinga obungi mu Owino.
Wabula Kayongo yagambye nti si kituufu. “Edduuka Kivumbi mw’alina ofiisi lyali lyange naye yagaana okunsasula ssente z’obupangisa,” bwe yagambye.

Lwaki weeremeza ku buyinza?
Abantu be bannonda era kati ke twegulidde liizi, bannannyini midaala n’amaduuka 10,000 bokka be balina  okunnonda.
Sikyayitibwa ssentebe nga ow’eggombolola, kati ndi  Chief Executive Project Coordinator. Bw’oba tomatidde genda ompaabire!

Obbira mu kibiina kya MAVAP?
Waliwo abagamba nti ekibiina kya MAVAP mwe tubbira abasuubuzi ssente. Kino  kibiina ekijjanjaba abalwadde ba siriimu mu butale ku bwereere. Abantu abasoba mu 7,000 baganyulwa mu ddagala ekibiina lye kigaba.

Loole ya Pulezidenti wagissa wa?
Mu 1992 Pulezidenti Museveni yatukyalira mu Owino n’asanga nga tulina ebibiina nga 15 eby’enjawulo.
Yatuwa amagezi  twekolemu kkampuni mw’aba ayisa ssente z’okugula loole gye twamusaba. Bwe natuukirira olukiiko lw’abasuubuzi ne mbagamba nti buli omu aleete  5,000/- tuwandiise kkampuni eno baagaana.
Ebiseera ebyo okuwandiisa kkampuni kyali kyetaagisa 7,000/- . Baatuuka n’okugenda ow’eyali meeya, Christopher Yiga ne bampaabira nti mbakaka okusasula ssente.

Yiga yandagira obutakaka musuubuzi yenna kuyingira mu kkampuni eno. Abasuubuzi nga 50 ffe twasasula ssente zino. 

Loole gye baatuwa nagikwasa abasuubuzi, bwe baagiweereza e Bunyoro okuleeta ebyamaguzi gye yafiira. Okumala emyezi esatu ng’eri eyo.  Bwe nnagikomyawo ne nsaba abasuubuzi beesonde bagikole n’ebalema. Nagikozesa ne ngipaakinga mu Owino, eringa kijjukizo.

Omuwabuzi wa Pulezidenti owenjawulo ku byobutale
Pulezidenti bw’annonda okubeera omuwabuzi we owenjawulo ku byobutale, yandagira ntuukirire abasuubuzi mu butale bwonna beewandiise okufuna ssente z’enkulaakulana.
Natalaaga  eggwanga lyonna naye abasinga baagaana nga bagamba nti wadde okwewandiisa kwa bwereere naye kirabika njagala kubabba.
Pulezidenti bwe yampa ssente zino okuzitwala mu bantu ate entalo z’owulira mu butale bwonna nga bazirwanira ne zitandika!,” Kayongo bwe yennyamira

Akatale kazimbibwa ddi?

Omwogezi w’akatale kano, Wilberforce Mubiru yang’ambye nti batandika mu August okuzimba akatale.

Bya Joseph Mutebi
“Twatutte ettaka ly’akatale mu bakugu balikebere oba lisobola okuwanirira ekizimbe ekya kalina 13.
Essaawa yonna KCCA egenda kutukwasa ekyapa ky’ettaka, ku olwo tugenda kusala ente 150. Akatale kaakubaamu amaduuka amagazi, kaakukoleramu abasuubuzi

‘Waliwo abagagga abaagala okutwala ettaka’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...