TOP

Martin Luther Galiwango

Added 18th August 2010

Martin Luther Galiwango, omu ku Balokole abazuukufu abaasooka mu Uganda yaziikiddwa ku Mmande ya wiiki eno ku kkanisa ya Mackay e Nateete wakati mu nnamungi w’omuntu eyavudde e Bule n’e Bweya.
Galiwango, Abalokole gwe bayita ‘Taata’ yafa ku Lwokuna nga August 12 era Abalokole abazuukuf

Martin Luther Galiwango, omu ku Balokole abazuukufu abaasooka mu Uganda yaziikiddwa ku Mmande ya wiiki eno ku kkanisa ya Mackay e Nateete wakati mu nnamungi w’omuntu eyavudde e Bule n’e Bweya.
Galiwango, Abalokole gwe bayita ‘Taata’ yafa ku Lwokuna nga August 12 era Abalokole abazuukufu bamaze ennaku ezisoba mu ttaano nga bamuwaako obujulizi ku ngeri gy’akolereddemu eddiini.
Bangi ku Balokole obwedda banakuwala bwe bagamba nti, ‘kasita agenze mu Ggulu!’. Galiwangoyaliko maneja w’etterekero ly’ebitabo erya Uganda Bookshop era omubuulizi w’enjiri nnakinku mu ddiini y’Obukulisitaayo.
Mu kiseera ky’okuziika emiranga obwedda giva mu benganda, emikwano n’Abalokole olw’omukwano gwabwe eri Galiwango sso ng’Abalokole abazuukufu bo tebakaabira mufu, beebaza bwebaza.
Galiwango abadde amaze ekiseera nga mulwadde wa ssukaali, mu January w’omwaka guno yatwalibwko e Mulago ne bamulongoosa obulwadde bwe bumu. Okuva olwo abadde tatereeranga okutuusa lwe bwamugye mu nsi eno. Yafiiridde mu maka ge e Nateete.   
Ajja ku lwawo ng’akyali ku mitima gy’abakulisitaayo bangi olw’emirimu entoko gy’akoledde Ekkanisa ng’ate teyeebalirira. Era abadde akola mu kibiina kya East and Central African Re-Aweakened Revival ekigatta Abalokole abazuukufu.

Ekifa ku bulamu bwa Galiwango
Mutabani we Moses Ssebaggala ebyafaayo bya kitaawe abinnyonnyola  bwati:
Galiwango yazaalibwa November 2, 1928 ku kyalo Koba mu ggombolola y’e Kasanje mu Wakiso. Bakadde be ye Sserwano Kiwanuka ne Muky. Ejulieri Kiwanuka nga bonna bagenzi. Galiwango ye yali omwana owokusatu mu Kiwanuka.
Ssebaggala agamba nti, “Nga taata akyali mulamu kye yasinga okutunyumizanga nti ye kitaawe yabayigiriza nnyo okusoma eddiini era ng’omwana atagenze ku kkanisa ku Ssande ku olwo nga bamumma emmere!’

Eby’okusoma n’emirimu gye
Galiwango yasomera Jjungo C/U gye yava n’agenda mu Mengo Central. Oluvannyuma yatandika okusoma mu East African Railway training school e Nairobi.
Bwe yamala okusoma, mu 1947 yafuna omulimu mu kitongole ky’eggaali y’omukka e Kenya ng’akola ng’amyuka akulira ekitebe ky’eggaali y’omukka e Naivasha.
Oluvannyuma baamukyusa n’akolera ku bitebe eby’enjawulo era agenda okunnyuka emirimu gy’ekitongole ky’eggaali mu 1957 nga y’akulira ekitebe ky’eggaali e Budumba-Tororo.
Mu mwaka gwe gumu yeegatta ku Uganda Bookshop n’atandika okukola ng’omumyuka wa maneja. Olw’okukola obulungi emirimu gye, bakama be baamuwereza  mu Yunivasite y’e Waterloo Lutheran mu Canada n’asoma Dipulooma mu byobusuubuzi.
Ng’akomyewo mu 1968 yafuuka maneja omujjuvu owa Uganda bookshop. Mu biseera bye etterekero ly’ebitabo lino lyagula ekizimbe kwe liri kati ekya Ebenezer ekiri ku Colville Street mu Kampala.
 Yaleka abagulidde ekyuma ekikuba ebitabo n’empapula ekyomulembe okwo ssaako okubagulira ettaka e Kibira mu kibangirizi ky’amakolero.
Mu 1988, yasalawo okunnyuka emirimu gy’etterekero ne yeemalira ku mirimu gy’okubuulira enjiri gyokka mu bitundu n’amawanga ag’enjawulo okugeza Kenya, Uganda, Tanzania ne Rwanda.

Obulamu obwabulijjo
Galiwango alese abaana 11 ne nnamwandu Catherine Nassuuna Kaggwa. Abaana b’alese kuliko Ronald Galiwango, Tabitha Mukisa, Solomon Kiyega, Margaret Elisati, Charles Galiwango, Alice Kisubika, Phylis Kasambula, David Galiwango, Ruth Mulungi, Timothy Galiwango ne Samalie Galiwango.
Galiwango yawasa Nassuna nga December 31, 1949, baabagattira mu kkanisa Lutikko e Namirembe. Yalokoka nga April 7, 1957 mu kkanisa ya Mackay e Nateete era wano we yaziikiddwa.
Galiwango okukolokoka, yakisalirawo mu lukung’aana lw’eyali Ssaabalabiri mu kiseera ekyo Rev. Lesile Brown lwe yakuba e Nateete olwali ku mulamwa ogugamba nti ‘Mujje gyendi mwenna abakooye era abazitoowereddwa nange nnaabawumuza’.
Bwe yawulira ebigambo ebyo ate naye nga yali akooye era ng’azitoowereddwa bwatyo n’ayatula nti alokose,” Ssebaggala bw’annyumya.
Galiwango yabuuliranga enjiri kyokka olw’ennyiike n’okusaasira ssaako okukkiriza kwe yalina eri Mukama Katonda we ng’olumu asobola okutulika n’akaaba ng’ali ku katuuti abuulira enjiri!

Obuwereeza bwe
Okuva mu 1957 Galiwango abadde mubuulizi wa njiri ateesaasira, ng’atuuka mu buli kanyomero ka ggwanga kasita wabaawo omukisa ogugenda awantu wonna.
Mu 2001, yagenda mu Acholi-Gulu n’abuulira enjiri mu biseera by’entalo kyokka nga mu kiseera kino buli omu yali atyayo!
Mu kubuulira enjiri abadde asobola okuwaayo kyonna ky’alina mu bulamu bwe okusobola okutambuza omulimu gwa Katonda okugeza mmotoka, ensimbi n’olumu amaka ge ku lw’emikolo gy’Ekkanisa.
Ye yawoma omutwe mu kusonda ensimbi ezaazimba ekkanisa ya Yona Mondo Memorial Prayer Home e Kawempe, era tebadde mulokole atamanyi Galiwango e Kawempe nga bangi babadde bamuwaako obujulizi nga bw’akoze ebyamagero mu bulamu bwabwe!

Ebimujjukirwako
lEdiini abadde agitwalanga ekisookerwako     
lAbadde mukwasi wa budde, nga bwe mulagaana ssaawa 3:00 n’oyisaako eddakiika emu osanga agenze! Ne bw’omusanga agaana okukusisinkana.
lBw’omuleetera olugambo, akubuuza nti, ‘Gw’oyogerako wamugambye? Bw’oba tonnakikola genda omugambe. Bw’otokikola ng’enda kumugamba byonna by’ongambye era mmubuulire nti ggwe obing’ambye!’
l Ng’ayagala omuntu ayogera amazima ate eyeenenya ng’azzizza omusango.
l Abadde musajja mukulu kyokka ng’alowooza ku bya mu maaso. Abadde yakola dda embalirira y’olukung’aana lw’enjiri lw’abadde ategeka okukola mu 2020.
lNg’asembeza buli muntu awatali kusosola mu ndabika wadde eggwanga lye.
l Yabuulira abantu e Lango, olw’okumatira ekigambo emigogo 70 ne giva  e Lango ne  bamunoonya ne babaggatira mu kkanisa e Kawempe.
l Abadde muntu awaayo buli ky’alina olw’omulimu gwa Katonda.
lAbadde yaakamaliriza obwaguuga bw’ekkanisa e Kawempe mu Kirokole.

Martin Luther Galiwango

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu