Nkimanyi nti Bannayuganda tebawena, bayinza okubba bannaabwe n’ebulayo avunaanibwa mu mbuga z’amateeka.
Nayitako mu bannaffe abakola ku mbeera y’omutindo gw’ebintu mu ggwanga (NBS) ne bantegeeza bwe baali bakoze okunoonyereza ne bakizuula nga teri masundiro gacupula bantu. Wewaawo bayinza okukubba olw’obulagajjavu bwo si byuma!
Abamu balina emiwendo egy’enjawulo ku kipande ekinene egyawuka n’egyo egiri ku ssundiro we bagakuweera. Buno bubbi era musango.
Ekirala, Bannayuganda bangi amafuta bagagula mu ssente sso si mu bipimo byago. Kino kitegeeza nti emiwendo bwe girinnya, ggwe mu bwongo bwo okyayinza okusuubira nti ge wagula luli okudda e Masaka ne ku luno ganaamala, ate nga weerimba. Olaba bw’olowooza nti baakukubye empewo sso nga ddala si bwe guli?
Â
Tunulayo bwe baba bakuwa amafuta
Oluusi bababba mu ssaawa z’akayisanyo ng’oli mukoowu, opapa kuttunka na kalippagano, kutwala baana ku ssomero naawe otuuke mangu gy’okolera n’ebiringa ebyo. Awali embeera eno totera kutunula ku kyuma na mafuta ge bakuwadde. Omuwala akuwa matono ku nsimbi z’omuwadde!
Eriyo ate obuwala obumanya abasajja abacamuukirira nga balabye ku bawala abanyirira era aboogera obulungi. Mwattu olukulaba nga bakubuuza, basiimuula ku ndabirwamu nga musajja wattu ogwa amatu, olwo nga bakuwa bo ge baagala sso si ge wasasulidde.
Nammwe abataggwa kwogerera ku masimu newankubadde bakikugaana ku masundiro g’amafuta bababba nnyo. Omukalabakalaba amafuta agamu ayinza n’okugassa mu kadomola, ggwe n’okuulawo mmotoka nga tofuddeeyo kumanya bungi bw’amafuta g’otutte.
Abantu mwetaaga okuba abeegendereza nga munywa amafuta ne mutakonjera masundiro nti bakuba empewo. Jjukira nti, “Akalina abiri otega kalaba†.
Buli lwe mwesuulirayo ogwa nnaggamba ng’omuze gukula. Ababagulizaako mwagala wa kigwo?
Omuwandiisi ofiisa akola ku nsonga z’ettaka mu ggwanga era omwogezi w’ekitongole ky’ebyettaka mu poliisi
Email: kaemilian05@yahoo.com
Afande Emilian Kayima - Manya Amateeka