TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ssente ziggyiddwa ku nguudo ne zissibwa mu masannyalaze

Ssente ziggyiddwa ku nguudo ne zissibwa mu masannyalaze

Added 7th June 2011

Omutemwa gw’ensimbi ezissiddwa mu masannyalaze mu mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi 2011/2012 gulinnyisiddwa ebitundu 70 ku 100 nga guva ku nsimbi obuwumbi 391 ezassibwa ku masannyalaze omwaka gw’ebyensimbi ogunaatera okukomekkerezebwa.

Amasannyalaze gaweereddwa ekifo ekyenjawulo e

Omutemwa gw’ensimbi ezissiddwa mu masannyalaze mu mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi 2011/2012 gulinnyisiddwa ebitundu 70 ku 100 nga guva ku nsimbi obuwumbi 391 ezassibwa ku masannyalaze omwaka gw’ebyensimbi ogunaatera okukomekkerezebwa.

Amasannyalaze gaweereddwa ekifo ekyenjawulo ekyefaanaanyirizaako ekyaweebwa enguudo mu mwaka gw’ebyensimbi  ogufundikirwa omwezi guno. Enguudo zassibwamu obuwumbi obusoba mu 1,100 kyokka ku mulundi guno, enkizo eggyiddwa ku nguudo n’essibwa ku masannyalaze.

BAJETI ERINNYE:
Bajeti y’omulundi guno (2011 / 2012) egenda okusomebwa Minisita w’eby’ensimbi omuggya Maria Kiwanuka  yeeyongeddemu obuwumbi  obukunukkiriza mu 1,500.

Ensimbi ezigenda okukung’aanyizibwa mu mwaka gw’ebyensimbi ogugenda okutandika nga July 1, ya buwumbi 9,025 okwawukanako n’ey’omwaka ogufundikirwa eyasomwa Hajati Syda Bbumba eyali  ey’obuwumbi 7,552.

Ebiwandiiko okuva mu Minisitule y’ebyensimbi biraga nti enkulaakulana eno evudde ku kweyongera kw’emirimu egivaamu emisolo mu mwaka gw’ebyensimbi oguggwaako nga June 30, 2011.

Dr. Fred Muhumuza omuwi w’amagezi owa Minisita w’ebyensimbi yagambye nti Bannayuganda bangi omuli bannamakolero n’abasuubuzi baludde nga basaba Gavumenti eyongere ku bungi bw’amasannyalaze kisobozese emirimu egivaamu ensimbi okwongera okutumbulwa era omulanga guno gGvumenti gw’eyanukudde.

Yagasseeko nti obwetaavu bw’amasannyalaze bweyongedde nnyo kw’ossa kaweefube wa Gavumenti ow’okusaasaanya amasannyalaze gatuuke mu byalo, by’ebimu ku byavuddeko amasannyalaze okuweebwa enkizo eno.

Omutemwa omunene ku nsimbi ezissiddwa mu masannyalaze gwakussibwa ku mulimu gw’okumaliriza amabibiro okuli ery’e Bujagali eryabalirirwa okuwemmenta obuwumbi 3,100. Okumalirizibwa kw’amabibiro okuli Bujagali, Mpanga, Ishasha, Buseruka ne Nyagak kusuubirwa okumalawo ekizibu ky’okuvaako kw’amasannyalaze.

Abakugu mu Minisitule y’amasannyalaze baabalirira nti Uganda yeetaaga amasannyalaze agaweza Megawaati 450 kyokka mu kiseera kino g’erina gali Megawaati 360 zokka.

Ssente ennyingi ezongeddwa mu Minisitule y’ebyamasannyalaze zisuubirwa n’okuyambako mu kukendeeza bbeeyi y’amasannyalaze, abagakozesa gye baludde nga beemulugunyaako.

BYA RICHARD KAYIIRA

Ssente ziggyiddwa ku nguudo ne zissibwa mu masannyalaze

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...