Abamerika okusuula omulambo gwa bin Laden mu nnyanja kiki kye baabadde bakweka?
Bino bye bimu ku bibuuzo Kalondoozi bye bambuuzizza okuva bin Laden lwe yattibwa ku Ssande era ne njagala nnondoole engeri Osama bin Laden, gy’azinyizzaamu Abamerika oluguje mu bulamu ne mu kufa!
Omuyiggo gw’okutta Osama Bin Laden gumaze emyaka egisukka mu 20. Ekyebuuzibwa nti ku nsimbi ne tekinologiya Amerika gw’erina lwaki bin Laden abuze ebbanga lino lyonna? Kisoboka kitya nti bin Laden abadde mu Pakistan , eggwanga eririna enkogana ne Amerika ne kibalema okumanya?
Osama asobodde atya okwekukuma mu Pakistan?
Amaka Osama mwe yattiddwa mu kibuga Abbottabad, gali kinnya na mpindi n’ettendekero ekkulu ery’amagye erya Pakistan Military Academy.
Wabula omubaka wa Pakistan e Bungereza, Wajid Shamsul Hasan, agamba nti Gavumenti yaabwe ebadde tekimanyi nti bin Laden ali ku ttaka lyabwe!
Pulezidenti Bush bwe yalangirira omuyiggo gwa bin Laden era n’assaawo obukadde bwa ddoola 50 okumukwata oba okumutta, mu kiseera ekyo kigambibwa nti bin Laden yali yeekukumye mu Afghanistan ng’akuumibwa Abatalebaani.
Amerika bwe yalumba n’ekuba Abatalebaani n’ebaggya mu buyinza mu Afghanistan mu 2003, bin Laden yadduka okuva ku kibuga Kabul n’abakulembeze b’Abatablebani ne beekuukuma mu nsozi ez’e Tora bora. Omuyiggo gwanyiinyittira, ennyonyi za Amerika eza buli kika ne zirumba ebibuga eby’enjawulo omuli Kandahar, Herat, Khowst, Jalalabad, Ghazni okunoonya bin Laden ne birema.
Okusobola okwekweka Abamerika, bin Laden yaggyako amasimu, kompyuta n’ebyuma ebirala ebyempuliziganya era ebbanga lyonna abadde akozesa bantu b’atuma n’okuwandiika obubaluwa okuwa ebiragiro n’okuduumira ebikwekweto.
Okuva mu 2005  okutuuka lwe yattiddwa bin Laden abadde mu Pakistan kyokka nga tabeera mu kifo kimu wabula ng’akyusakyusa okusinziira ku magezi agabadde gamuweebwa bambega be mu bitongole bya Pakistan ebikessi .
Era mukazi we omuto gwe yasangiddwa naye yayogeredde ku leediyo y’e Bungeereza eya BBC n’agamba nti e Abbottabad babadde baakamalayo emyezi mitono.
Mu 2007, bin Laden yasimatukka okuttibwa oluvannyuma lwa Amerika omumuketta mu mpuku eziri mu nsozi z’e Hindu Kush mu Pakistan. Wabula Pulezidenti Bush yagenda okumuyungira ennyonyi, zaakuba bbanga ng’afunye abamubbirako n’ayotta.
Ab’ekitingole kya Amerika ekikessi ekya CIA bagamba nti bin Laden asobodde okwekweka ebbanga eryo lyonna olw’obukuumi bw’abadde afuna mu bannalukalala ab’enjawulo abatwala ebitundu bya Pakistan eby’omu nsozi ku nsalo ne Afghanistan. Abadde abawa ssente era nga bamukkiririzaamu.
Ani yalidde mu bin Laden olukwe?
Bin Laden bwe yava ku masimu ne kompyuta, yafuna abantu b’atuma kyokka nga nabo abeekengera nnyo.
Okumanya abadde mugezi ne ne bakamando be aba al Qaeda nga tebamanyi w’abeera, teboogera naye butereevu wabula nga bamulinda ye lw’alibaweereza ebiragiro ng’ayita mu bubaluwa oba okubatumira omuntu.
Wabula ekyewuunyisa , essimu bin Laden ze yali yeewala ze yaamuzaalidde embeteza. Essimu eyo, bin Laden si ye yagikuba oba okugikwata wabula omuyambi we ow’okulusegere.
Olukwe lutandikira mu kkomera ly’e Guantanamo Bay
Mu basibe abangi Amerika be yayoola mu Afghanistan, Pakistan n’amawanga abalala oluvannyuma lwa September 11 2001 mwe muli basajja ba bin Laden abaakoze akamantaalo ne bavaako okumutta!
Okubaggyamu amawulire ago tekyali ku kakeeka, wabula baasooka kutulugunyizibwa ab’ebyokwerinda okumala emyaka nga bagaanyi okwogera.
Amawulire ag’omugaso abasibe abo baagawa mu 2005 oluvannyuma lw’okutendewalirwa ng’ebibonyoobonyo bibasusseeko. Ebimu ku bibonyobonyo bye baabakolako mwalimu; okubatuga, okubannyika emitwe mu mazzi, okubalemesa okwebaka, okubateera embwa enkambwe ne zibalumaaluma n’ebirala.
Ku basibe abaatulugunyizibwa mwe muli eyayogera nti bin Laden alina omuyambi we gwe yeesiga era gw’atuma okutwala obubaka obuwandiike n’okumuddiza obubaka era obuwandiike kyokka ng’erinnya lye talimanyi.
Abasibe abalala nabo baayamba era bye baawa Abamerika bye baagattagatta ne basobola okumanya omuyambi ono.
Omu ku basibe Hassan Ghul eyakwatibwa mu Iraq mu 2004 yategeeza aba CIA  omuyambi oyo yali akolagana butereevu ne Faraj al-Libi, gwe yali atuusizaako obubaka okuva ewa bin Laden olwo ne busaasaana mu baduumizi ba al Qaeda.
Mu May wa 2005, al-Libi yakwatibwa era bwe yatulugunyizibwa n’ayogera byonna kyokka n’agaana okwogera erinnya ly’omuyambi wa bin Laden
Sheikh eyakwasizza bin Laden
Aba CIA kyabatwalira emyaka ena okuzuula omuyambi oyo n’okumanya erinnya lye ettuufu. Aba CIA baamuzuula nti ye Sheikh Abu Ahmed, enzaalwa y’e Kuwait kyokka ng’alina obutuuze bwa Pakistan. Omusajja ono asinga kukozesa linya lya Abu Ahmed al-Kuwaiti okusobola okubuzabuza abamunoonya. Ono aba CIA gwe babadde balinnya akagere.
Wabula okuzuula omuyambi ono n’ebimukwatako Amerika yasaasaanya akakadde ka ddoola mu bantu ab’enjawulo.
Olw’okuba bin Laden yali yagaana omuyambi we ono okukozesa amasimu oba kompyuta ng’ali ku misoni, aba CIA baabonaabona okufuna kye baagala era oluusi nga bamalanga emyezi nga tebamulaba.
Mu August wa 2010, Sheikh Ahmed mu butanwa yayamba bambega bano okumanya wa bin Laden we yali yeekukumye. Kino Ahmed yakikola tagenderedde kubanga  aba CIA baamutega essimu , bwe yagikwata ne bamanya nti ye muntu gwe baludde nga banoonya, ne bamulinnya akagere okutuuka lwe yayingira mu ggeeti ya bin Laden e Abbottabad.
Okuva olwo aba CIA ne baatandika okuketta ennyumba eyo, bin Laden baamulaba enfunda eziwera mu luggya naye ne batamuwereekereza bbomu nga tebannakakasa nti ddala ye muntu gwe banoonya.
Ne Sheikh Ahmed baasigala bakyamulondoola, ebifo mwe yagendanga, be yayogeranga nabo ate nabo ne babalondoola.
Bakakasa nti ddala bin Laden bamuzudde
Ekimu ku byabakakasa nti bin Laden bamuzudde kwe kubanga nti ennyumba ye yali ya bbeeyi nnyo kyokka nga teriiko waya ya ssimu oba masannyalaze ne bamannya nti kirabika waliwo ekintu ekikulu mu nju eyo.
Lwaki bin Laden tebaamukutte nga mulamu?
Buli kibadde kigenda mu maaso Obama abadde akimanya era mu February wa 2011, bambega baali bamaze okukakasa nti ddala bin Laden bamulina nga balina Obama kubawa lukusa bakole misoni.
Aba CIA baali baagala Obama abakkirize bayungule ennyonyi nga 30 zikube bbomu ku nnyumba ya bin Laden, ebulire mu ttaka kyokka Obama n’agaana ng’agamba nti kisoboka bin Laden okumukwata nga mulamu.
Misoni y’okulumba yakoleddwa ku nkomerero ya March ng’ekigendererwa kya kumukwata . Wabula eby’okumutwala nga bwe baakola Saddam Hussein, bin Laden yabigaanye ne bamutta.
Osama bin Laden - Abadde amaze emyaka 10 nga yeekwese kyokka essimu yamuwaddeyo mu balabe be!