Ekyebuuzibwa, kino kinaasoboka? Kuba Brigitta atandise okubaako by’asuubira nti abantu bano balina enkolagana ey’omunda era tekijja kwewuunyisa ng’abalumbye.
Bino byonna biri mu firimu ya Long Wait eragibwa ku Bukedde ttivvi ku ssaawa 2:30 ez’ekiro okuva ku Mmande okutuuka ku Lwokutaano.
Ebyo nga biri bityo Kayila eby’okwekwatakwata abitadde ku bbali n’ayatulira Yuri nga bw’amulya obwongo kuba mukaziwattu agenze okulaba nga Hellena amumutwalako.
Naye Yuri anaalabawo Kayila n’amufuula omuntu we oba ajja kusigala ng’amulaba nga mukwano gwe bwe bakuze bonna? Ye Yuri anaasobola okuva ku Hellena eyamuyamba mu kiseera we baasibira kitaawe?
Ebisingawo birinde ku Bukedde ttivvi mu firimu ya Long Wait.
Faaza Francis alumbye Lorrea ewa Henri