Nakiyonga yajja n’atutegeeza ku nsonga ng’ayita mu Ssentebe w’ekitundu Badru Mulumba ne tugenda era buli kimu mbadde nkikola ng’aba LC bakimanyi.
Lumu twasanga Kasujja ne mukyala we mu nnyumba kyokka ng’omukazi mulwadde, nagezaako okumutwala mu ddwaaliro ku mpaka n’agaana ng’agamba nti abadde mu ddwaaliro. Okukakasa kino yandaga amakerenda n’ebbaluwa y’eddwaaliro.
Olw’okuba Nakiyonga yali amaze okuggulawo omusango gw’okubula kw’omwana we ng’ateebereza Kasujja okumubuza, n’ategeeza Kasujja okujja enkeera ku poliisi akole sitaatimenti kyokka teyalabikako.
We bankubira nti Namayengo afudde abaserikale bange baali bamaze ekiseera nga beetawula ewuwe naye nga tabaayo.
Neesitula ne ngenda ewa Namayengo okukakasa oba yali afudde, nasangawo bantu balala naye ng’omulambo teguliiwo. Nabuuza Kasujja lwaki yagaana okujja ku poliisi okukola sitaatimenti nga tanyega kwe kumukwata.
Ku poliisi yamalayo ennaku 21, n’aweerezebwa mu kkooti era eno ne bamuyimbulira ku kakalu ka kkooti. Olwo nakiyonga asinziira ku ki okugamba nti poliisi y’e Kisubi ye yamuyimbudde?""
Â
Omulambo e Bombo
Madiri ayongerako:
Enkeera twafuna mmotoka ya poliisi ne tuteekamu Kasujja ne tugenda okwaza amaka ga Namayengo. Olwo nga Kasujja agaanyi okutubuulira omulambo gye guli.
Oluvannyuma yatutegeeza nti guli Bombo, era gye twaguggya okugutwala mu ddwaaliro e Mulago. Omufu baakizuula nti yafa kookolo wa bwongo era nti bwali butandise okuvunda.
Kino badokita abalala basatu aba poliisi baakikakasa.""
Â
Omulambo gw’omuntu atali muserikale gwatuuka gutya mu ddwaaliro ly’abaserikale e Bombo?Madiri agamba nti eddwaaliro lino lisobola okujjanjabirwamu abantu babulijjo naddala abo abalina abeng’anda zaabwe nga baserikale.
Kasujja alina mukulu we ali ku ddaala lya Major e Bombo.Omulambo e Bombo
Ensonga zange nazitegezaako Moses Binoga, akolera mu kitongole kya poliisi ekirwanyisa ekisaddaaka bantu era ye yampa mmotoka gye twagenderamu e Kisubi. Abapoliisi kwe kutwala Kasujja mu maka ga Namayengo abalage omulambo, wabula ng’awera nti singa tebamukwata bulungi tajja kubalaga gye guli!
Poliisi yayaza enju yonna nga temuli
mulambo okutuusa lwe yayogera nti guli Bombo mu nkambi y’amagye era poliisi gye yaguggya okugutwala mu ddwaaliro e Mulago.
E Bombo gye twasanga mmotoka ya Namayengo nga waliwo omuserikale ali ku ddaala lya Major agivuga ne pikipiki ye era yali eno!
Â
Kasujja ayimbulwa
Nga April 22, abapoliisi e Kisubi bankubira ssimu, bwe nnatuukayo ne bang’amba nti Mw. Binoga ayagala kwogera nange. Baamumpa ku ssimu n’angamba nti, ‘Omanyi Kasujja tumusibye ebbanga ddene, kaakati tugenda kumuta ku kakalu ka poliisi, naye kino tekitegeeza nti omusango gumuvuddeko.’ Okuva olwo siddanga ku poliisi.
Kuba be nali nsuubira okumpa obuyambi ate nga be bankubira ssimu nti bakutte omutemu nze gye ssaali era nga simanyi na ngeri gye baamumanyaamu nti mutemu ate be baali bamutadde.
Â
Kasujja by’agamba
Kasujja yambuze, essimu ye tebaako kyokka sitaatimenti gye yakola ku poliisi e Kisubu egamba bweti:
Amaka g’e Kawuku ga mukazi wange era mu nju sirinaamu kintu okuggyako kadikooda ka Smart TV.
Mmotoka nayo ya mukazi, kyokka pikipiki Bajaj Boxer nze nnagigula. Ebintu bino byonna bikyali ku poliisi okutuusa nga tumaze okuleeta obukakafu ate poliisi n’ebunoonyerezaako okukakasa nti ddala kituufu.""
Â
Moses Kiggundu
Ono ye muwandiisi wa Kakindu LC I, yang’ambye:
Omukyala oyo Nakiyonga yajja n’ambuulira ku nsonga zino nga Kasujja bw’amugaanyi okutwala omwana we mu ddwaaliro.
Twagezaako okulaba nga tumuyamba, kyokka twalaba ensonga zikalubye kwe kumuwandiikira ebbaluwa emutwala ku poliisi. Poliisi nayo yagezaako n’eremwa, okutuusa omusajja lwe yaggyawo omukazi mbu yali amututte mu ddwaaliro, okuddamu okuwulira ng’afudde.
Â
Ssentebe wa Nakanjako mu Owino
‘Kasujja baamuteera mu kkooti, si ku poliisi’