TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ani yaluka olukwe lw’okutta omusuubuzi w’omu Owino okumubbako amaka, emmotoka ne pikipiki?

Ani yaluka olukwe lw’okutta omusuubuzi w’omu Owino okumubbako amaka, emmotoka ne pikipiki?

Added 18th May 2011

Eby’aboogezi nga bw’obimanyi, poliisi y’e Kisubi ku lw’e Ntebe yakwata Kasujja n’emuggalira, kyokka waayita mbale n’emuyimbula ng’ebuliddwa obujulizi obumuluma okumutwala mu kkooti avunaanibwe.

Poliisi okukwata Kasujja kyaddirira abooluganda lwa Namayengo okumala akas

Eby’aboogezi nga bw’obimanyi, poliisi y’e Kisubi ku lw’e Ntebe yakwata Kasujja n’emuggalira, kyokka waayita mbale n’emuyimbula ng’ebuliddwa obujulizi obumuluma okumutwala mu kkooti avunaanibwe.

Poliisi okukwata Kasujja kyaddirira abooluganda lwa Namayengo okumala akaseera nga beemulugunya ng’omusajja ono bw’atulugunya omwana waabwe.

Ekisinga okwewuunyisa abantu kwe kuba nti Kasujja yali agaanyi okulaga abooluganda omulambo gwa mukazi we we guli okutuusa poliisi lwe yamulemerako, n’agitwala e Bombo mu nkambi y’amagye gye baaguggya!

Sarah Nakiyonga, nnyina w’omuwala

Ono talina kubuusabuusa nti Kasujja alina ky’amanyi ku kufa kwa muwala we. Abinnyonnyola bwati:

Nategeera okufa kw’omwana wange nga April 12, 2011. Nali nasemba okumulabako nga April 5, bwe nagendako mu maka ge e Kawuku ng’amaze kumpi wiiki nnamba tajja ku mulimu.

Namayengo yali akola mu katale ka Owino mu kiyumba kya Nakanjakko ekitunda ebyobuwangwa ng’embugo, ebita n’ebirala. Eno nange gye nkola.

Nga Hajara tannafa, nasooka kuwulira nti mulwadde, nagendayo okumulaba era mmutwale mu ddwaaliro kyokka omusajja ono n’amugaanira.

Naye mu kiseera kino nga ndaba atandise okwogera ebintu ebitakwatagana ng’alinga agudde akazoole, oluvannyuma kye namanya nti yalina ebiragala by’amunywesa.

Naddayo enfunda eziwera okutwala omwana mu ddwaaliro naye omusajja yeerema.Nalaba bigaanyi kwe kugenda ku poliisi e Kisubi, ne bang’amba nti ensonga nsooke nzitwale ku LC ne nkikola.

Ku LC nnayagala Ssentebe w’ekyalo annyambeko ntwale omwana mu ddwaaliro, kyokka ne LC nayo teyannyamba. Twagendayo omusajja n’atulemesa ate ne Hajara n’agaanira mu nnyumba. Poliisi yabeegayirira baggulewo baagaana.""

Ebikwata ku Namayengo
Mu Owino, Namayengo yakolerayo emyaka musanvu.Gye yaggya ssente n’agula poloti e Kawu ku mu Kakindu zooni n’azimba amaka amanywevu. Byonna ng’abimaze, yagula Corona UAG 057N ne pikipiki Bajaj Boxer UDR 114D bba Kasujja gye yali amuvugirako nga bagenda mu katale ka Owino okukola.

Ababamanyi bagamba nti, omukwano gwa Kasujja ne Namayengo tegwali mukadde nnyo , gwali gwakamala emyezi nga munaana Namayengo n’afa.

Okuganza Kasujja, Namayengo yamala kwawukana ne bba Mutyaba gwe yazaalamu omwana omu Raisha Nakitende. Olw’omutijjo gw’omukwano omupya, Namayengo yasembeza Kasujja n’atuuka n’okumutwala mu maka ge e Kawuku.

Kasujja yali atunda mapeesa okuliraana Namayengo era wano we yamwegombera n’amukwana. Nakiyonga alumiriza nti Kasujja bwe yalaba nga muwala we alina ebyobugagga kwe kuyiiya engeri gy’abimunyagako!

Bakwata Kasujja
Ssanyu Dambya, muganda wa Namayengo yang’ambye nti: Olwa April 12, waaliwo omu ku bakasitoma bange ayitibwa Dan eyankubira essimu ku ssaawa nga 2:00 ez’ekiro n’ambuuuza nti, ‘Wamma Hajara kituufu afudde?’ Namubuuza, ‘Ani akugambye?’ teyaddamu bulambulukufu era ssimu n’agiggyako.

Kino kyatuwaliriza okugenda mu maka ge e Kawuku tulabe ekiriyo. Nze ne maama twatuukayo essaawa nga 4:00 ez’ekiro, wabula nga munda kuliko leediyo eyimba naye ng’ennyimba si za nnaku! Twakonkona ne bagaana okutuggulira!

Twakonkomalira ebweru w’ekikomera okumala ebbanga,twavaawo nga ku ssaawa mukaaga ogw’ekiro ne tudda e Busega.

Nakiyonga agamba:
Mba ndi awaka ku ssaawa nga 12:00 ez’oku makya nga Kasujja ankubira ssimu ng’ang’amba mu ngeri ekinagguka nti, ‘Kye wayagaliza embazzi kibuyaga asudde, Hajara afudde!’

Naye mu kusooka nga nnaakawulira olugambo lw’okufa kwa Namayengo nakubira omuserikale omu ku poliisi e Kisubi ne muyombesa olw’omwana wange okufa n’atannyamba.

Ku olwo Kasujja lwe yambikira, poliisi nayo yankubira ne bang’amba nti, ‘Omutemu eyasse muwala wo tumukutte!’ Ng’enda okutuuka ku poliisi nga Kasujja bamukutte.

Ani yaluka olukwe lw’okutta omusuubuzi w’omu Owino okumubbako amaka, emmotoka ne pikipiki?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Achen nga yaakamala okulongoosebwa essasi mu kabina mu ddwaaliro e Mulago.

Omusuubuzi eyakubwa essasi ...

OMUSUUBUZI eyakubwa essasi ne liwagamira  mu kabina alongooseddwa ne balimuggyamu. Harriet Achen 37 omusuubuzi...

Colin Asiimye Kitunzi wa Multichoice ng'annyonnyola

Aba Multi choice baddizza k...

ABAKUNGU ba kampuni ya "MultiChoice basaze emiwendo gy'empereza yaabwe n'ekigendererwa kyokuyamba  bakasitooma...

Abakungubazi mu kuziika omutaka Kavuma Kaggwa.

Omutaka w'e Kyaggwa aziikiddwa

'Kavuma Kaggwa abadde musajja ow’ensa era awa abantu abalala ekitiibwa.'

Omusumba Jjumba ne bannaddiini  nga basabira omwoyo gwa Ssaabasumba.

Omusumba w'e Masaka Jjumba...

Omusumba w'e Masaka Severus Jjumba y'akulembeddemu mmisa y'okusiibula Ssaabasumba w'Essaza ekkulu erya Kampala,...

Khalid Al Amer nga yaakatuuka.

Omuwalabu asinga 'okwemulis...

Munnansi wa Buwalabu Khalid Al Ameri ng' ono amanyidwa nnyo okukozesa emikutu gy'omutimbagano okulaga abantu by'akola...