TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Eby’okwokera abaana b’omugagga wa Shauriyako mu nju bwali butemu oba nkaayana za ttaka!

Eby’okwokera abaana b’omugagga wa Shauriyako mu nju bwali butemu oba nkaayana za ttaka!

Added 15th September 2010

Oluvannyuma  yagiteekera omuliro, naye engeri Katonda gy’atalekerera, Muky. Mukasa yawulira omuliro guno n’akuba enduulu abadduukirize ne babomola ekituli mu nnyumba ne basobola okusikayo abaana nga balamu. Kyokka ebintu ebisinga eby’omu nju  byaggyiiramu!
Kigambibwa nti abantu ababiri

Oluvannyuma  yagiteekera omuliro, naye engeri Katonda gy’atalekerera, Muky. Mukasa yawulira omuliro guno n’akuba enduulu abadduukirize ne babomola ekituli mu nnyumba ne basobola okusikayo abaana nga balamu. Kyokka ebintu ebisinga eby’omu nju  byaggyiiramu!
Kigambibwa nti abantu ababiri abaakwatibwa, Stephen Ssekamatte amanyiddwa nga Kadiidi ne Samson Ssuuna nga bateeberezebwa okwokya ennyumba ya Muky. Mukasa be bamu abali mu kusika omugwa olw’ettaka.

Enkaayana
Kigambibwa nti waliwo enkaayana z’ettaka wakati wa Muky. Mukasa ne famire ya Ssuuna bwe baliraanaganye. Ssuuna y’omu ku bakuza b’abaana b’omugenzi Dunstan Ssebuliba eyali nnannyini ttaka erikaayanirwa.
Herbie Kawuma omusika wa  Ssebuliba yang’ambye nti, ‘Kitange yagula wano mu 1987, mu kiseera ekyo nalina omwaka gumu. Kitange agenda okufa nali mpezezza emyaka 15 n’andeka mu bintu bye ng’omusika n’okulabirira baganda bange bataano  n’okubasomesa.
Nasalawo ennyumba ennene ne ngisalamu ebisenge ne ngifuula ey’abapangisa. Ennyumba eno eri mabega w’ekikomera kya Muky. Mukasa.
    Mu 2008 nafuna abantu abankwata ku mukono ne ng’enda e Norway okwongera okusoma. Nakumaliriza mu 2009, sadda mu Uganda natandika okukolerayo nga bwe mpeereza obuyambi eri baganda bange.
Taata nga tannafa yaleka ang’ambye nti balina embiranye ne Muky. Mukasa, nti yamutuukirira amuguze ku ttaka lye, bwe yagaana n’aggyamu mpalana era yafa nga tebalima kambugu!
Yankuutira obutakola nsobi yonna kutunda wadde deesimoolo ku bintu by’atulekedde! Muky. Mukasa yatwesibako okutugula naye twagaana wadde nga balirwana baffe abamu bbo bakkiriza n’abagula era ne basenguka.

Muky. Mukasa agaana okutuguza poloti
Enkayaana wakati waffe ne Muky. Mukasa twazitwalako ewa looya waffe Mathias Mwanje. Muky.  Mukasa yalina poloti etuliraanye gye yali ayagala okutunda olw’okuba teriiko kkubo. Olw’okuba kyali kizibu ffe okutuukirira Muky. Mukasa okutuguza, twasalawo okuyita mu eyali akolanga Ssentebe w’ekyalo  mu kiseera ekyo Reuben Jjuuko amutuukirire asobole okutuguza.
Jjuuko yakubira Muky. Mukasa essimu n’akkiriza nga bw’atunda poloti kyokka teyamanya ffe tugula!
Oluvannyuma bwe yakitegeera, yasalawo okwongeza ssente mu kifo ky’obukadde 25 n’agamba nti ayagala 45! Oluvannyuma Muky. Mukasa yasalawo obutatunda!  

Batulemesa okuzimba
Doreen Bagaya, ono naye mulekwa wa Ssebuliba yang’ambye nti, “Nga  tufunye ku ssente, twasalawo okumenya  enju enkadde tuzimbewo  endala ey’omulembe. Muky. Mukasa yatufuukira olukokobe, ng’agamba nti bwe tuzimba ennyumba ennene aba tasigazza kkubo! Bino byonna yali akola kakodyo kutulemesa kukulaakulanya poloti yaffe olwo alyoke atugule!
Muky. Mukasa yalina poloti gye yagula okuliraana eyaffe, olwalaba nga tumenye ennyumba kwe kutandika okugamba nti tulina okuzimba nga tufunza ennyumba yaffe tumulekerewo ekkubo! Kino twakigaana kuba we yali asaba ekkubo ate we twali tumenye ennyumba kati olwo twandirireseewo tutya? Luli yali ayita wa nga tetunnamenya nkadde? Oluvannyuma Muky. Mukasa poloti eno yagitunda.’

Tusiba ekibaati ku poloti yaffe
Muky. Mukasa yali amaze okutudoobya n’ogw’okumulekerawo ekkubo ate mulirwana waffe Ssempa n’asimba akayinja mu poloti yaffe!
Naddukira wa looya Mwanje n’ampa amagezi agasiba ku poloti ebibaati. Olwakikola n’omusingi ne tusima olwo okuzimba ne kugenda mu maaso.

Ssentebe atuyimiriza okuzimba
    Bagaya yannyonnyodde nti, ‘Tuba tukyasima omusingi, Ssentebe George Ssemukaaya n’ajja ne Muky. Mukasa, nga bali mu mmotoka ye (Mukasa).
Ssemukaaya yagamba, ‘Bye mukola mubikomye kubanga poloti eno gye muzimbamu erimu enkaayana ezeetaaga okusooka okugonjoolwa!’
Kyokka ekikwasa ennaku ekifo we bakaayanira okussaawo ekkubo waaliwo nnyumba ya kitaffe okumala ebbanga ddene! Kati olwo lwaki baali tebagimenya ne baliteekawo? Ssemukaaya yagezaako okundabula ng’agamba nti ebintu bino mbiveemu kuba bijja kundeetera emitawaana! Kati olwo nga nnyinza ntya okuleka ebintu bya kitange bigende bityo? Bino yabing’ambanga Muky. Mukasa alumiriza kimu, ‘Mumenyeewo ebibaati!’

Muky. Mukasa by’agamba
Muky. Mukasa bwe nayogedde naye yang’ambye nti, ‘Ebintu ebyo biwanvu. Nze nnina ke nneekoledde era nguze ku poloti ez’enjawulo naye siyinza kugula poloti erimu nkaayana.
Singa olina omuntu agaana okukuguza ekintu kye ate olwo oggyamu mpalana? Olwo oba omuwalanira ki?
Nnina wangi we bampita okugula kyokka olumu ne ng’aana, kati olwo mba nfa ki ennyo okugula ew’abavubuka abo? Okumpi awo waliwo abantu be nagula naye si nze nabasaba okubagula, poloti ya bano erimu kiki ekyo kye njaagaza?
Okuggyako okwagala okuwalanira omuntu awatali nsonga, nze sibalinaako mutawaana gwonna. Famire ya Ssuuna bbo balina enkaayana ezaabwe ezitankwatako ate era simanyi baana ba Ssebuliba we bayingirira mu bino?’
Eby’okusiba Ssuuna mu kkomera sibimanyi, nze nalipootinga musango ku poliisi kye kyokka.

Abantu bye boogera
Jamirah Nanteza amanyiddwa nga Nnamwandu Mujapaani yang’ambye nti ‘Kinneewuunyisa okulaba ng’empalana ezibadde ez’olusaago okutuuka n’okutwaza omuntu mu kkomera. Ggwe bw’oba otunuulidde ekikomera kya Muky. Mukasa kyonna kye yasibako sseng’enge mpulira nti aliko n’amasannyalaze, omuntu ayinza kukiyita wa okukiyingira? Ezo mpalana!’
Zino mpalana za ttaka ezizze zibeerawo kubanga Muky. Mukasa yayagala nnyo okweddiza  ekifo kino naye Ssuuna n’akimulemesa. Ekkonda lyonna alimutaddeko ky’ava amusibisa!’
Cate Orikiriza yang’ambye nti, ‘Ku ssaawa 10:30 ez’ekiro ng’ennyumba yaakamala okukwata omuliro, Muky. Mukasa yakubira Jjuuko (eyali ssentebe) ssimu n’amuyita. Bwe yatuuka yagamba nti ‘Kirabika Ssuuna y’ayokezza ennyumba eno! Kino olwakiwulira, kwe kugenda ne ntegeezaako ab’ewa Ssuuna nti bagambye ggwe wayokezza ennyumba. Ku kitundu kino Ssuuna talina mutawaana gwonna, nkakasa ng’ezo mpalana zaabwe za ttaka ezibaddewo okuva emabega’
Abdul Nyago: Kye mmanyi Muky. Mukasa babadde n’empalana n’abenju y’omugenzi Ssebuliba okuli ne Ssuuna era kino ku kyalo buli omu akimanyi. Sisuubira nti Ssuuna ye yayingidde mu kikomera n’ayokya ennyumba. Wandiba nga waliwo omupango.
Okumanya empalana yaabwe nkulu, emabegako Muky. Mukasa yaleeta amagye okuva e Bombo bakwate Ssuuna! 
Muky. Mukasa mmumanyi kyokka okuva Jjuuko lwe yasigala nga Ssentebe ebintu ebimu abikoze bubi. Y’avaako obuzibu bwonna kuba y’asinga okuwaga omukyala ono era gwe mukono gwe ogw’amaanyi!’

Jjuuko by’agamba
Reuben Jjuuko  yang’ambye nti,  “Mbadde ku kyalo Kawaala okumala emyaka 40, enkaayana za bano tezitandise kati. Zaatandika n’omugenzi Ssebuliba akyali mulamu. Wabula embirinye ebadde nnyo wakati wa Ssuuna ne Muky. Mukasa ng’obuzibu buva ku bya poloti.  Nti Ssuuna yalemesanga omukyala ono okugula ezimu ku poloti ze yayagalanga okugula!
Okuggyako okwagala okunkyaya abantu,Muky. Mukasa mmumanyi kyokka  sirina nkwatagana yonna naye okulemesa abaana bano, era kino kikyamu okukimpaatiikako. Kye mmanyi nti abantu abo abagezaako okunsiiga enziro kirabika Ssentebe Ssemukaaya y’abapikamu omuliro olw’okuba akimanyi nti ng’enda kumwesimbako ate musinza amaanyi!
 N’ekirala abantu kye balina okumanya, bino ebintu by’enkayaana eziri mu famire ya Ssuuna ziri mu offiisi ekola ku nsonga z’abafu.
Waliwo omutuuze omu yag’ambye nti, ‘Ssuuna (kati ali mu kkomera) balina obutakkaanya n’abooluganda lwe ng’entabwe eva ku ttaka kitaabwe omugenzi Mujapaani lye yaleka! Abooluganda baali baagala okutunda kyokka ye Ssuuna n’agaana olwo empalana w’eva.
Yang’ambye nti ‘Ssuna taliiko mukwano ate nga musajja mulwanyi nnyo era okubeerako mu kkomera ndowooza ajja kuvaayo awoze. Musajja anywa omwenge olwo n’alyoka agenda ng’avuma buli omu.

Poliisi e Kawaala
Poliisi yata Kadiidi oluvannyuma lw’okukizuula nti talina musango, wabula Ssuuna ali mu kkomera. Kyokka ekyewuunyisa nti omusango gwe baawandiise gwa kutiisatiisa Muky. Mukasa  sso si gwa kwokya nnyumba oba okugezaako okutta abaana abasatu!

Bw’oba olina ky’omanyi ku musango guno n’omulala gw’oyagala tunoonyerezeeko weereza obubaka ku 8338 bw’oba ku Zain, utl, MTN oba buweereze ku 0752628931.
 
 
 

 

Eby’okwokera abaana b’omugagga wa Shauriyako mu nju bwali butemu oba nkaayana za ttaka!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazannya ‘Bizzonto’ nga beegezaamu.

Abazannya komedi wa 'Bizzon...

POLIISI ezzeemu okukwata abasajja abazannya komedi wa ‘Bizzonto’ ne basimbibwa mu kkooti ya Buganda Road gye babasomedde...

Kluthum

Kluthum ayogedde ku katambi...

MUKYALA wa Sheikh Muzaata Batte, Kluthum Nabunnya ayogedde ku katambi akaamutabula ne bba bwe yali ayogera ne ‘hawusibooyi.’...

Bannamateeka ba Kyagulanyi okuli Medard Lubega Sseggona ( ku kkono), Muwanda Nkunnyingi ne Sam Muyizzi.

Kkooti esazeewo ku gwa Kyag...

KKOOTI ekkirizza Kyagulanyi okuggyayo omusango gw’obululu gwe yawaaba wabula abalamuzi baakuwa ensala yaabwe ku...

Siraje Kiyemba Expert ng’alaga ebirabo by’atunda.

Kaadi n'ebirabo byongereko ...

OBADDE okimanyi nti ekirabo ky’otunda okwagaliza omuyizi okukola obulungi ebibuuzo eby’akamalirizo osobola okukyongerako...

Sheikh ng'annyonnyola okutalaka mu Busiraamu.

▶️ TAASA AMAKAGO: OKUTALA...

TAASA AMAKAGO: OKUTALAKA MU BUSIRAAMU KYE KI?