TOP
  • Home
  • Ssenga
  • ‘Kasujja baamuteera mu kkooti, si ku poliisi’

‘Kasujja baamuteera mu kkooti, si ku poliisi’

Added 18th May 2011

Namayengo ng’akyali mulamu twagendako mu maka ge n’omukyala ono emirundi egisoba mw’esatu, wabula nga bagaana okuggulawo mbu kuba yali abayombesa, era nga bwe tumala okubeegayirira ne baggulawo ng’omukyala ono atandika okubayombesa n’olumu yatomera mutabani we (Kasujja) n’agwa eri ng’a

Namayengo ng’akyali mulamu twagendako mu maka ge n’omukyala ono emirundi egisoba mw’esatu, wabula nga bagaana okuggulawo mbu kuba yali abayombesa, era nga bwe tumala okubeegayirira ne baggulawo ng’omukyala ono atandika okubayombesa n’olumu yatomera mutabani we (Kasujja) n’agwa eri ng’amugaanyi okuyingira ekikomera. Buli kiseera ng’amulangira okwagala okubba ebintu bya muwala we.

Nakiyonga yajja n’atutegeeza ku nsonga ng’ayita mu Ssentebe w’ekitundu Badru Mulumba ne tugenda era buli kimu mbadde nkikola ng’aba LC bakimanyi.

Lumu twasanga Kasujja ne mukyala we mu nnyumba kyokka ng’omukazi mulwadde, nagezaako okumutwala mu ddwaaliro ku mpaka n’agaana ng’agamba nti abadde mu ddwaaliro. Okukakasa kino yandaga amakerenda n’ebbaluwa y’eddwaaliro.

Olw’okuba Nakiyonga yali amaze okuggulawo omusango gw’okubula kw’omwana we ng’ateebereza Kasujja okumubuza, n’ategeeza Kasujja okujja enkeera ku poliisi akole sitaatimenti kyokka teyalabikako.

We bankubira nti Namayengo afudde abaserikale bange baali bamaze ekiseera nga beetawula ewuwe naye nga tabaayo.

Neesitula ne ngenda ewa Namayengo okukakasa oba yali afudde, nasangawo bantu balala naye ng’omulambo teguliiwo. Nabuuza Kasujja lwaki yagaana okujja ku poliisi okukola sitaatimenti nga tanyega kwe kumukwata.

Ku poliisi yamalayo ennaku 21, n’aweerezebwa mu kkooti era eno ne bamuyimbulira ku kakalu ka kkooti. Olwo nakiyonga asinziira ku ki okugamba nti poliisi y’e Kisubi ye yamuyimbudde?""

 

Omulambo e Bombo

Madiri ayongerako:
Enkeera twafuna mmotoka ya poliisi ne tuteekamu Kasujja ne tugenda okwaza amaka ga Namayengo. Olwo nga Kasujja agaanyi okutubuulira omulambo gye guli.

Oluvannyuma yatutegeeza nti guli Bombo, era gye twaguggya okugutwala mu ddwaaliro e Mulago. Omufu baakizuula nti yafa kookolo wa bwongo era nti bwali butandise okuvunda.

Kino badokita abalala basatu aba poliisi baakikakasa.""

 

Omulambo gw’omuntu atali muserikale gwatuuka gutya mu ddwaaliro ly’abaserikale e Bombo?

Madiri agamba nti eddwaaliro lino lisobola okujjanjabirwamu abantu babulijjo naddala abo abalina abeng’anda zaabwe nga baserikale.

Kasujja alina mukulu we ali ku ddaala lya Major e Bombo.

Omulambo e Bombo
Ensonga zange nazitegezaako Moses Binoga, akolera mu kitongole kya poliisi ekirwanyisa ekisaddaaka bantu era ye yampa mmotoka gye twagenderamu e Kisubi. Abapoliisi kwe kutwala Kasujja mu maka ga Namayengo abalage omulambo, wabula ng’awera nti singa tebamukwata bulungi tajja kubalaga gye guli!

Poliisi yayaza enju yonna nga temuli

mulambo okutuusa lwe yayogera nti guli Bombo mu nkambi y’amagye era poliisi gye yaguggya okugutwala mu ddwaaliro e Mulago.

E Bombo gye twasanga mmotoka ya Namayengo nga waliwo omuserikale ali ku ddaala lya Major agivuga ne pikipiki ye era yali eno!

 

Kasujja ayimbulwa

Nga April 22, abapoliisi e Kisubi bankubira ssimu, bwe nnatuukayo ne bang’amba nti Mw. Binoga ayagala kwogera nange. Baamumpa ku ssimu n’angamba nti, ‘Omanyi Kasujja tumusibye ebbanga ddene, kaakati tugenda kumuta ku kakalu ka poliisi, naye kino tekitegeeza nti omusango gumuvuddeko.’ Okuva olwo siddanga ku poliisi.

Kuba be nali nsuubira okumpa obuyambi ate nga be bankubira ssimu nti bakutte omutemu nze gye ssaali era nga simanyi na ngeri gye baamumanyaamu nti mutemu ate be baali bamutadde.

 

Kasujja by’agamba

Kasujja yambuze, essimu ye tebaako kyokka sitaatimenti gye yakola ku poliisi e Kisubu egamba bweti:

Amaka g’e Kawuku ga mukazi wange era mu nju sirinaamu kintu okuggyako kadikooda ka Smart TV.

Mmotoka nayo ya mukazi, kyokka pikipiki Bajaj Boxer nze nnagigula. Ebintu bino byonna bikyali ku poliisi okutuusa nga tumaze okuleeta obukakafu ate poliisi n’ebunoonyerezaako okukakasa nti ddala kituufu.""

 

Moses Kiggundu

Ono ye muwandiisi wa Kakindu LC I, yang’ambye:

Omukyala oyo Nakiyonga yajja n’ambuulira ku nsonga zino nga Kasujja bw’amugaanyi okutwala omwana we mu ddwaaliro.

Twagezaako okulaba nga tumuyamba, kyokka twalaba ensonga zikalubye kwe kumuwandiikira ebbaluwa emutwala ku poliisi. Poliisi nayo yagezaako n’eremwa, okutuusa omusajja lwe yaggyawo omukazi mbu yali amututte mu ddwaaliro, okuddamu okuwulira ng’afudde.

 

Ssentebe wa Nakanjako mu Owino

Ssentebe Katwere yagambye nti, omukyala ono yalina emidaala esatu ng’atunda bintu bya buwangwa omuli embugo, ebita n’ebirala ebiringa ebyo. Wabula yali talina mutawaana gwonna era mu ofiisi yafa talinaamu musango.

 

Nnaalongo Yuliyana Achomo Ono ye mulirwana wa Namayengo e Kawuku:

Omugenzi namuguza wano emyaka musanvu egiyise, n’azimbawo amaka kwe yasiba ekikomera oluvannyuma. Naye mu kiseera we yasengera wano nga Kasujja tabeera naye.

Ebbanga teribadde ddene bukya Kasujja ajja mu kifo kino, wabula nabalabanga nnyo kumpi buli ku makya nga batambulira ku pikipiki okugenda okukola ng’omwami avuga omukyala.

Wabula ku olwo lwe baatwala Namayengo, baamutwala ssaawa 11:00 ez’oku makya era yagendera mu mmotoka ye, nze nafuluma ne mbalaba nga bamutwala. Mu kiseera ekyo omwana yali amuyita ‘Mummy, mummy’ mmotoka n’esimbula.

Twaddamu okubimanya nga balanga ku kizindaalo ky’oku kyalo nti Hajara afudde! Twagenda ewa mulirwana okumusaasira kyokka bwe nnayingira ekikomera omusajja yatandika kugamba nti nze nasse mukazi we! Nali nfuluma ekikomera nga ne poliisi etuuka, ne bamukwata!

 

Moses Binoga:
Ono y’akulira ekitongole kya poliisi ekirwanyisa ekisaddaakabantu.

Waliwo enkola ya Poliisi okubuulira ku muwaabi w’omusango buli ekigenda mu maaso ku musango gwe. Mu mbeera eno nnayogera ne Muky. Nakiyonga ne mmutegeeza nga Poliisi bw’egenda okuta Kasujja ku kakalu kaayo ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Lipoota eyava mu ddwaaliro e Mulago eraga nti omufu teyatulugunyizibwa, wabula yalina obuzibu ku bwongo. Muky. Nakiyonga ebya lipoota eno yabiwakanya, bwe yajja mu ofiisi yange ku nsonga eno nnagenda naye ne Dr. Byaruhanga ne dokita eyakola lipoota eyasooka mu maka g’omugenzi e Kawuku ne baddamu ne bakebera omulambo.

Lipoota eyookubiri gye baakola era yalaga ekintu kye kimu. Kino baakinnyonnyola Nakiyonga ne bakkiriziganya.

 

Ebibuuzo
 Lwaki mu kusooka Kasujja yagaana okugenda ku poliisi okukola sitaatimenti?

 Lwaki Kasujja yasooka kugaana kwogera wa omulambo gwa mukazi we gye guli?

 Lwaki Nakiyonga yeetawulanga nnyo mu maka g’omwana okumunyiya obufumbo?

Kasujja kiki kye yali akweka okutuuka okugaananga okuggulira poliisi ng’ezze okumwebuuzaako?

 

Bw’oba olina ky’omanyi ku musango guno oba ekirala kyonna ky’oyagala tunonyerezeeko wandiika ‘kalondoozi’, lekawo akabanga ozzeeko obubaka obuweereze ku 8338. Oba buweereze ku 0752628931.

‘Kasujja baamuteera mu kkooti, si ku poliisi’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...

Fr. Dominic Kagoye  ng'akwasa Kironde (afukamidde wansi ) pikipiki gye baamutonedde,nnyina (mu gomesi) n'abaana be.

Omusomesa eyaziba amaaso ki...

Eyali Omusomesa wa Siniya okubala ne 'Physic's eyaziba amaaso mu ngeri eyewuunyisa ng'ali mu kibiina asomesa n'akubwa...

Museveni n'owa Tanzania bat...

Abakulembeze b'amawanga okuli owa Uganda Yoweri Museveni ne Samia Suluhu Hassan owa Tanzania batadde omukono ku...

Abaami ba Kabaka abaweereddwa eggaali.

Kabaka awadde abaami b'amag...

Ssaabasajja Kabaka asiimye n'awa abaami be abamagombolola 29 agokola essaza lye Buddu entambula. Obuyambi...