TOP

Emirimu gy’Ebika bya Buganda

Added 29th July 2010

Be baggyawo ekiwu Nnamulondo kw’etuula. Omutaka Kasujju y’akuuma abalangira bonna. Balimira Kabaka emmere y’omwaka, bakuuma amazzi ga Kabaka g’anywa.
Ensenene:
Omutaka Kalibbala y’akwata empeewo ennamu Kabaka gy’asookerako okuyigga. Omutaka Kajubi y’atema emiti mu Lubiri era

Be baggyawo ekiwu Nnamulondo kw’etuula. Omutaka Kasujju y’akuuma abalangira bonna. Balimira Kabaka emmere y’omwaka, bakuuma amazzi ga Kabaka g’anywa.
Ensenene:
Omutaka Kalibbala y’akwata empeewo ennamu Kabaka gy’asookerako okuyigga. Omutaka Kajubi y’atema emiti mu Lubiri era y’asiba Omulangira eng’oma olukwanzi ku mukono gwe ogwa kkono.
Engabi Ensamba:
Bayunzi ba Kabaka era balunzi ba nte ya Kabaka eyitibwa Nsingoke.
Ngo:
Be bazimba ennyumba. Bakomaga olubugo Mugema lw’asumikira Omulangira alya eng’oma, bakola n’engatto za Kabaka.
Enjovu:
Bakuba eng’oma ennyeenya, be bavuba enkejje eyitibwa Walulenzi Kabaka gy’ayaluza abaana be, era be bakuba akadinda. Be baweeseza Obuganda
Ennyonyi Nakinsige: be bakola Obwamusolooza, okubajja amaato ga Kabaka era be bakola obusawo bwa Kabaka.
Akasimba:
 Be bamu ku baweesa amafumu ga Kabaka.
Envubu: Baluka engabo ya Kabaka ne basamirira Lubaale Kiwanuka.
Ekkobe:
Namwama ye yagobereranga Lubaale Mukasa e Ssese. Owessiga Lwabiriza e Katoolingo y'abanga entaana z'abalangira era ye yaggyanga akaba ku njole ya Ssekabaka.
Bawanga amafumu ga Kabaka mu nnyago era bayitibwa bawanzi.
Engeye:
Bakola bwakalindaluzzi, Omutaka Kasujja e Busujja ye musawo wa Kabaka. Era be bakulira ababumbi ababumbira Obuganda
Effumbe:
Basawo ba Kabaka bakulu (Gukolebwa Magunda), Magunda era ye Ssaabalamuzi wa Buganda.
Aboobutiko:
Kakinda e Jjalamba y’akinda olubugo omutaka Mugema lw’asumikira Omulangira nga alya Obwakabaka, be bawanga amafumu ga Kabaka mu nnyago era be baali abaweesi ba Kabaka Kintu e Nnono.
Emmamba Gabunga:
Be bakulira amaato (Empingu) ga Kabaka gonna.
Nkima:
Be bajjajja ba Buganda, Mugema y’asumika Omulangira alya Obwakabaka era y’atereka enjole ya Kabaka, Omutaka Mwotassuubi y’omu ku bakuuma Nnamulondo.
Enjaza:
 Bayiggira Kabaka enjovu era n’okumutwalirako amasanga, okusiiga omukyala mu Lubiri (Nakalyawa) era babajja eryato lya Kabaka eriyitibwa Nakitanda.
Mpologoma:
 Be basimba omuti ogusooka ku nju ya Kabaka, baleega eng’oma mujjaguzo era be bazimba Twekobe.
Ng’onge: omulimu gwabwe omukulu kukomaga era baali basaale okwambaza Obuganda bwonna.
Ente:
Baweesi ba Kabaka abakulu. be baweesa omwambe Kabaka gw’alasisa ente enjeru gy’agabula Obuganda nga Kyajje alye eng’oma. Baweesa n’enkumbi Kabaka gy’atemesa mu mbuga olumbe lwa kitaawe.
Omusu:
  Obwa Nnamusu bukolebwa baamusu (Kwe kusima n’okulabirira ebiyigo bya Kabaka). Bakomaga olubugo Kabaka kw’atuula nga bamumwa enviiri, bakola obwakayungirizi wakati wa Kabaka n’omugabe mu lutalo. Balabirira buyonjo Kabaka mw’agenda.
Nnyonyi Nnyange:
Babajja amaato ga Kabaka, be bafumba emmwaanyi za Kabaka.
Mpindi:
 Bakomazi ba lubugo era batimba enju z’abazaana omutasula Kabaka.
Empeewo: Omutaka Kibaale y’awozesa Kabaka nga mukyala we oba omwami amulinako ensonga, Omutaka Kibaale ye musigire wa Kabaka era ye muwabuzi we, Kibaale yakuuma engugu. Be bayiggira Kabaka enkwale
Omutima Omuyanja:
 Bavuba enkejje za Kabaka n’ebyennyanja bya Nassolo.
Nvuma: Omutaka Sebalijja e Buwambo y’alunda ente ya Kabaka eyitibwa Nakawombe, ekifumu ekiyitibwa Kayiikuuzi Namusu ky’asimisa ebinnya bya Kabaka kiweesebwa ba Nvuma.
Mbogo: Bakongozzi ba Kabaka. Bakulirwa Ssekayiba e ssenge, omumyuka wa Mulamba. Omuggazi w’omulyango Mulamba wa Mbogo ye Nsingo, be bakwata engabo ya Kabaka eyitibwa Kaamaanyi namafumu ge abiri.
Embwa: Mutasingwa y’afuka eddagala mu Mujaguzo nga ereegebwa, Nakalyango y’akulembera Kabaka ng’agenda okutambula, be bakulembera Kabaka ng’agenda okuyigga.
Ntalaganya:   Nalumenya ow’e Nsolo mu Busiro ye Mukangula (omuyizzi) wa Kabaka, Omutaka Kazaala e Bamba nazzikuno nga ye mukuumi w’ejjembe eriyitibwa Lugala.
 Nkerebwe:
Bawala amaliba g’ensolo Kabaka z’atta ng’abadde ayigga.
Abensuma:
 Baggala enziji za Kabaka, Omutaka Luboyera ow’e Busaayi y’amyuka Ssaabawaali w’essenero lya Kabaka, be bagoma ba Kabaka, bavuga eryato lya Kabaka.
Endiga: Bakuuma Kiggwa tebakibuuka, ba mpingu (eggye ly’oku mazzi.)
Akayozi
Bakubi ba mbuutu eziyitibwa Kanabba
Ekibe:
Bayiiya nseke Kabaka zanyweesa nga bamaze okuyiisa omwenge.
   Waliwo ebika ebirala ebigenda okuweebwa emirimu omuli Amazzi g’ekisasi, Engabi Ennyunga, Namung’oona Ab’enswa Ab’ekejje, Ab’ekinyomo oba Abanyuma.

Emirimu gy’Ebika bya Buganda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.