TOP

Manya amateeka

Added 4th January 2011

Omwaka oguyise gwonna tugumaze tulwanyisa batujju era tubasaba omulimu tugwongere mu maaso. Mwattu nno okulwanyisa obutujju n’okubutuula ku nfeete weetaaga ebintu ebikulu bisatu byokka;  amaaso go, amatu agawulira n’obwongo obusensula ne bukuwa okusalawo ekiddirira.

Omutujju yâ

Omwaka oguyise gwonna tugumaze tulwanyisa batujju era tubasaba omulimu tugwongere mu maaso. Mwattu nno okulwanyisa obutujju n’okubutuula ku nfeete weetaaga ebintu ebikulu bisatu byokka;  amaaso go, amatu agawulira n’obwongo obusensula ne bukuwa okusalawo ekiddirira.

Omutujju y’ani era atta atya?
Abatusibyeko ennyo olukongoolo be ba Al Qaeda aba Osama bin Laden, Al Shabaab abava e Somalia ne ADF aba Jamil Mukulu. Eriyo abalala nga Abu Sayyaf, ETA n’abalala nkumu abatadde ensi yonna ku bunkenke. Bakalibutemu bano bayita mu kutega  bbomu zzisabyalo.
Abalala bakozesa mmundu sseruwandula masasi ne bagasasira mu bantu ekirindi! Abandi bawamba abantu mu ofiisi, mu nnyonyi, mu bifo ebisanyukirwamu, oluusi ne mu  mu masomero bagendayo. Eriyo n’abakozesa obutwa mu mmere oba mu mabaluwa! Ensi nga mbi!
 
Amaaso go
Banywanyi ku luno mulabe abantu gye mukolera, ebintu ebiriwo gamba ng’ebitereke ebirekeddwa awo, kamera, emifaliso, ensawo ez’obuyonjo, ssanduuko n’ebirala. Mwettanire nnyo obutabuguumirira n’okumala gakwata bye mulabye. Era mulwanyise obukyafu nga kasasiro atusibyeko akanyaaga e Kampala. Tuswala!
Tegeera abantu abasula mu kitundu kyo, bakola mirimu ki, batambula na b’ani era beeyisa batya mu kitundu? Tuve mu kuliisa ebinjanjalo empiso. Muloope abakyamu nga bukyali sikulwa mukaaba lwayaba ne tuwoza, “Mungu atukubye balaayi” nga bwe mpulira abamu boogera.

Jjukira obukulu bw’amatu go
Emirundi mingi abakozi b’ebikolobero bateeseza mu bifo ebisanyukirwamu , mu  takisi, ku masimu nga batambula era tubawulira naye oluusi n’otofaayo kubaloopa.
Buno bubaka bw’abakozesa abantu; mutukkirize tutendeke abantu bammwe ebyokwerinda binywerere ddala mu 2011.

Obwongo ye kompyuta yo kalimagezi
Buno busensula n’okukulaga ebiriwo ebitalabika mu lwatu. Obwongo bwe bunaakutegeeza nti ky’owulidde kyabulabe naye n’otofaayo kukiroopa onooba tolina njawulo na mutujju kalittima atirimbula abantu baffe.
Ffe ogwaffe tugukoze naye nammwe Ssemateeka mu nnyingo eya 17 alambika bulungi emirimu gyammwe ng’abantu babulijjo era ogumu ku gyo kukolagana na bitongole bikuumaddembe.
Jjukira nti okwerinda si buti…Nga lwaki tufa tulaba nga tulina bye tusobola okukola bamuntunsolo bano ne tubatuula ku nfeete? Tuyige okulabira ewala. Mbaagaliza omwaka omuggya ogwemirembe.

Omuwandiisi ofiisa wa poliisi akolera mu Kampala Metropolitan Police
Email: kaemilian05@yahoo.com

 

Manya amateeka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga n'omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi.

Abaserikale musse ekitiibwa...

SSAABASUMBA w’Essaza Ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye abakuumaddembe okuyisa obulungi Bannayuganda...

Omusomesa ng'akebera omuyizi corona virus.

Minisitule y'ebyenjigiriza ...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ekoze enkyukakyuka mu birina okusomesebwa abayizi ba P7 abazzeeyo ku masomero n’ab’ebibiina...

Zzimula n'embuzi ze.

EMBUZI GYE BAMPA MU MUSOMO ...

ZZIMULA , mutuuze w’e Busega Kibumbiro zooni B mu munisipaali y'e Lubaga mu Kampala. Muluunzi wa mbuzi era yazizimbira...

Aikoru n'abaana baabadde atulugunya.

Abadde asuza abaana mu kaab...

OMUKAZI Juliet Aikoru ow’e Kazo Angola akwatiddwa ng’abadde amaze ebbanga ng’atulugunya abaana ba muggyawe be yalekera...