TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ani nnannyini ttaka ly’e Bunnamwaya eryakassa abantu abawerako?

Ani nnannyini ttaka ly’e Bunnamwaya eryakassa abantu abawerako?

Added 8th June 2010

Yamalayo ebbanga n’adda kyokka ebyembi yasanga ettaka lye bbanka eritutte kuba ekiseera kye baamuwa okusasula ssente kyamuyitako.    
Ng’akomyewo kuno, Ssaava yatandika okutunda ettaka naye nga takyalina kyapa, nga bbanka yakibowa n’ettaka n’eritunda. Kino azze akikola okutuuka mu 20

Yamalayo ebbanga n’adda kyokka ebyembi yasanga ettaka lye bbanka eritutte kuba ekiseera kye baamuwa okusasula ssente kyamuyitako.    
Ng’akomyewo kuno, Ssaava yatandika okutunda ettaka naye nga takyalina kyapa, nga bbanka yakibowa n’ettaka n’eritunda. Kino azze akikola okutuuka mu 2008.
Kati w’osomera bino, ettaka liriko abantu basatu ab’enjawulo abalikaayanira. Ku lyo kuliko abaliguzeeko abasoba mu 80, kyokka bali mu lusuubo era bayinza okusengulwa. Okukakasa kino, amayumba abasoba mu 10 gamenyeddwa nga n’agamu gabadde gamaze okuzimbibwa.
 Mu kavuvung’ano kano abantu basatu battiddwa omuli Ssemanda gwe baakuba amasasi n’afiira e Mulago n’omulala gwe batta nga bamenya amayumba agamu!
       
Embeteza w’eva
Ettaka lino liri mu Ngobe B Bunnamwaya okuliraana ekkanisa y’Abalokole eya Abundant Life waggulu wa Sseguku ku lw’e Ntebe.
Likaayanirwa abantu basatu okuli Steven Ssaava ow’e Bunnamwaya, John Baptist Walusimbi naye ow’e Bunnamwaya era alibeerako ne Geoffrey Kayanja abeera e Bulaaya. Bonsatule buli omu agamba nti ettaka lirye!
Mu kugezaako okugonjoola enkaayana eziri ku ttaka lino erigambibwa nti n’abamu ku baali balikayaanira baakubwa amasasi ne bafa ate abamu ne batemulwa mu ngeri ey’amancoolo! Omubaka wa gavumenti e Wakiso, Sarah Bananuka ng’ayambibwako omuwolereza wa gavumenti ku nsonga z’ettaka Florence Kiconco n’abalala, wiiki eweddde baatuuziza olukiiko e Bunnamwaya okumalawo enkaayana.
 
Ssaava annyonnyola
“Jjajja Ssuuna yaleka ettaka e Bunnamwaya lye nnasikira mu 1940, era nga kuliko n’ekyapa. Wabula kati kye nneewunyisa okulabawo abalala abagamba nti ettaka balirinako obwannannyini!
 Bwe nnamala okufuna ettaka lino, nga naawe bw’omanyi eby’ensi ne ng’endako e Bulaaya okuyiiya obulamu. Bwe nali sinnagenda nafuna ensimbi okuva mu bbanka ya Uganda Credit & Savings Bank oluvannyuma eyafuuka UCB mu 1965 ezannyambako mu lugendo lwange.
Okusobola okufuna ssente zino  nasingayo ekyapa kyange, wabula oluvannyuma nga nkomyewo mu 1965, ssente zonna ezaali zimmangibwa nazisasula, kino kitegeeza nti bbanka yalina okunziriza ekyapa kyange. Nagezaako okukigobako ne nsanga nga baakizza  mu mannya ga Micheal Sserwadda gwe nnali simanyi. Kati olwo abeeyita bannannyini ttaka baalifuna batya?
Olw’okuba ettaka lyali lyange nalina obuyinza okutandika okutunda era kino nakikola. Naguza abantu bangi era ne batandika n’okuzimba nga tewali abataataaganya, kyokka oluvannyuma nga mpulira omusajja gwe bayita Walusimbi agamba nti ettaka lirye. Teyakoma okwo n’atandika n’okumenya amayumba g’abo be nnali nguzizza ng’abagamba nti baagula mpewo!
 Walusimbi nali simumanyi, era n’okutandika okumenya amayumba g’abantu teyajjako wange kunneebuuzaako! Wabula olunaku olumu nali ndi mu maka gange e Bunnamwaya ne wajja abasajja basatu ng’omu alina n’emmundu. Kirabika baali bagenda kunkuba masasi, kuba aba awangako magaziini n’emusimattukako n’egwa, olwo nze kwe kumalamu omusubi!
Waayita mbale, Walusimbi n’ampaabira mu kkooti ng’anvunaana okutunda ettaka lye! Yampawaabira mu kkooti bbiri. Mu kkooti enkulu omusango yagusinga, kyokka omulala gwe yampaabira mu kkooti y’obusuubuzi gwo gukyagenda mu maaso.
       
 John Baptist Walusimbi
Ono kati y’alina ekyapa ky’ettaka lino. Agamba nti ettaka lino liri ku bulooka 265, poloti 148 nti era yaligula mu July wa  1969 okuva ku mugenzi Michael Sserwadda.
“Kyokka nze wadde bagamba nti lino ettaka liriko yiika 49 naye lye nagula lya yiika 40 zokka.
Bwe namala okugula ettaka lino, mu 1991 naguzaako yiika 10 ab’ekkanisa ya Abundant Life, okuva olwo natandika okusalamu poloti entonotono nga ng’enda ntunda kuba tewaali kinkugira. Kino nakikola okutuuka mu 2008 nga simanyi nti waliwo abalala abaali batunda!
Mu mwaka ogwo, natandika okuwulira nti waliwo omusajja eyeeyita Ssaava atunda ettaka lyange era ng’aliyita lirye. Nze nnalumba abantu ne mbalabula nga bwe bagula empewo.
Olw’okuba nze nnannyini ttaka omutuufu, era nga nnina n’ekyapa nasalwo okugenda mu kkooti enkulu okuloopa Ssaava nga bwe yatunda ettaka lyange mu bukyamu. Omusango twaguwoza era namumegga.
 Era okuva mu kkooti ng’emaze okunkakasa nti nze nnannyini ttaka omutuufu. Kati olwo Ssaava abeera atya nnannyini ttaka lino? Ye lwaki taleeta kyapa kye n’akiraga abantu?
       
Geoffrey Kayanja
Ono kati ali Bulaaya kyokka looya we okuva mu Bakayanja & Son Advocates yang’ambye:
Michael Sserwadda yagula ettaka lino ku bbanka Ssaava gye yali alisinze mu 1963. Kayanja oluvannyuma ettaka yaligula okuva ku Sserwadda.
Kyokka Sserwadda mu kuguza Kayanja ettaka teryaliko kyapa ng’agamba nti tamanyi we kiri! Oluvannyuma twakizuula nti waliwo omu ku baali abakozi be (amannya ngasirikidde) ate nga kati  y’omu ku beeyita bannannyini ttaka eyamubbako ekyapa n’akizza mu mannya ge.
       
Kibalama Nakabaale
 Ono y’omu ku baanoonyereza ku ttaka lino era agamba bwati:  Nakola okunoonyereza okwenjawulo ku bikwata ku ttaka lino ne ng’enda mu ofiisi y’ebyettaka e Ntebe n’awalala.
Ekyapa kyava mu mannya ga Ssaava, ne kidda mu mannya ga Sserwadda. Kyokka tewaaliyo mpapula zonna ziraga nti ettaka eryogerwako lyali ligenzeeko mu mannya ga Walusimbi!
       
Abaagula empewo
 Abantu abaagula empewo bangi ddala. Abamu batya okuvaayo okwogera sikulwa nga babakolako obulabe. Kyokka ye munnamagye eyawummula Masiko Kaddu agamba: Nze nagulako poloti era nagigula ku Ssaava. Kyokka mba naakasasula ewa Ssaava ng’enda okuwulira nti ate Walusimbi ye nnannyini ttaka omutuufu!
Bwe nagenda ewa Ssaava okumubuulira ku nsonga eno yang’amba nti ‘Genda mu maaso n’okukolera ku poloti yo kuba nze nnannyini ttaka omutuufu. Na buli kati simanyi ani mutuufu.
       
Abali ku ttaka
 Ssaalongo Kabanda y’oku mu bebibanja abali ku ttaka lino era gwe bagobaganya. Agamba:
Ku ttaka lino kwe tukulidde, ekibanja kyange nakisikira okuva ku kitange.  Wabula mu 1970, Sserwadda yatandika okutunda obuwugiro ku ttaka lino, naye ssaamanya bantu ki be yaliguza.
Jjuuzi mu 2008, enkaayana za Walusimbi ne Ssaava zaatiinka, baamenya ennyumba yange ne bansiba ne mu kkomera nti nnemedde ku ttaka. Wadde nali mbasabye okundiyirira ndyoke nve ku ttaka baagaana era na kati omusango gukyali mu kkooti.
Matia Lubowa: Nze nagula ku basenze abalala mu myaka gy’ekinaana, naye kano akavuyo akaliwo tekantalizza. Kuba Walusimbi n’ekibinja kye batuli bubi batugoba ku ttaka kyokka nga tebaagala kutuliyirira.
Hajjati Mariam Nantabaazi: Nnina ekibanja ku ttaka lino, wabula Ssaava ky’atukoze tekikoleka kuba atutunze ffenna atumazeewo. Oba oli awo nga bagamba nti bakusengula nga tolina na ky’omanyi. Wabula nsaba Ssaava anzirize ssente zange mmuviire ku ttaka lyabwe.
Anamaria Nanjoba: Baamenya amayumba gange nga sirina kye mmanyi, nze ndi wa kibanja era mbadde ku ttaka lino kuva dda. Kati baatugaanyi okuddamu okukolera ekintu kyonna ku ttaka!’
       
 RDC Sarah Bananuka
Etteeka ly’ettaka terikkiriza nnannyini ttaka kugoba wakibanja okuggyako ng’amuwadde omukisa ogwegula n’alemererwa. N’olwekyo bwe wabaawo obutakkaanya wakati w’enju ebbiri, kitegeeza walina okubaawo okutegeeragana wakati wa nnannyini ttaka n’owekibanja.
 N’olwekyo nga bwe kiri kati nti Walusimbi ye nnannyini ttaka kuba y’alina ekyapa, bano abaagula mbawa amagezi okugenda okuteesa naye.
        
Ku LC
Akulira ebyokwerinda mu Ngobe B, y’agambibwa okusinga okusuula abantu mu ntata.   Ssentebe w’ekyalo Peter Wasswa amulumiriza okusazisa sitampu y’ekyalo n’okweddiza obuyinza bwa LC yonna n’atandika okukolanga Ssentebe ng’ateerako abaagulanga ku ttaka lino emikono ku ndagaano n’okubakoonerako sitampu!
Wasswa agamba nti Kalemeera yakozesanga obukodyo bubiri- abamu yabalimbanga nti nnamulekera obuyinza bwonna nti kuba  nze sitera kubeerawo, mba ng’enze mu kyalo ekitali kituufu. Ate abamu ng’abagamba nti ye Ssentebe w’ekyalo!
       
 Ebibuuzo
lSaava bw’aba yasasula ssente za bbanka n’azimalayo, n’abasaba ekyapa ne bakigaanira, lwaki teyatwala bbanka mu kkooti? Ye lisiiti kwe yasasulira ziri ludda wa?
l Lwaki Saava yakolagana n’ow’ebyokwerinda ng’atunda ettaka lino ate nga Ssentebe w’ekitundu yaliwo.
lSsaava omusango bwe gwamusinga mu kkooti enkulu lwaki teyajulira bw’aba akakasa nti ettaka lirye?
l Nakabaale Kibalama ani yamuwa obuyinza okunoonyereza ku ttaka ly’atalinaako bwannannyini bwonna?
lEkyapa kiri mu mannya ga Walusimbi. Lwaki mu ofiisi y’ebyettaka e Ntebe tewaliiyo mpapula ziraga okukyusa ekyapa okuva mu manya ga Michael Sserwadda okudda mu gage?
lWalusimbi yazza atya ekyapa mu mannya ge ng’ate Sserwadda yali tatadde mukono ku mpapula ezikyusa ( transfer forms)?
lLwaki Kayanja yagula ettaka eryo ate n’atafuna kyapa era n’atafaayo kubigobako mu bwangu?
lMu lukiiko RDC ne banne lwe baatuuzizza wiiki ewedde ku nsonga z’ettaka lino, lwaki  Ssentebe w’ekitundu tebaamukkirizza kwogera? Baabadde bakweka ki?
lLwaki abantu abali ku bibanja bagobwa nga tebannabaliyirirwa, ng’ate etteeka ly’ettaka lyakayita mu January eribakuuma?    
         Â

Ani nnannyini ttaka ly’e Bunnamwaya eryakassa abantu abawerako?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera eri bakkansala mu lukiiko lwa kkanso. Ku kkono ye Sipiika Moses Mubiru ne Town Clerk, Denis Omodi.

Balaajanye ku ky'okwerula e...

ABAKULEMBEZE mu Munisipaali y’e Nakawa balaajanidde Gavumenti okwerula ensalosalo za Munisipaali y’e Nakawa mu...

Taremwa (atudde) ng’agezaako okunnyonnyola ababanja ez’Emyoga.

Ez'emyoga zitabudde aba sal...

ABAVUBUKA abeegattira mu bibiina by’abasala enviiri mu kibuga Mbarara nga baavudde mu Kishenyi Saloon Association...

Bannamawulire okuva mu Busoga, abeetabye mu musomo.

Omukungu alaze ekyalemesa N...

Omukungu akulira ekitongole ekivunaanyizibwa okukuuma n’okulabirira obutonde, Dr. Daniel Babikwa ategeezezza nti...

Ssentebe Bbaale (ayambadde enkofiira) n’abatuuze. Ow’okubiri ku kkono ye Ssendi.

▶️ Ab'e Mutundwe batabukid...

ABATUUZE mu zooni ya Kweba e Mutundwe, bavudde mu mbeera ne balumba ekkolero ly'omugagga Joseph Kiyimba, nnannyini...

Amaka ga Muzaata (mu katono).

Bamaseeka bambalidde minisi...

BAMASEEKA bambalidde minisita Nakiwala Kiyingi ku ky'okuzza Kluthum Nabunnya mu maka g'omugenzi Sheikh Muzaata...