TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Abajaasi ba Amerika 6,000 bafiiridde mu muyiggo gwa bin Laden mu myaka 10

Abajaasi ba Amerika 6,000 bafiiridde mu muyiggo gwa bin Laden mu myaka 10

Added 4th May 2011

Wadde bin Laden yattiddwa, olutalo si lwakuggwa mangu. Abajaasi ba Amerika 6000 be bafudde nga bayigga omumpembe ono ate abalala 55,000 ne balumizibwa nnyo.

Kyokka eri omuntu wabulijjo, omuyiggo gwa bin Laden gulese bangi nga bafeesa. Mu Iraq mwokka abantu babulijjo 1,200,000 be bagufiiri

Wadde bin Laden yattiddwa, olutalo si lwakuggwa mangu. Abajaasi ba Amerika 6000 be bafudde nga bayigga omumpembe ono ate abalala 55,000 ne balumizibwa nnyo.

Kyokka eri omuntu wabulijjo, omuyiggo gwa bin Laden gulese bangi nga bafeesa. Mu Iraq mwokka abantu babulijjo 1,200,000 be bagufiiriddemu ate mu afghanistan basukka mu 20,000, abalala 50,000 balumiziddwa.

Ate mu Somalia n’ensi endala eziriraanyeewo nga ne Uganda mw’ogitwalidde, omuyiggo gwa bin Laden n’abalwanyi be gwakafiiramu abantu 65,000.
Okuva mu 2001, bin Laden akozeeyo ennumba endala 13 era abantu abafiiriddemu basoba mu 1,000.

Omuyiggo gwa bin Laden gusudde ensi nnyingi era n’okwekalakaasa okuli mu kyondo kya Buwalabu oyinza okugamba nti ensigo eyakutandika yava ku muyiggo gwa bin Laden n’aba al-Qaeda nga Amerika, Bungereza n’amawanga g’Abazungu gaagala okussaako abakulembeze bwe bakwatagana.

Kyewuunyisa nti Obama naye yajja mu buyinza lwa bin Laden, kuba Pulezidenti Bush bwe yadiibuuda ssente okulwana olutalo mu Iraq ne Afghanistan n’aleka ng’ebyenfuna by’eggwanga lye biragaya. wano Obama we yafuna oluwenda olwenyigawo.

Okuva Obama lw’asse bin Laden, akubye ekkonde evvannyuma abo ababadde bagambanti abasajja bombi balinnya mu kimu.
Wabula kwo okutta bin Laden kulinga okusala akawuuwo ku musota, gusigala mulamu, ate nga mukambwe nnyo. Ohama anaagusimattuka?

 

Abajaasi ba Amerika 6,000 bafiiridde mu muyiggo gwa bin Laden mu myaka 10

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.