TOP

Ennaku y’obupangisa

Added 7th January 2011

Kati omukyala bwe tupangisa ku nnyumba anumbye ewange n’ankuba. Ekyo tekimumalidde n’angwako ekiyiifuyiifu n’annuma ebbeere katono kulikutulako. Entabwe evudde ku mukazi ono kulowooza nti bba bw’akomawo atuukira mu muzigo gwange ne twesanyusaamu, ekintu ekitali kituufu.

 


Nze

Kati omukyala bwe tupangisa ku nnyumba anumbye ewange n’ankuba. Ekyo tekimumalidde n’angwako ekiyiifuyiifu n’annuma ebbeere katono kulikutulako. Entabwe evudde ku mukazi ono kulowooza nti bba bw’akomawo atuukira mu muzigo gwange ne twesanyusaamu, ekintu ekitali kituufu.

 


Nze Amina Nambi omutuuze w’e Ntinda. Mpangisa ku nnyumba za maama Sharon. Ennyumba gye nsulamu ngigabana ne mukwano gwange Shakira nga ya mulyango gumu kyokka nga twawula bisenge.


Ndowooza kuno kwe yava okunjooga. Yasooka kusooba ng’ayingira mu kisenge kyange n’aggyamu ebintu ng’amasowaani, ebikopo n’ebintu ebirala ng’aliko abagenyi baakyazizza n’abikozesa. Olulala yalaba siriiwo n’ayingira mu nnyumba yange n’atankuula ebintu byange nga nninga ababbi gwe baalumbye.


Ku mulundi guno bwe namugambyeko n’ankuba n’okunnuma era yagenze okunvaako nga sirina maanyi gagenda mu ddwaaliro.
Mikwano gye be bazze ne bang’amba ng’omukyala ono bw’aludde ng’anondoola okunkuba kubanga mwagalira omusajja.
Mbadde saagala kusengukasenguka olwa ssente okuba ennyingi kyokka kirabika embeera ennemeredde.   

Ennaku y’obupangisa

More From The Author

Ow

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...