Â
Agamba nti okusooka baali baagala okuteekawo ekirabo ekyenjawulo kituumibwe mu byenjigiriza kituumibwe Joseph Mary Mubiru Memorial Academic Award okujjukira omulimu omulungi Mubiru gwe yakolera ebyabbnaka mu Uganda okuba ssenkulu wa bbanka ya UCB eyasooka, Gavana wa bbankaya Uganda enkulu eyasooka era eyatandikawo ekibiina ekigatta abakozi ba bbanka ekya Institute of Bankers.
Ekirabo tekyateekebwa mu nkola, wabula oluvannyuma lw’emyaka ena, nga October 08, 1988 lwe waaliwo omusomo ogwasooka era ogw’abantu bonna. Omusomo guno kye kimu ku bweyamo bwa bbanka eri abantu n’okuwa abanoonyereza omukisa okwongera ku magezi gaabwe, era ebintu byonna ebiteesebwako bikuumibwa.
N’olwekyo omusomo guno, kamu ku bubonero obw’okujjukira Mubiru ng’eyaliko Gavana wa bbanka enkulu eyasooka n’okuba nga yagunjawo omusingi ogw’amaanyi bbanka kw’esobodde okutambulira okumala emyaka emingi.
Bbanka esiimye omulimu gw’abatuuze b’e Bweyo - Kalungu, okutandikawo essomero lya Joseph Mubiru Memorial Secondary School era bbanka erina essuubi okuwagira omulimu guno.
Â
Bbanka yafuna ekiwandiiko okuva mu lukiiko olufuzi olw’essomero lino nga basaba obuyambi bwa ssente, era mu kiseera kino bbanka ekitunuulira erabe engeri gy’eyinza okuwagiramu omulimu guno.
Ekinaasalibwawo bbanka yaakukyanjulira abantu bonna mu bwangu ddala.
N’olwensonga ezo, bbanka etwala omugenzi Mubiru ng’omusajja alina ebintu ebikulu bye yakolera eggwanga mu byenfuna n’embeera endala zonna, emujjukira mu musomo buli mwaka, kyokka abantu b’e Bweyo okusalawo okumujjikra nga bayita mu ssomero nakyo kirungi nnyo.
Bbanka enkulu eyogedde ku bya Gavana waayo eyasooka