TOP

Ebipya ku nfa ya Jjulunga

Added 29th June 2010

Aba FDC baakiteeka ku Gavumenti nti emanyi abatta Jjulunga. Vincent Baguma oluvannyuma yavaayo n’agamba nti ‘Wasswa ne Jjulunga baakubwa amasasi nga bagenze e Kawempe okubba naye na buli kati tayogerwanga maka we baali babba!

 

Mu kkooti e Nabweru
Gavumenti yaggulawo omusango ng’

Aba FDC baakiteeka ku Gavumenti nti emanyi abatta Jjulunga. Vincent Baguma oluvannyuma yavaayo n’agamba nti ‘Wasswa ne Jjulunga baakubwa amasasi nga bagenze e Kawempe okubba naye na buli kati tayogerwanga maka we baali babba!

 

Mu kkooti e Nabweru
Gavumenti yaggulawo omusango ng’evunaana Baguma gwe yayita ‘Conspiracy to commit a felony’ mu kkooti y’e Nabweru. Felony kitegeeza akasango akatono!

Okusinziira ku fayiro gye nalabyeko, ‘Baguma avunaanibwa n’abantu abalala bataano kyokka nga omu ku bo yafa.’ Naye abalala amannya gaabwe ku fayiro tegaliiko!’

Baguma yeeyimirirwa Ibrahim Ssenyonga ne Richard Wamala ku kakalu ka  50,000/- ez’obuliwo. Wabula yakoma okugenda  mu kkooti nga December 22, 2009 na buli kati bwe bamuyita talabikayo!

Omusango guno gukyagenda mu maaso, mu kkooti e Nabweru guli ku nnamba 583/09 ate fayiro eyava ku poliisi e Kawempe eri CRB2584/09.

Mu ngeri y’emu natuseeko ne ku poliisi e Kampalamukadde, akulira bambega baayo Fred Eriku yang’ambye nti ‘Twakola okunoonyereza nga tuli wamu n’aba FDC okuli Frank Atukunda, ne tusobola n’okukwatayo abamu ku bantu okutuyambako okunoonyereza ku musango guno.

Naye kati kizibu okukubuulira kiki ekiriwo ku musango guno kuba twagumala dda mu June w’omwaka oguwedde! Simanyi wa be twakwata gye bali kuba ffe twabawereeza ku kitebe kya bambega ogwaffe awo we gwakoma!’

Lipoota ya FDC ku nfa ya Jjulunga
Okunoonyereza nga kukulembeddwaamu Frank Atukunda (muwandiisi wa FDC ow’ensonga ez’omunda) baafulumya lipoota ku nfa ya Jjulunga nga July 14 2009. Bino bye bikulu ebyalimu;

Baganda ba Wasswa babiri okuli Mohamed Ssempa ne Abdul Lwanga baakwatibwa, ssaako ne Faridah Nakabugo omusuubuzi mu katale ka Owino bayambeko ku poliisi mu kunoonyereza.

Lipoota eraga nti June 22 2009 nti bawulira mu mawulire nti Baguma yeerese ku poliisi era okuumirwa ku kitebe kya RRU e Kireka.

Egenda mu maaso n’eraga nti baalemesebwa okwogerako ne Baguma, nga poliisi ebagamba nti okuggyako nga bali ne looya we oba owooluganda lwe yenna.

Omulambo gwa Jjulunga gwali gukubiddwa amasasi agali wakati wa ana n’ataano era kyazuulibwa nti buli kisambi kye yakubwako essasi.

Poliisi eraga engeri omulambo gwa Wasswa gye gwasuulibwa e Busega ate mu ngeri y’emu etegeeza abantu engeri Jjulunga gy’atuukamu e Mulago.

Lwaki poliisi yaggulawo omusango omulala ku poliisi ya Kampalamukadde nga n’e Kawempe baali bamaze okuggulawo omusango?

Ebibuuzo
Ani yakubira ofiisa wa poliisi ssimu okumutegeeza nga bwe waliwo ababbi. Lwaki oyo tayogerwako?
 Ani yaggulira mmotoka eyalimu Jjulunga ne Wasswa ku luguudo lwa Northern Bypass olwali oluggale mu biseera ebyo?

E Kabuusu mu bbaala Wasswa, Jjulunga ne Baguma baali bateesa ki ekiro ekyo?
Baguma lwaki atya okugenda mu kkooti?

Jjulunga eyali afeenya ng’amaanyi talina, yasobola atya okwebagajja omulambo gwa Wasswa okuguggya mu mmotoka?
Baani abalala abavunaanibwa ne Baguma abatali ku fayiro?

Ebipya ku nfa ya Jjulunga

More From The Author

Ow

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...

Nantale ne Batulumaayo

Ow'emyaka 77 alumirizza muk...

MUSAJJAMUKULU ow’emyaaka 77, omutuuze ku kyalo Kyambizzi ekisangibwa e Mwererwe-Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso...

Kiwanda ( ku kkono), Katikkiro Mayiga ne Ruth Nankabirwa nga bali e Mmengo.

Ekyatutte Kiwanda ne Nankab...

EYAAKALONDEBWA ku bumyuka bwassentebe wa NRM atwala Buganda, Godfrey Kiwanda asitudde ttiimu y’aba NRM omuli ne...

Kibalama ne Kyagulanyi nga bagasimbaganye mu kkooti

Bobi ne Kibalama bagasimbag...

Eyali akulira ekibiina kya National Unity Reconciliation and Development Party [NURP] ekyakyusibwa ne kifuulibwa...