TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Abatuuze 600 bagobwa batya ku ttaka ng’etteeka eribakuuma lyakayita?

Abatuuze 600 bagobwa batya ku ttaka ng’etteeka eribakuuma lyakayita?

Added 15th September 2010

Abagamba nti be bannannyini ttaka batulugunyizza abantu abamu, ne basibwako ne mu kkomera e Kigo lwa ttaka lino! Entabwe esinze kuva ku ngeri eyeeyita nnannyini ttaka gy’agaanyi okuvaayo okweraga abantu bamubuulire ebizibu byabwe.

Joseph Kintu, omu ku batuuze agamba nti emivuyo gyonna g

Abagamba nti be bannannyini ttaka batulugunyizza abantu abamu, ne basibwako ne mu kkomera e Kigo lwa ttaka lino! Entabwe esinze kuva ku ngeri eyeeyita nnannyini ttaka gy’agaanyi okuvaayo okweraga abantu bamubuulire ebizibu byabwe.

Joseph Kintu, omu ku batuuze agamba nti emivuyo gyonna giva ku yeeyita nnannyini ttaka okugaana okubalaga ekyapa.
“Si balambulukufu, olabira awo ng’oli azze ng’asonga ku kibanja kyo. Enkeera ate muntu mulala y’ajja,” Kintu bw’agamba.
Gye buvuddeko, RDC  w’e Ntebe, Sarah Bananuka  yalaze abatuuze ekyapa  ekyokeseemu kyokka abatuuze balumiriza nti ekyo yaleese kicupuli, kyawukana ne ku kiri mu ofiisi y’ebyettaka.

Yabategeezezza nti ettaka lino Kabaka yaliwa omugenzi Balintuma eyazaala abaana 5, ku bbo okwali Kalibbala era ye yamusikira .Kalibbala naye yazaala abaana babiri - James Bwogi  n’omulala eyafa. Bwogi ye yali bba wa Maama Muvumenti, azaala abaana abasengula abantu.
Omu ku batuuze, Joseph Lule yabuuzizza lwaki Muky. Bwogi ne mutabani we Muwanga batulugunya abantu n’okubakoonera amayumba ng’ate tebalina kyapa.

Muky. Bwogi ajja ne bakanyama naddala ekiro ne batulugunya abantu n’okubakoonera amayumba.
Namukadde Oliva Namulindwa agamba nti, “Najja kuno mu 1923  nga mmange y’akung’aanya busuulu wa Balintuma. Bwe yafa, mutabani we Bwogi  n’alitwala naye kuva ku mulembe gwa Idi Amin Muky. Bwogi abadde atugobaganya.

Yaloopako ne mu kkooti nti tugaanidde ku ttaka lino, kati ebiriwo kirabika abagezigezi be baagala okututunda,” bw’agamba.
Muky. Nawume Matovu,  omu ku be baasibako e Kigo agamba: Abeeyita bannannyini ttaka baleete ekyapa tukirabe, bankuba era ebbanga lyonna mgbadde sisitula luba wansi.

Abantu ab’enjawulo babadde basaba buli mutuuze yeegule obukadde 25 buli yiika.

James Ayazika yeebuza lwaki Muky. Bwogi akozesa amaanyi okusiba abatuuze n’abakadde n’abatwaliramu.
Gye buvuddeko, looya Merdard Sseggona yatwalayo omukyala omu Nalubega n’amulaga abatuuze nti ye ne mwannyina ali mu Amerika be bannannyini ttaka lino!

Agusitino Mukasa ye alojja Mary Bwogi bwe yamugwa mu bulago: Yajjanga wano nga yeefuula mukwano gwange, kyokka olumu yajja wano n’agamba nti, ‘Awo njagalawo, funa gy’oda!’ Namusaba ansasule, ekyaddako kungwa mu bulago, basajja be ne bankasuka ku kabangali, ekiwejjowejjo mu kkooti ne batuyungako emisango ne nsibira e Kigo.

Fudyeri Lwanga yasenga ku Bubuli mu 1953: Mbadde mpa obusuulu okutuusa jjuuzi museveni bw’abuggyeewo. Tubadde tubusasula Kalibbala mwanyina wa Balintuma.

Muky. Bwogi yasaasaanya ekiwandiiko mu batuuze ekigamba nti,  “ Nze Mary Bwogi nzikirizza mutabani wange P.H Balintuma ne Nakimera Evelyn Bwogi okufuna obuyinza bw’ettaka.

Ssezaala wange Balintuma yankwasa obuyinza ku ttaka lino era n’abekika abalala bakimanyi nabo ne bampa obuyinza ku ttaka lino!”
Omwezi oguwedde waabaddewo olukiiko lw’ekyalo, RDC mwe yayanjulidde Nakimera Evelyn ne mwannyina Tucker Balintuma Paul.
Wabula bo tebalina kye baayogedde oba okuddamu ebibuuzo, byaddiddwaamu looya Sseggona.

Sseggona yasomesezza ku mateeka agakwata ku ttaka olwo buli omu n’amusaba yeetunulemu okusinziira ku mateeka ago. RDC yazzeemu okulaga ekyapa kyokka abatuuze bagamba nti kicupuli!

Abatuuze 600 bagobwa batya ku ttaka ng’etteeka eribakuuma lyakayita?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muwonge (ku ddyo nga bw'afaanana) ng'abuusizza ddigi.

Mutabani wa Super Lady alaz...

FILBERT Muwonge, ng'ono mutabani wa kyampiyoni w'emmotoka z'empaka owa 2011 ne 2018, afuludde banne mu ddigi z'empaka....

Ebyana nga binyumirwa obulamu e Kamwokya.

Ebbaala zigyemye ne ziggula...

EBBAALA zeewaggudde ku mateeka agaayisibwa poliisi ku kutegeka ebivvulu ku lunaku lw'Amazuukira. Ekivvulu ekyamaanyi,...

Katikkiro Mayiga (mu kkooti) ng'abuuza ku Ssaabasumba Kizito Lwanga, minisita Muyingo. asembye ku ddyo ye Bp. Ssemwogerere.

'Ssaabasumba abadde assa ek...

Buganda ebadde esula Ssaabasumba Lwanga ku mutima era abadde omutumbuzi w'ennono n'obuwangwa. Mu kufa kwa Dr.Lwanga,...

Okidi ng'alya obulamu ne Nnaalongo we e Kalangala.

Bawangudde okulambula mu bi...

Oluvannyuma  lw'akazannyo akaategekebwa ekitongole ky'ebyobulambuzi mu ggwanga ekya Uganda Tourism Board akamanyiddwa...

Kibowa (mu kiteeteeyi ekya kyenvu) n'abakyala be yabadde asisinkanye.

Abakyala basabye Museveni a...

SSENTEBE w'obukiiko bw'abakyala mu ggwanga, Faridah Kibowa asabye gavumenti okubongera ssente kibayambe okwongera...