Ngoggyeeko okuzannya firimu munnabyabufuzi kayingo era nga yeesimbako ku bumyuka bwa Meeya bw’ekibuga Phillipines n’awangula. Wabula oluvannyuma y’asazibwamu nga banne abaali beesimbyewo bagamba nti ssi munnansi wa Phillipines.
Mu kiseera kino ayagala kudda mu kwesimba ku bumyuka bwa Meeya bw’ekibuga Lakas - Kampi.
Yaakazannya firimu ezisoba mu 40 naye nga obwa kafulu businga kulabikirira mu z’amasasi n’ababanda mw’awangulidde engule eziwerako ate era akola ne ku ttivvi kw’alina pulogulaamu enzito era nga mu kisaawe kino kabaka.
Alina omwana omu ayitibwa Luis Manzano nga naaye muzannyi wa firimu. Omuntu gwe yali asinga okwegomba ye kitaawe ayitibwa Adrian Hernadez Manzo olw’okuba yakolanga nnyo okufuna eddembe ate nga tatya bantu kumwogerako.
Henri ssi mufumbo okuva lwe yayawukana ne mukazi we eyaliko Meeya w’ekibuga Vilma Santos taddangamu kuwasa kumpi myaka kkumi egiyise.
   Omulabi wa Bukedde ttivvi agenda kubeera nga amweyongera mu firimu ya Long Wait oba Lindirira eragibwa okuva ku Mmande okutuuka ku Lwokutaano  ku ssaawa 2:30 ez’ekiro.
Omufere Henri y’ani