TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Weeraba 2010, omwaka gwa ‘Sitamina’ ne ‘Mpa enkoni’

Weeraba 2010, omwaka gwa ‘Sitamina’ ne ‘Mpa enkoni’

Added 30th December 2010

Angella Kalule aleese ‘Ondi mu kakondo’ ne lukwatayo ng’enjogera y’abavubuka bw’eri; ‘Kirooto kyange’ olwa Maurine Nantume oba ‘Mr. Money’ olwa Bobi Wine nazo toyinza kuzibuusa maaso.

Naye nno ssebo  ne ‘Mpa enkoni’ olwa taata Muhoozi nalwo lukutte akati, oba lwakub

Angella Kalule aleese ‘Ondi mu kakondo’ ne lukwatayo ng’enjogera y’abavubuka bw’eri; ‘Kirooto kyange’ olwa Maurine Nantume oba ‘Mr. Money’ olwa Bobi Wine nazo toyinza kuzibuusa maaso.

Naye nno ssebo  ne ‘Mpa enkoni’ olwa taata Muhoozi nalwo lukutte akati, oba lwakuba biseera bya kalulu? Kuba balukuba mu bibanda ne mu bikaali oba entujjo endala n’olaba abantu bwe basituka okuzina. Oba bazinya kajanja!

Wadde ‘Amelia’ olwa Dr. Hilderman luwaana Amelia Kyambadde, omuwanika wa NRM  eyeesimbyewo e Mawokota naye lutuukira bulungi ku mbeera y’omusajja ayaziirana olw’omukwano, kye luvudde luganja mu 2010. Kuno kw’ossa ne ‘Obululu tebutwawula’ olwa Bobi Wine.

Omwaka guno abayimbi Coco Finger eyayimba ‘Emikono waggulu’; Samalie Matovu owa ‘Omukwano gunyuma’ ne Julie Muteesaasira owa ‘Ekinnyumira’ bayitimuse nnyo.

Mu ngeri yonna gy’olabamu omwaka 2010, guweddeko gujjudde entalo z’abayimbi, abantu tebajjumbidde nnyo bivvulu by’abayimbi ndowooza lwakuba bo tebabiwummulamu kuyiiyaayo kipya.

Bebe Cool ye yagutandikamu January bwe baamukuba amasasi mu kugulu era singa Museveni teyamuwaayo ku ssente kugenda mu Amerika kumulongoosa osanga singa yafuuka dda kadduwannema

Kyewuunyisa nti okukuba Bebe Cool amasasi yali mu kivvulu ky’omuyimbi Omumerika Robert Kelly ekyasala abangi kuba ku siteegi Kelly yamalako eddakiika mbale n’ayota ng’alinga agamba nti ‘mmaze okubafera!’

Omu ku bayimbi abanaasigala nga bayasimula omwaka 2010 mulimu Mathias Walukagga alozezza ku kkomera emirundi ebiri. Yali yaakamala okuva e Luzira oluvannyuma lw’omugagga wa Samona Ssaalongo Kasawuli okumuloopa omusango gw’okwagala okumulyako ssente mu lukujjukujju, ate ne bamuggalira e Masaka lwa bbanja lya bukadde 10.

Kyokka munne bwe bayimba Kadongokamu, Vincent Ssegawa (eyayimba Sisiri) na kati kikyabuusibwabuusibwa oba ddala baamuwamba ne bamusuula mu Mabira oba kyali kiwaani.

Mu katemba, omuzannyo ‘Akavaavangalo’ ogwa ba Afri talents ne Bakayimbira ne ‘Akandolindoli’ ogwa Amarula Family ne Afri Talents gimu ku gisinze obuwoomu n’okubaamu eby’okuyiga.

Wabula abamanyi okusanyuka bagamba nti ne ‘Embaga ya Hajji Bumaali’ ogwazannyibwa Bakayimbira muwoomu nnyo era toyinza kugubuusa maaso ku mizannyo egikutte Bannayuganda omubabiro omwaka guno.

Mudigize ki ayinza okwerabira olwa March 07, Embuutu y’Embuutikizi bwe yakung’aanya abantu abasoba mu mitwalo munaana e Namboole?
 
Obwenzi
Obwenzi kata busuule abayimbi bangi. Mu September  Sophie Nantongo byamugendera bubi bba Hajji Kagoma bwe yamugoba olw’obwenzi. Oluvannyuma yakawang’amula nti n’omwana omu gw’alina si wa Hajji Kagoma, wa muyimbi Shaban Nsubuga, bwe baali mu Eagles nga Nantongo tannavaayo!

Nga bwe bagamba nti omuze gukwatira,  n’omuyimbi Grace Nakalema eyayimba ‘Mukama Nsaba Ontondere omuntu’ naye yatabuka ne bba Musa Wasswa Kalule lwa bubaka bwa ku ssimu!

Ekibiina kya Eagles Production kibaddemu katemba mungi mu 2010. Eyasooka yali wa mugagga Ntakke eyatabukira omuyimbi Harunah Mubiru olw’okufunyisa muwala we Stella Ssonko olubuto era yamukaka okumuwasa.

Waayita mbale ne  Grace Ssekamatte ng’asiramuse n’afuna erya Sulaiman Ssekamatte n’awasa n’omukazi omulala!

Entalo z’abayimbi

Entalo z’abayimbi omwaka guno zeeyongedde. Olusinze okucaaka lubadde lwa Bobi Wine ne Bebe Cool, ekyatuusa Bobi okukuba ‘Mr. Kataala’ ng’ayeeya Bebe obujega, ne Bebe n’amwanukula  n’olulwe  ‘Big Size’

 


Guno gwe mwaka Tool man mw’alumirizza Jose Chameleon okumukuba, gwe mwaka gwe gumu ogulese Vision Production eya Walukagga ng’eyabulukuseemu anti abayimbi Willy Mukaabya eyayimba ‘Omwenzi omusiru’ ne Gerald Kiweewa owa ‘Embaga ya Kiweewa’ bwe bagyabulidde.

BYA EDWARD SSERINNYA

Weeraba 2010, omwaka gwa ‘Sitamina’ ne ‘Mpa enkoni’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...