TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ani yatta omuyizi w’e Kisubi n’amubbako engatto n’akakadde ka ssente?

Ani yatta omuyizi w’e Kisubi n’amubbako engatto n’akakadde ka ssente?

Added 3rd August 2010

Muhumuza abatemu baamunona mu maka ga nnyina Majorie Kukunda e Nsambya mu kkwoota za leerwe ku ssaawa 4:00 ez’ekiro ne bamuwamba ne bamuttira e Kibuli!

Yali mu luwummula lwa S.6. Bwe yali yaakatuula ebigezo, yagendako e Iraq, bwe yakomawo n’abaako mukwano gwe, gw’awola ssente 1,000.00

Muhumuza abatemu baamunona mu maka ga nnyina Majorie Kukunda e Nsambya mu kkwoota za leerwe ku ssaawa 4:00 ez’ekiro ne bamuwamba ne bamuttira e Kibuli!

Yali mu luwummula lwa S.6. Bwe yali yaakatuula ebigezo, yagendako e Iraq, bwe yakomawo n’abaako mukwano gwe, gw’awola ssente 1,000.000/- naye agendeyo akole ku ssente naye eby’embi teyagenda.

Ku olwo lw’afa munne gwe yali abanja lwe yali amusuubizza okumusasula  era n’amukubira n’essimu ekiro ekyo nti azimuleetera!

Abatemu baamukuba ne bamwasa omutwe, oluvannyuma ne bamuwalula ku kkoolansi feesi yonna n’enuubuka! Baamubbako ssimu, engatto n’omusipi.

Muhumuza nga tannafa yategeeza abooluganda lwe nti alina omuntu gw’abanja ssente akakadde kalamba kyokka azitambulidde obwoya kata bumuggwe ku ntumbwe. Ekibi teyayogera ani gwe yali abanja!

 Ekiro ky’olwo lw’atemulwa, awaka baasembayo okuwulira ng’amugamba nga bw’aba tava waka kuba yali agenda kumuleetera ssente ze. Abatemu baamusanga alaba firiiimu y’e Kinayigiria mu ddiiro lya nnyina Kukunda ne bamuwalawala n’aleka n’oluggi nga ssi luggale mpaka Kibuli gye baamuttira!

Kukunda by’agamba
Ono ye nnyina wa Muhumuza. yang’ambye nti, ‘Omwana wange yali yaakamala S6 ng’ategeka kugenda ku yunivasite e Makerere. Wabula mu August 2009, kkampuni ya Askar yamutwalako e Iraq okukola ogw’obukuumi.

Bwe yadda yang’amba nti ‘Nnina omuntu gwe nawola 1000.000/- agende e Iraq ne bigaana kyokka agaanyi okunsasula’. Ssaafaayo nnyo na  kumanya ani gwe yawola kuba nze nalaba ng’ebya ssente ze tebinkwatako nnyo. Wabula namunenya okuwola ssente ennyingi bwe zityo.

Bwe yadda okuva e Iraq, yali abeera waka nga takola, naye olumu yateranga okugendako mu kkampuni ya Askar n’abayambako ku mirimu egimu.

Ku olwo lwe bannona awaka, twamala kulya kyaggulo ne tulaba akazannyo ka Yiina ku Bukedde Ttivvi. Twamuleka  mu ddiiro ffe ne tugenda okwebaka ne baganda be, ye ng’alaba Ekinigeria.

Oluusi yaleetanga bulangiti  n’asula awo mu ddiiro ng’alaba firimu, kale ku luno tekyali kipya.
Kyokka mwannyina, Nabaasa agenda okuva mu kisenge kye okufuluma ennyumba ng’oluggi luggule ne Muhumuza taliiwo! Yajja n’ampita, olwo zaali ssaawa 7:00 ez’ekiro.

Nnakuba ku ssimu ye, omusajja omu n’agikwata n’ang’amba nti, ‘Muhumuza afunye akabenje e Kibuli bamututte Mulago!’
Nali nkyamubuuza ebirala ssimu n’agiggyako. Nakubirira okugenda e Mulago ekiro ekyo, okutuuka eyo ng’omwana taliiyo! Nagendako ne ku poliisi e Mulago nayo nga teri ggezi!

Eno bampa amagezi okugenda ku poliisi e Kabalagala, ne bampa n’ennamba ya ssimu y’omusirikale omu e Kabalagala gwe nnyinza okukubira. Ono bwe nnamubuuza afunye akabenje e Kibuli yali tannabiwulirako.

Yagamba nti ‘ okuggyako tuwulidde nti waliwo omuvubuka gwe bakubye ng’abba obutaala bwa mmotoka, naye mpulidde nti paatulo emututte’

Ziba ziwera ssaawa 10:00 ez’oku makya, nagenda e Kibuli ku siteegi ya bodaboda okubabuuza oba waliwo omuntu yenna afunye akabenje. Bang’amba nti tebannakawulira kyokka waliwo emiranga gye tuwulidde ‘waggulu eyo’.
Bamperekerako, tugenda okutuuka mu kifo kye baawuliramu emiranga ng’omwana baamusudde awo takyasobola  kwogera!

Peter Mwebesa
Ono muganda wa Muhumuza yang’ambye nti, ‘Ekiro ekyo natuuka ku Muhumuza ng’agenda kufa era talina kye yang’amba.
Naleeta mmotoka eyamutwala e Mulago naye yakutuka tannatuukayo.  We baamusuula baamuteekako paasipooti, kaadi y’essomero ne kaadi ya kamera. Bino abazigu tebaabitwala, ndowooza lw’akuba baali tebalina kye bagenda kubikozesa.

Oluvannyuma twagenda ku poliisi e Kabalagala okukola sitaatimenti kuba e Mulago baagaana okukebera omulambo nga tekuli bbaluwa ya poliisi.

Bwe twava okuziika e Rukungiri, poliisi y’e Kabalagala yakwata abantu musanvu. Bano baali babeera kumpi ne we battira Muhumuza, era ku kikomera abantu bano we baali babeera we waasangibwa engatto ya Muhumuza!

Ku poliisi baabalondamu ne basigaza bana, abasajja basatu n’omukazi omu. Bano yabaggalira okumala ennaku munaana n’ebata mbu ng’obujulizi obubaluma bubuze!

Wadde nga kino kyayogerwa, naye poliisi teyafaayo na kugenda kwaza nnyumba ya Godfrey Mpagi eyali apapako okusenguka. Baagendera ku ng’ambo nti Mpagi yali ddereeva wa New Vision, era na kati alya butaala takwatibwanga! Kyokka bawoza bujulizi bwabula!
Kyokka akulira okusaasaanya amawulire ga New Vision, Mw. Joseph Lwanga yagambye nti tebalina ddereeva ayitibwa Mpagi.
Mpagi:

Agamba nti ye akyabeera Kibuli. “ Eby’okufa kw’omuvubuka oyo nnabiwulirako, waliwo eyankubira ssimu n’abintegeeza.
Ne mukyala wange okumusiba sikiwulirangako. Awaka bwe wagwawo obuzibu omukyala atera okunkubira essimu naye kino taking’ambangako.

Nze ndi Fort Portal, waliwo Omuzungu eyampa kontulakiti y’okusomba amayinja era kye nkola. Siri mukozi wa New Vision, wabula olumu bampangisa okubatwalira amawulire e Fort Portal,” bwe yagambye.

Ebyaddako ng’amaze okufa

Kukunda yang’ambye nti, ‘Twagenda ku poliisi e Kabalagala okwongera okubannyonnyola bafune we batandikira okunoonyereza.

Abamu ku baali bateeberezebwa okuba n’akakwate ku butemu buno nga basula mu kikomera awaasangibwa engatto ye, bwe baamanya nti poliisi ebayigga baayagala okusenguka era poliisi yabasanga batisse ebintu badduka kwe kubakwata! Wadde nga kino poliisi yakikola naye yatugaana okulaba ku bakwate!

Ne Mpagi bagamba nti poliisi ekyamunoonya, naye yabulira wa?

Ku poliisi e Kabalagala
Ku poliisi eno omusango gye gwayingirira nga guli ku fayiro nnamba SD17/18/05/10. Akulira bambega baayo, Prossy Namukasa yang’ambye nti fayiro y’omusango  baagitwala  Katwe’

E Katwe, Richard Mugwisagye  akola ku musango guno yang’ambye nti okunoonyereza kugenda mu maaso. “Waliwo essuubi kuba abatuuze be baamukuba n’afa!,” bwe yagambye.

Wabula kino poliisi ekikakasa etya nga tewali mutuuze yenna gw’ekutte nga n’abamu baasenguka?  

Ebibuuzo
l Lwaki poliisi teyagenda mu MTN n’ezuula essimu ezaakubirwa Muhumuza ekiro ekyo?

l Ani Muhumuza gwe yali abanja akakadde? Lwaki tavangayo kweyogera bw’aba si ye mutemu?

lPoliisi ebulwa etya Mpagi nga n’essimu ye kweri?

l Lwaki abaali basula okumpi n’ekikomera Muhumuza we baamuttira baali basenguka?
l Ani yakwata ssimu ya Muhumuza alyoke alimbe nti afunye akabenje?

l Lwaki poliisi yagaana okuwa abooluganda ebbaluwa eyava e Mulago eraga ekyatta Muhumuza?

Ani yatta omuyizi w’e Kisubi n’amubbako engatto n’akakadde ka ssente?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...