TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Abantu 150 batemuddwa mu mwaka gumu!

Abantu 150 batemuddwa mu mwaka gumu!

Added 18th January 2011

OMWAKA 2010 abantu bangi batemuddwa mu ggwanga. Mu bitundu bya Buganda abantu abasoba mu 150 be batemuddwa mu 2010!

Bw’ogenda ku poliisi abatemuddwa babawaako ensonga ez’enjawulo. Abamu battiddwa abateeberezebwa okuba ababbi, abamu basaddaakiddwa, abalala lwa mpalana mu maka n’ensonga

OMWAKA 2010 abantu bangi batemuddwa mu ggwanga. Mu bitundu bya Buganda abantu abasoba mu 150 be batemuddwa mu 2010!

Bw’ogenda ku poliisi abatemuddwa babawaako ensonga ez’enjawulo. Abamu battiddwa abateeberezebwa okuba ababbi, abamu basaddaakiddwa, abalala lwa mpalana mu maka n’ensonga z’ettaka.
Omwezi gwa June gwe gwasingamu abantu abaatemulwa ne guddirirwa December. Mu June baatemulamu abantu 19, ate mu December ne batemula 14!

Obutayimbwa
Obutayimbwa kye kimu ku bissi abatemu bye basinze okukozesa okutemula. Bwacaaka nnyo  oluvannyuma lw’okulonda mu 2006. Okuva mu November wa 2010 bucaase e Mukono ne mu Kampala.

Okugeza mu bbanga lya wiiki ssatu mu 2011, abatemu ab’obutayimbwa basse abantu mukaaga e Mukono ne balumya n’abalala. Abasinze okuttibwa ab’obutayimbwa mulimu  abavuga bodaboda, abakyala abakola mu butale n’abakeera ennyo okugenda okukola.
Okugeza nga December 20  2010, Godfrey Gamwanga ow’e Mukono yattibwa na katayimbwa mu matulutulu ng’agenda okutunda endokwa z’ebimuli n’emiti ku Ntaawo zooni.

Obutemu bw’obutayimbwa bwatandikira Nansana kyokka poliisi bwe yabulwanyisa ne budda e Kajjansi, olwo kwe kuyingira mu Kampala wakati.
Ng’okuyita ku luguudo lw’eggaali ekiro emabega wa lufula oba e Kireka ng’abakatayimbwa tobasukka! Kati obutemu buno busaasaanye.
Okusinziira ku Ssentebe wa Lc 111 e Goma, Erisa Mukasa, Gamwanga yakubwa akatayimbwa omulambo ne gusuulibwa okuliraana amaka ge.
Kyokka Mukasa yeewuunya engeri poliisi gy’eremwa okuteekawo obukuumi obumala ng’ekimanyi nti abatemu b’obutayimbwa bangi mu kitundu.
Abalala abattibwa kuliko Violet Nalubwama 20 ,eyali omuyizi mu Kampala University. Ono abatuuze mu kitundu baamuwulira nga alaajana naye nga tewali amuyamba.

Henry Kabuubi 29 omutuuze w’e Kisenyi Namiryango e Seeta ye yattibwa nga 13 December omulambo gwe ne gusuulibwa ku luguudo lw’eggaali y’omukka ne bamunyagako n’emitwalo etaano gye yalina.

Abalala abattiddwa kuliko Saba Munyalwali, omuvuzi wa bodaboda ku siteegi ya ppaaka ya takisi, Nnaalongo Namusisi gwe baateega e Kitega okuliraana n’akatale ka Wantoni.

Waliwo ne  Josephine Namubiru eyali asiika muwogo e Seeta ne bamutwalako essimu ze bbiri ne ssente; Saad Kalyango  eyali omusomesa ne Dickson Ssentongo eyali munnamawulire wa Prime Radio.

Jackson Sseremba, omuzimbi e Mukono ye ab’obutayimbwa yabasimattukira watono kuba baamutuusaako ebisago ku mutwe. Abalala abaasimattuka mulimu Moses Lumwama ne Moses Muhumuza bonna abavuzi ba bodaboda abaakubwa ne batwala bodaboda zaabwe, Steven Lutalo ne John Nkugwa.      

Sam Elijja 33, anyumya bwati engeri gye yawonamu akatayimbwa:
Nga December 11,  nnali nva ku kyeggulo ku wooteeri ya Africana ku ssaawa 10 ez’ekiro ne nsanga abatemu babiri abaalina obutayimbwa nga nnaatera okutuuka ewange mu zooni 9 e Nakawa.

Baatandika okunkuba okutuusa lwe bammenya erinnyo lyange ne banjasa n’ennyindo awo ne siddamu kutegeera ne balowooza nti nnali nfudde. Badduka n’essimu yange ey’omu ngalo n’emitwalo 25 ne kkaadi yange eya ATM.

Abatuuze be bandaba nga bukedde ne bantwala mu ddwaaliro. Bwe nnafunamu olungubanguba natwala ensonga zange ku poliisi y’e Kitintale wabula ne bantegeeza nga bwe baali tebasobola kunnyamba okukwata abatemu yadde okulondoola essimu yange nange ne nzigwamu amaanyi.

Akulira poliisi y’e Seeta, Abdul Nasser agamba nti poliisi yategeka olukiiko  okutegeeza abatuuze engeri gye bayinza okukomyamu obutemu buno. Ekibi abantu tebannayamba buli omu okufuuka mbega wa munne, ate abakigezaako bannaabwe babalaba ng’ab’olugezigezi!
Akulira  okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi y’e Kajjansi, Daniel Batte agamba nti obutemu bwe banoonyerezzaako bakizudde nti ensonga evaako abantu okutemulwa nnyingi wabula enkulu ku zzo ziri nnya.
Empalana  z’ettaka:

Ebiseera ebisinga omu asalawo okutta munne bwe bali ku mbiranye asobole okweddiza ettaka eryo.
Obubbi:

 Ababbi batemula abantu okubabbako ebintu byabwe okusinga aba bodaboda ne sipensulo ate olumu abatuuze nabo ne batemula abo be balowooza okuba ababbi.

Okunoonya obugagga:
Ebiseera ebimu abantu abatemulwa naddala abaana n’abawala basaddaakibwa abantu abanoonya obugagga obw’amangu nga beeyambisa abasawo b’ekinnansi.

Obutakkaanya:
Buno businze kuba bwa baagalana ng’omu akyaye munne, abakwatira bannaabwe mu bwenzi n’aba;ina ebbuba eringi. Waliwo n’abatta bannaabwe olwa ssente, katugambe ng’oli yawola munne n’amulyazaamaanya.

Ebirala ebivaako obutemu buno mulimu abasajja abakwata abakyala naddala nga gwakutte amumanyi n’asalawo okumutta aleme okumuloopa, fitina naddala oli ng’alaba munne amuyiseeko oba ng’amututteko omulimu ssaako okunywa enjaga n’ebitamiiza ebirala n’olumu abantu abattibwa nabo balagajjalira obulamu bwabwe naddala nga batambula ekiro.

Ani akuba obutayimbwa?
Mw. Batte agamba nti abakuba obutayimbwa ebiseera ebisinga be batalina mirimu, abakeera okuzannya zzaala ng’eno bwe banywa enjaga n’okulya amayirungi . 

Okwewala obutemu buno, Batte agamba nti abatuuze balina okujjumbira enkung’aana za poliisi n’okwongera enkolagala yaabwe ne poliisi nga baloopa abo be balowooza nti babulabe mu kitundu.

Bw’oba olina ky’omanyi ku bantu abattibwa weereza obubaka ku 0782006608. Oba wandiika ‘kalondoozi’, lekawo akabanga ozzeeko obubaka obuweereze ku 8338.

Abantu 150 batemuddwa mu mwaka gumu!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Micheal Kinene Akomyewo na ...

Micheal Kinene Akomyewo na Nkuba mpya Omuyimbi Micheal Kinene akomyewo na nkuba mpya oluvannyuma lw'okumala...

Akulira UNEB Dan Odongo.

UNEB be yasunsudde okutegek...

Bya Benjamin Ssebaggala  AKAKIIKO akagaba n'okusunsula abakozi mu minisitule y'ebyenjigiriza (Education Service...

Omusawo ng'agezesa bwe balongoosa.

''Mukebere abalwadde endwad...

AKULIRA eddwaaliro ly’e Mulago, Dr. Byarugaba asabye abasawo abalongoosa endwadde nga kkansa w’omu byenda essira...

Abamu ku baabadde mu lukiiko.

Ababadde basolooza busuulu ...

ABATUUZE beekubidde enduulu mu boobuyiinza babayambe obutatundirwa mu bibanja byabwe okubafuula emmomboze. Kiddiridde...

Omusajja ng'afuuyira mu ntebe z'omutuuze.

Balimwezo ne KCCA baggudde ...

Ekitongole kya KCCA nga bali wamu ne Balimwezo Community Foundation batongozza okufuuyira ebiku n’ebiyenje nnyumba...