TOP

Evaristo Nnyanzi

Added 13th June 2010

Nnyanzi yafiiridde mu ddwaaliro e Lubaga oluvannyuma lw’omusaayi okumugenda mu bwongo.

Olunaku lumu Olwomukaaga mu 1991 ku kitebe kya DP ekyali ku Wilson Road mu Kampala, lwe nnagasimbaga

Nnyanzi yafiiridde mu ddwaaliro e Lubaga oluvannyuma lw’omusaayi okumugenda mu bwongo.

Olunaku lumu Olwomukaaga mu 1991 ku kitebe kya DP ekyali ku Wilson Road mu Kampala, lwe nnagasimbagana ne musajjamukulu Evaristo Nyanzi, olwo eyali omuwanika  wa DP. yang’amba nti Pulezidenti Museveni yakozesa omukisa gw’okulwanirira obululu bwa DP obwabbibwa UPC mu kulonda kwa 1980, nti kyokka bwe yawangula mu 1986, obuyinza n’abulemera!

Yali ku mukolo gw’okujjukira nga bwe gyali giweze emyaka ebiri ng’akabondo k’abakunzi ba DP aka DP Mobilisers Group katondeddwaawo.

Mu buyeekera
Nnyanzi ku olwo yeewuunya okulaba nga Pulezidenti Museveni, eyawangulwa mu kulonda kwa 1980, alumirirwa nnyo DP olw’okugibbako bululu n’agenda e Luweero, aba DP ne bamuwagira mu lutalo lw’omu nsiko, kyokka olwawamba Dr. Paul Kawanga Ssemogerere n’amubegerako bubegezi!

Ekyo kyali tekyewuunyisa kuba Nnyanzi yali mulwanyi wa UFM ekyaduumirwanga omugenzi Dr. Andrew Lutakome Kayiira nga Museveni ali mu NRA.

UFM bwe yasasika oluvannyuma lw’okufubutukira okulumba Olubiri mu February wa 1982, Nnyanzi ne banne era tebeegatta ku NRM , wabula baatondawo ekibiina kya FEDEMU ekyakulirwanga ekikonge kya DP Dr. Lwanga nga kiduumirwa omugenzi Capt. George Nkwanga.

NRM we yawambira Kampala mu 1986, Nnyanzi y’omu ku baminisita ba Gen.Tito Okello Lutwa abaawambirwa mu Kampala. Kyokka oluvannyuma lw’ensikiano ya Museveni ne Ssemogerere e Nabbingo,  kumpi aba DP bonna baasigaza ebifo byabwe bye baalimu mu Gavumenti.  Nnyanzi yaasigaza obwaminisita bw’ebyobusuubuzi.

Ekibi, omwaka gwali tegunnaba kuwera Nnyanzi n’ebikonge bya DP ebirala nga Anthony Wagaba Ssekweyama, Dr. Lwanga, Dr. Kayiira ne Israel Mayengo eyali owa NRM, Maj. Fred Mpiso ne Maj.Ndibowa abaali aba FEDEMUne bakwatirwa, ne bavunaanibwa ogw’okulya mu nsi olukwe.

Baaguwuuta buva ne bayimbulwa mu 1987 era okuva olwo Nnyanzi n’atamwa nnyo  Museveni ne NRM.
Dr. Ssemogerere bwe yava mu Gavumenti mu 1996, Nnyanzi yamuwagira nnyo ng’ali wamu ne Dr. Duncan Kafeero eyali Minisita w’ebyobulimi e Mmengo.

Dr. Kafeero ne Nnyanzi tebeekunya kutondawo kibiina kya buyeekera ekya Uganda Federal Alliance omwali ne Sam Lubega kati akaayanira obwassenkaggale bwa DP. Kyokka abalwanyi baabwe omwali ne Nnyanzi baabakwata kyokka oluvannyuma baaganyulwa mu kisonyiwo kya Palamenti era okuva olwo Nnyanzi n’asinga kwemalira ku kubanja kasiimo ke ng’eyali omukozi w’ekitongole kya East Africa Community ekyasasika mu 1977.

Nnyanzi ng’akyali mubaka w’oludda oluvuganya gavumenti ya Obote ll mu Palamenti, eyakiikiriranga Mawokota, yayogeranga n’ennyenje ne zikuknkumuka.

Ebyobufuzi yabitandika mu 1957 ng’atambulira mu buwufu bwa Dr. Ssemogerere. Abadde mu DP ebbanga lyonna, era yali kikonge mu kiwayi kya Francis Bwengye okuva mu 2000 ekyali kiwakanya ekya Dr. Ssemogerere.

Mu 2005 Nnyanzi yakulira akakiiko k’ebyokulonda akaaleeta Ssebaana Kizito ku bwassenkaggale bwa DP. Afudde awummudde ebyobufuzi naye abadde awakanya nnyo ekya DP okutta omukago ne FDC ng’agamba nti emikago gye kizze kitta, girese gikisazeeko emirandira wansi mu bantu.

Nnamwandu Eireda Najjingo eyabadde akulukusa amaziga yagambye nti, “Leero (Lwamukaaga)  lwe tubadde tutandika enteekateeka zaffe ez’okujaguza oemyaka 50 mu bufumbo egibadde giwera mu November. Naye mu bufumbo bwange sifunye ssanyu lya nkalakkalira olw’embeera y’okubonaabona n’okuluma obugigi baze  gy’ayiseemu.”

Mutabani we, Bobson Ssemakula akolera mu ofiisi ya Pulezidenti agamba nti yafukaamirira Pulezidenti asonyiwe kitaawe ogw’obuyeekera.

Obulamu bwa Evaristo Nnyanzi
Yazaalibwa nga November 5,1930 n’asomera mu Nsumba Sub Grade,  Nkozi Primary gye yatuulira P.6. Junior Sec.School yagisomera Bukuumi wakati wa 1949 ne 1951 olwo Siniya n’agisomera e St.Mary’s College Kisubi wakati wa 1952 -1954.

Mu 1955 yayingira e Makerere n’asomayo ebyafaayo.

Yakolako ng’omumyuka wa Ddiisi mu 1962, yadda mu minisitule y’ebyenjigiriza nga Principal Assistant Secretary.. Yakolako mu minisitule y’ebyensimbi  nga kaminsona avunaanyizibwa ku bajeti .

Yavaayo n’adda mu East African Posts & Telecomunications nga dayirekita  akulira ettabi lya Uganda, bwe kyasattululwa mu myaka gy’ensanvu n’akikulembera mu Uganda.

gya Gavumenti yasooka n’agiwummulako mu mu 1977. Yaliko minisita w’obwegassi mu gavumenti ya Tito Okello Lutwa mu 1985  ate n’abeera minisita w’eby’obusuubuzi mu gavumenti ya Museveni.

Museveni by’amwogerako
Bwe  yabadde mu mmisa ey’okusabira Nnyanzi mu Lutikko e Lubaga, Museveni yagambye nti yatandika okumanya Nnyanzi mu 1980.

Agamba: Nnyanzi afunye ebizibu bingi naye nga byonna byava mu kusubwa omukisa gwe nnali mmuwadde  ogw’obwaminisita n’agukozesa bubi.

Evaristo Nnyanzi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...