Ekitebe kya Buddu kiri ku Ssaza e Masaka awali n’ekitebe kya disitulikiti era mu bizimbe bya Ssaabasajja, disitulikiti mw’ekolera.
Ssentebe wa LC5 ,Vincent Ssempijja n’olukiiko lwe baayisa ekiteeso ky’okuddiza Ssaabasajja ebizimbe bye era omukolo gwali gwamaanyi ng’eyali Katikkiro Daniel Muliika ye yakwasibwa ekyapa kino. Naye byonna kyali kiwaani, kuba disitulikiti ebizimbe yabigaaniramu!
 “Ffenna tuli bantu ba Beene era tagoba muntu n’omu,†Lt. Joe Walusimbi, eyali avunaanyizibwa ku byemirimu gy’ekikugu ku lukiiko lwa disitulikiti mu kiseera ekyo bwe yagambye.
 Lt. Walusimbi kati ye ssentebe wa disitulikiti y’e Lwengo eyaakasalwa ku Masaka.
Pookino (Owessaza ly’e Buddu) eyaakalondebwa ye mulimi kkungwa Charles Kiyimba Kwewayo eyadda mu kifo kya looya Frederick Mulindwa Walukejje.
Kiyimba amyukibwa Jolly Njawuzi ne Hajj Ibrahim Katale abasinga gwe baakazaako erya Bbuulu Katale.
Kale Ekigwo Ggumbya bwe kyategekeddwa enkya ku Ssande nga July 18, 2010 mu kisaawe e Katwe ekiriraanye Army Hall okumpi n’enkulungo y’oku ddwaaliro baabadde mu kwejaga.
Bannabuddu bamazeeko wiiki bbiri nga beegezaamu. Mu bano mulimu Bosco Muwonge eyakiikirira Buddu omwaka oguwedde.
“Kw’olwo twali tetwetegese bulungi , twalimu ekiwuggwe naye ku luno engabo yaffe,†Muwonge bwe yagambye.
Muwonge nnamusanze akuba matoffaali e Kyesiiga- Kyannamu-kaaka.Ssentebe wa ggombolola y’e Kyannamu-kaaka, Paul Migadde agamba nti agenda kussaawo entambula eneesobozesa abamegganyi bonna okutuuka e Masaka.
 Kansala Emmanuel Bbaale ( Bbuuliro) agamba nti ku ggombolola eno ayagala afuneyo abamegganyi 12 mu bo muveemu omu anaakiikirira Buddu.
 Musa Kabuga ye yakiikirira Mawogola mu 2009, kyokka ku luno yakomyewo ewaabwe e Buddu.
 Abamegganyi mulimu abavuzi ba bodaboda, abalimi n’abalunzi, ko n’abasuubuzi mu Masaka.
Ab’e Masaka beesunze Ekigwo Ggumbya