TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Akawumbi Museveni ke yawa aba Park yard katabudde abasuubuzi

Akawumbi Museveni ke yawa aba Park yard katabudde abasuubuzi

Added 4th January 2011

Kalondoozi wa Bukedde alaze engeri ssente zino gye zifuuse ekyambika ezituusizza n’abasuubuzi abamu okwewa obutwa bafe baveewo.

GUWEZE omwaka mulamba bukya basuubuzi b’omu katale ka Park Yard batandika kuwolebwa kawumbi ka ssente akaabasuubizibwa Pulezidenti Museveni oluvannyuma lwa nab

Kalondoozi wa Bukedde alaze engeri ssente zino gye zifuuse ekyambika ezituusizza n’abasuubuzi abamu okwewa obutwa bafe baveewo.

GUWEZE omwaka mulamba bukya basuubuzi b’omu katale ka Park Yard batandika kuwolebwa kawumbi ka ssente akaabasuubizibwa Pulezidenti Museveni oluvannyuma lwa nabbambula w’omuliro ogwasaanyaawo ebyamaguzi byabwe byonna.

Na buli kati omuliro ogwakwta nga February, 25 2009 tewali lipoota yonna yali efulumye ng’erambika ekyavaako omuliro guno!
Oluvannyuma lw’omuliro, abantu ab’enjawulo okuli bannabyabufuzi, abayimbi ne bannabizinensi baasuubiza  okudduukirira abasuubuzi bano.
Pulezidenti Museveni yasuubiza kawumbi, bazeewole okuzzaawo bizinensi zaabwe awatali kusasula magoba.

Ssente zaali zaakuyita mu kibiina ky’obwegassi era abakungu okuva mu kitongole kya Uganda Cooperative Savings and Credit Union (UCOSCU) ekivunaanyizibwa ku bibiina bw’obwegassi mu ggwanga era ekikolera wansi wa minisitule y’ebitongole ebiwozi bya ssente (micro finance) ekulemberwa Minista Ruth Nankabirwa baayingira akatale kano okulaba ekibiina ky’abasuubuzi kye basobola okukolagana nakyo.

Akakiiko akaali kaddukanya akatale mu kiseera ekyo nga kakulemberwa Godfrey Busuulwa kassaawo ekibiina  kya Kampala United Park Yard Savings & Credit Society era akawumbi ka Museveni mwe kaayita okutuuka ku basuubuzi.

Mu April wa 2009, abasuubuzi baatandika okwewandiisa mu kibiina kino okufuna obwammemba, nga buli omu asasula 15,000/- . Ku zino  5,000/- za kwewandiisa ate 10,000/- zaakugula mugabo. Omusuubuzi yabanga waddembe okugula emigabo gyonna gy’aba ayagadde.

Ssente zino bwe zaali zisuubizibwa abasuubuzi baategeezebwa nti zaali za kubawola nga tekuli magoba kyokka akakiiko ka SACCO kaazissaako amagoba ga bitundu 17 ku 100 okusobozesa okuddukanya ekibiina n’okulaba nga kisigalawo singa akawumbi kaba kamaze okuzzibwayo.
Singa omuntu abeera ng’ayagala kwewola mulundi mulala amagoba gano nga geeyogerako okutuuka mu bitundu 19 ku 100 okukendeeza abadda okwewola!

Amateeka agafuga SACCO
Akawumbi kano kaawolebwa basuubuzi ba Park Yard bokka kyokka singa obeera oyagala okugula emigabo mu SACCO eno ne bw’otoba musuubizi  mu katale kano okkirizibwa.

Omufuna ssente bw’oba oli omu olina okuba n’omusingo  okusingira ddala omudaala mu katale kano.

Bw’oba tolina mudaala onoonya abasuubuzi abalala abatalina midaala ne mwegatta abantu nga bataano olwo ne muweebwa ssente.

Ssente zino zirina okusasulwa mu bbanga erikuweebwa, bwe zikulema ebibyo babitwala.
Ssente ziriko amagoba ga bitundu 17 ku 100, wabula singa weewola omulundi ogwokubiri oba okusingawo geeyongerako.
Bammemba abaasooka okwewandiisa baali 1,010, olwo nga April 13 ne batuula ku ssomero lya Buganda Rd P/S mu lukiiko olwakubirizibwa omumyuka wa RDC owa Kampala Nnaalongo Rose Kirabira ne balonda akakiiko akaddukanya ekibiina.
Ssentebe baalonda Charles Lubega, Yudaya Namuganga ye mumyuka, Moses Isriate ye muwandiisi era maneja, Abubaker Mulinde mukungu, Abdallah Kaweesi ye muwanika, Shakira Nakiberu mukungu.
Gavumenti ng’eyitira mu kitongole kyayo ekya Uganda Cooperative Savings and Credit Union (UCOSCU), yatandika okuwa ekibiina kino obuyambi okuli okukipangisiriza ofiisi kati okuli banka ya SACCO eno ku kizimbe kya MK plaza.

Gannyana
Kyokka abaali basuubira ssente amangu baddemu bakole basasule amabanja, ssente zaafuuka gannyana!
Yo Gavumenti ng’gamba nti abakulira ekibiina ky’abasuubuzi beetaaga okusomesa sikulwa babulankanya ssente za Pulezidenti.
Minisita Ruth Nankabirwa yatongoza bbanka ya SACCO eno mu July wa 2009, era ssente ezaasooka obukadde 200 zaagabibwa. Olwo nga bammemba baweze 1,521 nga bonna awamu basabye ssente eziwerera ddala obuwumbi 5.
Mu April wa 2010 obukadde obulala 400 bwaweerezebwa abasuubuzi. Mu kiseera kino ekibiina kyalimu bammemba 1,600, anti abamu na kati bagamba nti osanga ku ssente 15,000/- ze baawaayo okwewandiisa bano kwe baggya ssente ezaabawolwa!
Mu August wa 2010, obukadde 400 obwali bubulayo okumalayo akawumbi  bwaweerezebwa. Mu kiseera kino ku bukadde 200 ezaasooka okuwolebwa, abasuubuzi baali bazzizzaawo ezisoba mu bukadde 55 nga buli mwezi bazzaayo  11,111,111/- .
W’osomera bino ng’ekibiina kirina bammemba 3,010 nga ku kawumbi, obukadde 222, bwe bumaze okuzzibwayo, obukadde 778 buli mu basuubuzi abeewola kyokka nga 42,200,000/- ze zisabiddwa abasuubuzi abaagala okwewola.
Abakyala be basinze okwettanira okwewandiisa, okwewola n’okuzza obulungi ssente .
   
Obuzibu mu kawumbi ka Museveni
Mu ntandikwa abantu b’enjawulo bayingiza ebyobufuzi mu kibiina kya Park Yard, bangi baagambanga nti abawandiisiddwa bayingiziddwa mu NRM.
Omukungu w’ekibiina Mulinde agamba nti abasuubuzi mu katale kano ne bammemba tebamanyi makulu ga kutereka era abasinga okwewandiisa baagala kwewola ssente naye nga tebatereka.
Okukandaaliriza abasuubuzi nga tebafuna ssente kyabaggyisa obwesige mu kibiina, ate  okussa amagoba ku ssente zino kyanyiiza abasuubuzi abamu ne babuuza nti oba Museveni ssente yazibawa beewole ku bwereere amagoba gaaki?
Abasiraamu abamu baagana okwewola ssente zino kubanga zassibwako amagoba.
Abasuubuzi bangi baasaba ssente nnyingi ze bataasobola  kukozesa bulungi.
Ekitongole kya UCOSCU kyasuubiza mu ntandikwa okuyambako emyaka ebiri omuli n’okusasula abakozi be baaweereza, kyokka baaliwo emyezi mukaaga.
Ssente baaziwaayo akaseera katono nnyo. Omwaka ogumu gwokka tegumala buli muntu kuba ng’afunye ku ssente zino

Abasuubuzi bye boogera
Robinah Nansubuga omusuubuzi w’engatto:
Nnaakeewola emirundi ebiri kubanga ssente ze nneewola nazikozesa ne nnyongera ku bungi bw’engatto ze nsuubula n’amagoba ge nkola gannyambye ennyo okutumbula buzinensi yange.
Okufuna obulungi mu ssente zino ezimu nazikozesa okwongera mu bizinensi yange ate endala ne nzirundamu enkoko.
 
Shaban Kibirige, asuubula engatto enkadde:
 Abasuubuzi bangi bwe tubabuulira ku ngeri gye tufunyeemu mu ssente zino balabika nga nabo bandiyagadde okuzifunako wabula bangi tebamanyi kye bayinza kukola okuzifunako. Abali ku kakiiko akaddukanya SACCO yaffe bongere amaanyi okusomesa abasuubuzi ku ngeri gye basobola okufunamu ssente n’okuzikozesa obulungi.
Grace Namubiru atunda ensawo: Ssente zino nzikozesezza okutandikawo amatabi amalala mwe nsobola okuggya sente eziddukanya bizinensi yange n’okusasula ebbanja.

Vanessa Lubega yagula firiigi:

Nalwawo okusaba ssente zino olw’okuba sirina mudaala. Abalala nga mbatya okudduka ne ssente ndusigalemu okusasula ebbanja lyonna. Oluvannyuma lw’okufuna abantu be nsobola okukwatagana nabo nasaba ssente zino era nfunye amaanyi mu bizinensi.

Erias Ashaka atunda engatto enkadde:

Mikwano gyange baasooka ne bampola ng’akatale kayidde era nagenda okufuna ssente z’akawumbi nga nnina we ntandikira.

Akawumbi ka Museveni kata kanzite, Milly Namatovu omuwanisi wa zooni ya Nsawo:

Nasaba akakadde kamu okuva mu kibiina nga nnina oluleka ku akawunti 200,000/- ku akawunti yange olwo nga nnina kufuna 800,000/-.
 Nga mmaze okuggyayo ssente zino nalina okusasula 180,000/- ng’amagoba mu myezi mukaaga gyokka.
Nga nnaakamala emyezi esatu gyokka, abakulira ekibiina nga bakulembeddwaamu Mulinde  baasiba omudaala gwange nga sirina wadde okugusemberera .
Bandagira okusasula ssente zino mu nnaku ssatu zokka. Nagenda ne neegayirira abantu bano okumala ennaku bbiri nga sikyakola wabula ne beerema era wano we nakakasiza nti sikyali kyakukola kwe kusalawo waakiri nfe.
Nnamira amakerenda 60 mu ofiisi y’ekibiina, ekibi abasuubuzi banzirusa e Lubaga mu ddwaaliro.

Ssentebe wa Nsawo zooni Alex Mukalazi:

Ssente z’osaba si ze bakuwa kyokka ate nga ntono nnyo ezitasobola na kuyamba muntu kuzzaawo wadde ekitundu ky’emmaali ye gye yafiirwa.
Bw’osaba ssente olina okulekayo omuwendo ku akawunti yo mbu za yinsuwa, VAT n’ebirala bye tutategeera kyokka nga bw’otuuka okusasula osasula ssente zonna ezaakuweebwa mu biwandiiko sso si ze wafuna entuufu. Kino tulaba nga batubba.

Lukka Baanabakintu atunda amasuuka:
Pulezidenti Museveni n’abakungu okuva mu ofiisi ye abajja okutusomesa ku nkola ya ssente zino bye baatugamba nga si bye bikolebwa. Twategeezebwa nti ssente za kwewola ku bwereere kyokka kati baazissaamu amagoba amayitirivu. Bw’olemererwa okusasula wadde ennaku bbiri zokka mu mwezi olina okusasula engassi ya 20,000/- . Bino bikolebwa abantu abatono  abali mu ofiisi y’ekibiina.

Muhamad Kiberu omusuubuzi wa leediyo n’eby’amasannyalaze ebirala:

Ssente zino nnali nzeesunze, naye bwe baazissaamu amagoba ne nzeenenya kuba eddiini yange tezikkiriza.

Maria Kuyirwa atunda ebitabo ku mwala:
Nze ekinnemesezza okwewola ssente zino, sisobola mbeera na bunkenke buli mu kusasula ssente zino. Oyinza n’okulemwa okukola anti nga buli kiseera weeraliikirira.

Ismail Butengo amanyiddwa nga Mukwasi:
Ekizibu eking’aana okwewola ssente zino y’engeri gye tulaba ng’abeewola ssente bakaaba n’engeri gye zisasulwamu. Abamu bagamba nti bamala okusasula ssente ze beewola ne ziggwaayo kyokka abakulira SACCO ne basigala nga bakyababanja!

Francis Byebiri atunda obuveera:
Ekyannemesa okufuna ssente zino kwe kuba nti ogendayo ng’olina omuwendo  gw’oyagala okuweebwa kyokka bbo abakulira ekibiina ne bakuwaako ze baagadde.

Minisita wa Bonna baggaggawale Ruth Nankabirwa:
Ssente zino zaaweeba abasuubuzi bazeewole ku bwereere wabula abakulira ekibiina baalina okusala amagezi okulaba nga bafuna ssente ezitambuza ekibiina kyabwe gamba okusasula abakozi, okugula eby’okukozesa ng’empapula n’ebirala kubanga oluvannyuma lw’omwaka akawumbi kano kalina okuba nga kazziddwaayo.

Ebibuuzo
Museveni bw’aba ye yawaayo ssente zino ku bwereere, amagoba gaaki? Lwaki eby’okukola bbanka tebaabirinda okutuusa ng’omulundi ogusooka ogw’okwewola guweddeko amagoba ne bagassaako ku oyo eyeewola ogwokubiri?

Lwaki abakulira ekibiina ky’abasuubuzi batulugunyaako abasuubuzi abamu okubasasuza ssente ng’ekiseera tekinnaggwaako?

Ekibiina kisinziira ku ki okuwola omusuubuzi omu emirundi ebiri ng’abalala tebannafuna?

Museveni bw’aba yali ayagala kuyamba basuubuzi, lwaki ssente yazibawa omwaka gumu ate nga kuliko amagoba mangi kumpi kusinga bbanka zimu?

Ssente bwe ziba zaaleetebwa kuyamba bantu lwaki baggyibwako byonna bye balina omuli n’emidaala? Ani atwala emidaala egyo?

Amagoba agassibwa ku ssente zino abasuubuzi bo bagafuniramu wa?
Bw’oba olina ky’omanyi ku kawumbi ka Pulezidenti eri aba Park yard oba ekirala kyonna ky’oyagala tunoonyerezeeko wandiika ‘kalondoozi’, lekawo akabanga ozzeeko obubaka obuweereze ku 8338 oba buweereze ku 0782006608.

Akawumbi Museveni ke yawa aba Park yard katabudde abasuubuzi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Abawagizi ba Rukutana nga bajaganya

Engeri ebya Rukutana gye bi...

EBY’OBULULU bw’e Rushenyi bikyuse minisita Mwesigwa Rukutana bw’alangiddwa ng’eyawangudde akalulu k’essaza lino...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....