Bansimba amaala mu bulago ne banzibako 80,000/- era singa tebaawulira bantu bajja osanga bandinsobezzaako,†Babirye bw’agamba.
Babirye tali yekka e Mukono. abantu bangi battiddwa na butayimbwa, ebiso ate abakazi babasobyako!
Byatandiikiriza ku ntandikwa y’omwaka oguwedde, omuvuzi wa bodaboda omu bwe baamukuba akatayimbwa ku mutwe n’afa.
Okuva olwo, abavuzi ba bodaboda abasoba mu 50Â bakubiddwa obutayimba abamu ne bafa era bodaboda ezisoba mu 20 zibbiddwa. Abavuzi babodaboda, Kizito Mukiino (UDN 418V), Reagan Nuwagaba (UDN 062F) ne Moses Lubuulwa ( UDP 266A) be bamu ku baakakubwa obutayimbwa ne bafa.
Gye buvuddeko, Nnaalongo Allen Najjuma ow’omu Kikooza yakubibwa akatayimbwa, ne bamusobyako ate ne bamutta!
Ebitundu ebisingamu obubbi n’obutemu buno mulimu Butebe, Nassuuti, Nabuti, Kikooza ne Kigombya byonna ebiri wakati mu Mukono. Ebirala kuliko Seeta, Jjoggo, Namiryango ebisangibwa mu ggombolola y’e Goma ssaako mu Kalagi, Naggalama ne Nakifuma
Ye musajjamukulu Lukka Musisi ow’oku Butebe agamba nti mutabani we Grace Musisi eyali avuga takisi yakubibwa akatayimbwa n’afiira mu Kikooza.
“Ku poliisi twatwalayo omuntu gwe tuteebereza okukola obutemu buno naye kkooti yamuta kubanga poliisi yaleeta obujulizi bwa kibogwe,†Musisi bw’agamba. “Kati nsula wabweru nga nkuuma nkoko, lw’otozikuuma osanga babbyeeko ezimu,†Musisi bw’agamba
Amyuka ssentebe w’ekyalo Butebe, Aloysius Ssemakula agamba baakamubbako embuzi 15.
Obubbi bwa mmita
Ebyalo ebimu mu Mukono biri mu kibululu lwa babbi abanyaga mmita z’amasannyalaze
Stephen Mubiru ,omutuuze ku Butebe alumiriza ssentebe w’ekyalo kyabwe Richard Aliwaali okusuza abavubuka ababatigomya
“Abavubuka bano tebalina kye bakola, bakeera kunywa njaga, okukuba matatu n’okuzannya ludo. Obudde bwe buziba be bakuba obutayimbwa n’okubba abantu,â€Â Mubiru bwe yategeezezza.
Wabula Aliwaali mu lukiiko lw’ebyokwerinda olwatuuziddwa wiiki ewedde nga lukubirizibwa aduumira poliisi y’e Mukono Alphonse Musoni yeewozezzaako nti ye okusuza abavubuka bano akikola ng’omuzirakisa kuba abamu yabalonda nga tebalina buyambi ate abalala badduka ewaabwe nga balemeredde bazadde baabwe!
Carolyn Nakakande agamba nti ababbi bafunye embwa ze batambula nazo, ze bakozesa okusaggula be banabba.
 Obukuumi bwa poliisi
Poliisi ekoze ebikwekweto bingi era erina b’ekutte n’ebizibiti ebiba byaloopebwa nti byabbibwa. Abamu basangibwa na bintu bya mu nnyumba, bodaboda n’ebirala.
Abazze bakwatibwa kuliko Muhammed Kisitu (27) ne Isma Kalule (22) abaakwatibwa e Nakifuma n’ebissi n’ebibbe okuli pikipiki ssatu, UDK 669R, UDJ 473X zi Bajaj ne Mte UDK748N, kompyuta bbiri, emifaliso 10, ekkeesi z’engoye 9, leediyo n’ebirala
Abalala Denis Kato (25) ne Joseph Matovu (24) baakwatibwa Goma nga bamenya amayumba; Kawalya Zinsanze (23) yasangibwa Nakabago ng’amenya ennyumba emisana ne bamukwata ne kompyuta, ppaasi bbiri n’engoye.
Atwala ebyokwerinda mu Mukono, Haji Issa Ssebunnya agamba nti abateeka ebyobufuzi mu nsonga z’ebyokwerinda bavuddeko obubbi n’obutemu okweyongera.
“Mu Mukono, kumpi buli mwezi abantu abasoba mu bana bakubibwa obutayimbwa. Ekibi oli bw’awulira nga muliraanwa we bamubba tanyega, kati ababbi beeyambisa empisa ng’eno okweyongera okutigomya ebyalo,†Ssebunnya bwe yagambye
Ssebunnya agamba nti obukiiko bw’ebyalo obwayambangako okukuuma obutebenkevu tebukyaliwo ne bassentebe b’ebyalo nabo tebakyalina nkola ewandiika bantu bapya be bafunye mu bitundu .
Ebyalo bisseewo amateeka gaabyo
Alphonse Musoni, aduumira poliisi y’e Mukono agamba nti abantu abasinga bakibateekako nti bakwata abazzi b’emisango ate ne babata nga beerabidde nti omulimu ogwabwe guba gwa kubakwata na kutwala bujulizi ew’omuwaabi wa Gavumenti, ebiddirira biba bya kkooti.
Ayongerako nti abantu mu Mukono tebaagala kugondera biragiro bissibwawo omuli aba bodaboda okukomya okukola ekiro ennyo.
Wabula Musoni yasabye abakulembeze ng’aba Town Council ne Disitulikiti bayise amateeka g’ebitundu agatangira obubbi, obutemu n’entambula poliisi egasse mu nkola.
RDC w’e Mukono, Maj. David Matovu agamba nti olw’okuba Mukono eri kumpi ne Kampala, abantu bangi abakolera mu kibuga basula Mukono ekivuddeko omuwendo gw’abantu e Mukono okweyongera. Nti mu bano mwe muli n’ababbi.
“N’ebiduula e Mukono bisusse, si misana, si kiro,:†bwe yagambye.
Mukono kifuuse kibuga ky’abakubi ba butayimbwa