TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Guweze omwaka bukya ssente empya zanjulwa

Guweze omwaka bukya ssente empya zanjulwa

Added 9th May 2011

Ssente zino zaafuluma nga May 3 2010. Bbanka enkulu yaleeta akapapula aka 1,000/-, 2000/-, 5000/-, 10,000/-, 20,000/-, wamu n’akapapula k’emitwalo etaano.

Bbanka enkulu ssente yazikyusa mu ndabika n’ezongeramu ebintu ne langi ebizifuula enzibu okujingirira. Wabula kyewuunyisa nti nâ

Ssente zino zaafuluma nga May 3 2010. Bbanka enkulu yaleeta akapapula aka 1,000/-, 2000/-, 5000/-, 10,000/-, 20,000/-, wamu n’akapapula k’emitwalo etaano.

Bbanka enkulu ssente yazikyusa mu ndabika n’ezongeramu ebintu ne langi ebizifuula enzibu okujingirira. Wabula kyewuunyisa nti n’okutuusa kati, ssente zino ezisinga, naddala ak’emitwalo ebiri, ogumu n’ak’olukumi era mulimu bwe bajingiridde! Ani ajingirira ssente zino? Akolagana n’ani mu bitongole by’okwerinda ne bbanka enkulu yennyini?

Ku mukundi ogwo bwe yali atongoza ssente empya, Gavana wa bbanka enkulu, Mw. Tumusime Mutebile yategeeza nti ssente enkadde zaakumalawo omwaka omulala gumu n’ekitundu nga bwe bagezesa empya olwo ziryoke ziggyibwewo.

Abagoberera ssente zino bagamba nti ssente enkadde zikyali nnyingi kumpi kwenkana bwe zaali luli!

Omwogezi wa bbanka enkulu, Mw. Elliot Mwebya agamba nti ensimbi zino zaakyusibwa okwongera omutindo mu nsimbi zino. Agamba nti okuggyako akapapula k’enkumi ebbiri akaaleetebwa oluvannyuma lw’abantu okwemulugunya nti ebbanga wakati w’olukumi ne 5,000/-  ddene, ssente zonna endala zaakyusibwa kulinnyisa mutindo.

Mw. Mwebya agamba nti ssente  enkadde zigenda ziggwaamu mu bantu, ezisigaddemu ziri ebitundu  20 ku buli 100 ku ezo ezaalimu mu May wa 2010.
Wabula teyazzeemu lwaki mu bbanka ezimu, oyinza okufuna obupapula bwa ssente obukadde wadde buba bukyali bulamu, sso nga buli kapapula akakadde olwandituuse mu bbanka tekandizzeemu kugabibwa.

Ssente enkadde ziggwaamu mu November
Mw. Mwebya agamba nti Okuleeta ensimbi empya okukola n’enkadde baatya  okuggyawo enkadde omulundi gumu ,nga kiyinza okutaataaganya entambula ya bizinensi.

Wadde ssente enkadde zikoma mu November w’omwaka guno okukola, wabula abakugu mu byenfuna balowooza nti mu kifo ky’okukola akapapula ak’emitwalo etaano, bbanka enkulu yandibunyisizza ssente entonotono nga siringi 1/-, 10/-, 20/- ne 50/-.

Mw. Robert Mugabi, omukugu mu KACITA Cooperative Finance LTD mu Kampala alowooza nti ssente zonna zeetaagibwa.
“Bwe mba njagala okutambuza obukadde bw’ensimbi 100, olwo akapapula ak’emitwalo etaano kannyamba nnyo, naye ate ssente eza jegejege ziyamba nnyo ku kuvungisa,” bw’agamba.

Annyonnyola nti osanga singa enkola y’okuweereza ssente ku masimu (Mobile Money ne Zap Money) yali eweereza ssente ezisoba mu kakadde akamu osanga akapapula ak’emitwalo etaano kandibadde tekeetaagisa.

Wabula abalala balowooza nti wadde ssente eza jegejege ziringa ezitakyalina makulu kuba kizibu okusangayo ekintu ekigula 10/- oba 20/-, singa mu kusooka zaali zaagazisiddwa Bannayuganda osanga ne bbeeyi y’ebintu ebisinga obungi teyandibadde waggulu nnyo kuba eyandikuguzizza kabalagala ku 175/- asabira wamu 200/.

Mw. Mwebya agamba nti nzibu za kukolamu bicupuli. “Wabula ssente zonna ne bw’eba ddoola ya Amerika bazicupula. Ekirungi waliwo obuuma obusobola okukulaga obulungi ssente ennamu n’ebicupuli era abalina bizinensi bandibwekutte,” bwe yagambye.

Ani akola ebicupuli?
Mu Kampala, ebicupuli bisinga kugabibwa mu takisi, ku masundiro g’amafuta ne mu bbanka z’obusuubuzi ezimu!
Mu November wa 2010, poliisi yakwata omukozi ku ssundiro ly’amafuta erimu e Kabalagala ng’aterese ssente z’ebicupuli obukadde butaano mu bupapula obw’olukumirukumi!

 Mu December wa 2010, akulira Poliisi mu Kampala, Mw. Andrew Sorowen yateesa n’aba UTODA abakulira takisi mu ggwanga okukwata bakondakita abagaba ebicupuli era bangi bakwatiddwa.

Ekibi nti n’abaserikale abamu bakolagana n’abakuba ebicupuli era mu August wa 2010, bambega baakwata munnaabwe Hope Kobusheshe lwa kuggya ssente obukadde 19 ku musuubuzi w’omu Kampala Valensi Kibyeyi, ng’amuteebereza kukola bicupuli.

Singa Kibyeyi yali mukozi wa bicupuli osanga teyandigenze ku poliisi kwekubira nduulu naye yatuleka tukakasizza nti n’abakumaddembe bakolagana n’abakuba ebicupuli.

Bye boogera ku ssente empya
Gerald Busuulwa ow’e Busaabala agamba: Olw’obutono bw’ensimbi zino, nkisanze nga zigwa n’okubula mangu. Ekirala nkyalemeddwa okutegeera ekigendererwa kya bbanka enkulu okufulumya ensimbi zino ate yadde ekoze okusomesa naye waliwo ebikyabulamu okusomesa abantu ku nsimbi zino.
Livingstone Ssenfuma omuyizi w’ebyenfuna mu yunivasite e Ndejje:

Ensimbi zino zitawaanya nnyo abantu mu byalo n’abakadde okuzaawula. Okugeza akapapula ka 2000/- oyinza okulowooza nti 5000/-. Obuzibu obulala obuziriko kwe kuba nti ziyulika mangu okusingira ddala akapapula k’olukumi kagonvu nnyo.

Caroline Kabasinguzi: Okuleetebwa kwa sente zino kukendeezezza ebicupuli. Kati n’omwoyo ogwagala ssente gweyongedde mu bantu, naye ekisinga byonna nnyangu okutambuza.

Geofrey Obbo, muyizi wa kubala mu yunivasite e Makerere: Abafulumya ssente zino batulimba nnyo kubanga ensimbi enkadde balina okuziggyawo, empya ne zikola zokka nga bwe baakola mu 1987.

Era okukyusa ssente, akapapula akanene ne kaba ka 50,000/-, ndaba tewali kyakyuka, akapapula akanene kandikomye ku 5000/-. N’olwekyo bbanka enkulu yaakusanga obuzibu okumalamu ssente enkadde  kubanga abantu abasinga mu ggwanga tebatereka ssente  zaabwe mu bbanka.
Richard Ssekubunga: Ssente empya zikola bulungi era nsuubira ebyenfuna bwe binaaterera, tujja kutambula nazo bulungi. Olw’obutono bwazo zitambulikika nazo.

BYA DICKSON KULUMBA

Guweze omwaka bukya ssente empya zanjulwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....