TOP

Buganda wa w’eyimiridde?

Added 19th January 2011

Nzuuno nkomyewo! Abataagala beekombe amaziga, bakube ebiwoobe. Ekinkomezzaawo kwagala kunyumyamu ku bikwata ku byobufuzi, naddala mu nnaku zino ezisemberedde Okulonda: okwa Pulezidenti, aba Palamenti n’abafuzi abalala eb’ebitundu n’abebibuga. Nzitottole kiki ndeke ki? Buli w’oba ennaku zino

Nzuuno nkomyewo! Abataagala beekombe amaziga, bakube ebiwoobe. Ekinkomezzaawo kwagala kunyumyamu ku bikwata ku byobufuzi, naddala mu nnaku zino ezisemberedde Okulonda: okwa Pulezidenti, aba Palamenti n’abafuzi abalala eb’ebitundu n’abebibuga. Nzitottole kiki ndeke ki? Buli w’oba ennaku zino ekinyegenyege kireeta emmeeme n’omutima okukuba ng’ebinaamenyeka; bw’otaba otyo mpozzi ng’oliko ekirala!

Obuganda bwaffe buli ddala wakati wa Uganda. Okusooka, mu ngeri Buganda gy’etudde mu makkati ga Uganda. Naye ne mu kifo Buganda mw’eyirimidde mu byafaayo bya Uganda. N’olwekyo Buganda ky’ekola, ka tutwale nga mu kulonda kuno okujja, kibaamu ezzito – tekiba kiwewufu! Olw’ensonga eyo Obuganda buteekwa okweyisa mu ngeri entegeke obulungi; kye ng’amba nti okubuguutana nga kusibbwa ebbali. Ate nga tekyesigamye ku kikwata ku Buganda yokka, naye ne ku muzadde waayo, era omuzadde wa buli kitundu kya Uganda yaffe ffenna!

Kiyamba okujjukira nti agali awamu ge galuma eggumba, nti n’olwekyo Bannayuganda bonna bateekwa okulumira awamu. Ekikwata ku Mulango n’Omuganda kimukwatako, n’Omukolomojjo, n’Omunyankole, ne bonna. Abaganda abasinga kino batandise okukitegeera obulungi. Bwe kutuuka okulonda mu byobufuzi, kasooka Muvumenti lwe yatandika okukomyawo enfugannungi eya dimokulaasi, Bannayuganda abasinga, nga n’Abaganda mwe bagendedde, akalulu babadde bakawa Muvumenti, okuviira ddala ku mukulu waayo, era omufuzi wa Uganda, Yoweri Museveni.

Wano w’osobererwa Mmengo! Era w’obuuliza Mmengo ky’eriko. Okuviira ddala mu 1986 yo Mmengo yatandika okulabika nti Museveni ne Muvumenti byagigwa kkono. Katonda Omulamu! Ekyo tekimalaamu alina ebirowoozo amagezi? Tekikubuulira nti “Gw’owonya eggere y’alikusambya?”

Nga Muvumenti, wansi wa Museveni, ate omwalwanira enkuyanja y’abaana baffe Abaganda, yatuggya mu kutujja okw’emyoyo n’emitima bwe yasamba Kijambiya ne munne Kiviiri n’ebaggyira ddala mu kufuga Uganda! Nga ate ova awo mbu owalana abaakikola? Mmengo oli ku ki? Abaganda abasinga bajja kugamba: “Mmengo tondeetako bugayaavu bwa bwongo nti nve ku wange.” Awo nno w’onoolabira nti waliwo enjawulo wakati w’Obuganda ne Mmengo, ng’ate Buganda y’esinga eng’uumi.

Nagenda ajja kufulumanga buli Lwakuna. Alina by’ayogera ku mboozi ye weereza obubaka bwo.  Wandiika ‘Nagenda’, lekawo akabanga osindike obubaka ku 8338.

Buganda wa w’eyimiridde?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nabunya ne bba Sheikh Muzaata (mu katono).

Muka Muzaata ataddewo obukw...

MUKA Sheikh Nuhu Muzaata ataddewo obukwakkulizo okuddayo mu ddya. Kuluthum Nabunya yanoba kati emyazi esatu. Muzaata...

Abantu nga babuuza ku Amuriat.

Amuriat abuuzizza ku balonz...

PATRICK Oboi  Amuriat (POA) eyeesimbyewo ku bwa pulezidenti owa FDC   ayolekera Kabale naye asoose  ku ssundiro...

Ambassador Mugoya (ku ddyo) minisita Okello oryem, Dr. Ahmed Ssengendo ne  BIruma Sebulime.

Dr. Ahmed Ssengendo alonded...

Olukungaana olw'ekibiina ekitwala amawanga g'Abasiraamu mu nsi yonna (OIC) olw'omulundi ogwa 47 lutudde mu kibuga...

Kasasa ng'ali mu ddwaaliro e Masaka.

Kasasa ebbanja lw'eddwaalir...

Omuyimbi Disan Kasasa adduse ku kitanda ayimbire Mukasa awone ebbanja ly'eddwaaliro. Omuyimbi ono era omuzannyi...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka e Sironko gye yasisinkanidde abakulembeze ba NRM okuva e Sironko ne Bulambuli ku ssomero lya Masaba SSS.

Museveni asuubizza okuyamba...

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okussa mu bajeti y'eggwanga ssente ez'okudduukirira abasuubuzi ne bannannyini bizinensi...