TOP
  • Home
  • Ssenga
  • ‘Bajeti y’omwaka guno tesaanye kunyigiriza ba bukolero butono’

‘Bajeti y’omwaka guno tesaanye kunyigiriza ba bukolero butono’

Added 5th June 2011

Abasuubuzi  ab’obukolero obutono bo balaajanidde Gavumenti bw’eba esoma bajeti y’omwaka guno ekendeeze emisolo ku bikozesebwa wonna kubanga bo ne bwe babasonyiwa emisolo egimu era gye bagula ebikozesebwa mu bukolero byabwe babifuna ku buseere.

Bannyonnyodde bwebati:
Hajat Ssendagire a

Abasuubuzi  ab’obukolero obutono bo balaajanidde Gavumenti bw’eba esoma bajeti y’omwaka guno ekendeeze emisolo ku bikozesebwa wonna kubanga bo ne bwe babasonyiwa emisolo egimu era gye bagula ebikozesebwa mu bukolero byabwe babifuna ku buseere.

Bannyonnyodde bwebati:
Hajat Ssendagire atunda ebirungo ebikozesebwa okutabula emmere y’enkoko mu Kisenyi: Omusolo gutunyiga,  tegwandibadde mubi naye buli lwe bongeza ebbeeyi y’amafuta ng’abatuguza bye tukozesa bongeza.

Kasooli yava ku 70,000/ okudda ku 90,000/- ensawo; Mukene kkiro evudde ku 400/- okutuuka ku 1,400/-; cotton seed kkiro evudde ku 200/- n’egenda ng’erinnya kati eri ku 1,400/-. Ebibanda we tukolera twasasulanga  70,000/- kati tusasula 200,000/-. Nsaba kasooli gwe batwala ebweru batwale mususunsule wano tusigaze caccu kubanga ffe gwe tukozesa.

Ibrahim Kizito alina ekyuma ekisa emmere y’enkoko: Omusolo gwe tuwa gubadde tegutunyiga nnyo kubanga abatugerekera tusobola okwogera nabo ne bamanya ddala muntu ki gwe bagerekera.

Ekitunyiga gwe musolo ogwa buli mukozi gwe nkozesa, mbeera nnina okumusasulira 20,000/- buli mwezi.

Patrick Mulondo wa kyuma ekisa emmere y’enkoko: Gavumenti bwe yatuula ne KACITA omwaka oguwedde baayimiriza layisinsi (Trading Licence) omwaka guno era kibadde tekitunyize.

Gavumenti eyingire mu bintu bino ekkakkanye enkyukakyuka mu miwendo, ezzeewo ebyagi omwaterekebwanga emmere ey’ensigo.

Eyongere ssente mu byobulimi  kubanga kati akatale ka kasooli weekaali naye ye taliiwo ekivaako bbeeyi okwewanika ne tunyigirizibwa.

Mbaalu Mawanda alina akuuma akasa ebinyeebwa mu Owino: Omusolo gwe mpa obutereevu nsasula masannyalaze n’ekifo we nkolera.

Wabula twerimbira bwereere nti baatukendeereza ku misolo kubanga gye tugula ebintu bisigadde ku buseere.

Bbeeyi kwe tusuubulira ebinyeebwa buli kiseera erinnya, toyinza kung’amba nti sisasudde musolo ng’aggya ebinyeebwa mu kyalo omuseera amafuta, awo ye alina kwongeza binyeebwa nze ne mbisuubula ku buseere.

Lubowa Tamale Masuudi, muweesi mu Kisenyi: Ffe tetulina musolo gwe tusasula butereevu naye bw’otuuka gye tugula amabaati ge tukozesa gy’otegeerera nti tetwasonyiyibwa musolo.

Nga basoma bajeti eno sisuubira kumpa kyanjawulo ku bibaddewo kubanga bazze batusuubiza okutufunira ekifo we tukolera naye bwe twazuula ettaka mu Kisenyi ne Minisita n’ajja n’alirambula ate baaliguza Bayindi ne bazimba Ovino.

Gavumenti ekole ebintu bino; etuteekere eddagala mu malwaliro, esale omusolo ku bikozesebwa mu bulamu obwabulijjo; eyongeze omusolo ku bintu by’okwejalabya nga sigala n’omwenge ne loogi, egukendeeze ku bikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo era ekendeeze ku ssente z’esaasaanya ku bakungu baayo, olwo tujja kuganyulwa.

Ab’obukolero obutono balowooza nti engeri gye bali abangi ate nga be basinga okuwa Bannayuganda emirimu, ekitongole ky’emisolo ekya URA kiteekeddwa okukyusa engeri gye kibakwatamu.

“Lwaki bayinvesita abamu abanene naddala abagwira bo baweebwawo ebbanga nga tebasasula misolo, sso nga ffe tebalituwa?,” bangi obwedda bwe bambuuza.

Wabula ekisinga obubi kwe kuba nga wadde ab’obukolero ne bizinensi entono bangi, Gavumenti abasinga tebamanyi! Mu Kenya, ekitongole ky’omusolo kiwandiika buli bizinensi ekitali mu Uganda. Buli alina oba atandika bizinensi libeere tteeka nti erina okuwandiisibwa, si nsonga oba egenda kugwa enkya.

Kino kiyamba Gavumenti bw’eba erina ekirowoozo ky’okubayambako okwekulaakulanya. Naye oyinza otya okuyamba bizinensi nga tomanyi gyeziri?

Gavumenti era esaanye ab’obukolero obutono n’abalina bizinensi entonotono ezikolerwamu abantu abasoba mu 10 okuziwaayo ekyenjawulo. Okugeza lwaki yuniti y’amasannyalaze n’amazzi eri abantu bano tekendeerako kikendeeze ku ssente ze beetaaga okukola bizinensi?

Mu ngeri eno kijja kubayamba okwongera okuyiiya okugaziya bizinensi zaabwe.

‘Bajeti y’omwaka guno tesaanye kunyigiriza ba bukolero butono’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazannya ‘Bizzonto’ nga beegezaamu.

Abazannya komedi wa 'Bizzon...

POLIISI ezzeemu okukwata abasajja abazannya komedi wa ‘Bizzonto’ ne basimbibwa mu kkooti ya Buganda Road gye babasomedde...

Kluthum

Kluthum ayogedde ku katambi...

MUKYALA wa Sheikh Muzaata Batte, Kluthum Nabunnya ayogedde ku katambi akaamutabula ne bba bwe yali ayogera ne ‘hawusibooyi.’...

Bannamateeka ba Kyagulanyi okuli Medard Lubega Sseggona ( ku kkono), Muwanda Nkunnyingi ne Sam Muyizzi.

Kkooti esazeewo ku gwa Kyag...

KKOOTI ekkirizza Kyagulanyi okuggyayo omusango gw’obululu gwe yawaaba wabula abalamuzi baakuwa ensala yaabwe ku...

Siraje Kiyemba Expert ng’alaga ebirabo by’atunda.

Kaadi n'ebirabo byongereko ...

OBADDE okimanyi nti ekirabo ky’otunda okwagaliza omuyizi okukola obulungi ebibuuzo eby’akamalirizo osobola okukyongerako...

Sheikh ng'annyonnyola okutalaka mu Busiraamu.

▶️ TAASA AMAKAGO: OKUTALA...

TAASA AMAKAGO: OKUTALAKA MU BUSIRAAMU KYE KI?